Omulimu Oguzzaamu Amaanyi
1 Obubaka obuva mu Baibuli buzzaamu amaanyi abo bonna ababukkiriza era ne babukolerako mu bulamu bwabwe. (Zab. 19:7, 8) Bubayamba okwekutula ku njigiriza ez’obulimba n’emize emibi, era bubawa essuubi eryesigika ery’ebiseera eby’omu maaso. Naye nno, abo abafuna amawulire amalungi si be bokka abaganyulwa. Abo ababuulira abalala amazima agazzaamu amaanyi okuva mu Baibuli, nabo bennyini bazzibwamu amaanyi.—Nge. 11:25.
2 Obuweereza Buzzaamu Amaanyi: Yesu yagamba nti abo abakkiriza okwetikka ekikoligo ky’okubeera abayigirizwa be, ekizingiramu omulimu gw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa, ‘balizzibwamu amaanyi mu mmeeme zaabwe.’ (Mat. 11:29, NW) Ye kennyini omulimu gw’okubuulira gwamuzzangamu amaanyi. Gwali nga eky’okulya gy’ali. (Yok. 4:34) Bwe yasindika abayigirizwa 70 okubuulira, baasanyuka bwe baalaba engeri Yakuwa gye yali awagiramu omulimu gwabwe.—Luk. 10:17.
3 Mu ngeri y’emu, Abakristaayo bangi leero bazzibwamu amaanyi bwe beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Mwannyinaffe omu yagamba: “Obuweereza buzzaamu amaanyi kubanga bumpadde ekiruubirirwa era n’ekigendererwa mu bulamu. Ebizibu byange mbyerabira bwe nneenyigira mu buweereza.” Omuweereza omulala omunyiikivu yagamba: “Obuweereza . . . bunzijukiza buli lunaku nti Yakuwa wa ddala era bumpa emirembe n’essanyu eritayinza kufunibwa mu ngeri ndala yonna.” Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okubeera “abakolera awamu ne Katonda”!—1 Kol. 3:9, NW.
4 Ekikoligo kya Yesu Si Kizibu: Wadde Abakristaayo tukubirizibwa ‘okufubanga,’ Yesu tatusaba ebyo bisukka ku bye tusobola kukola. (Luk. 13:24) Mu butuufu, mu ngeri ey’okwagala atukubiriza ‘okwetikkira awamu naye ekikoligo kye.’ (Mat. 11:29, NW) Abo aboolekaganye n’embeera enzibu, basobola okuba abakakafu nti obuweereza bwabwe obuviira ddala ku mutima, wadde butono butya, busiimibwa Katonda.—Mak. 14:6-8; Bak. 3:23.
5 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okuweereza Katonda asiima kyonna kye tukola ku lw’erinnya lye! (Beb. 6:10) Ka tufube bulijjo okumuwa ekisingirayo ddala obulungi.