Emikisa Egiva mu Kuweereza nga Payoniya
1, 2. Mikisa ki egikwataganyizibwa n’obuweereza bw’obwapayoniya, era lwaki?
1 “Manyi nga tewali mulimu mulala gwonna ogwandindeetedde okumatira okusinga okwo okuva mu kutegeeza abalala amazima,” bw’atyo payoniya omu bwe yagamba. Omulala yagamba: “Ku buli nkomerero y’olunaku, nneebaka bulungi, n’omutima gwange guba gujjudde essanyu.” Bapayoniya bano bakiikirira baganda baffe ne bannyinaffe abali mu nsi yonna abafunye emikisa egiva mu kuweereza nga payoniya.—Nge. 10:22.
2 Okuyamba abalala okufuna okumanya okuwonya obulamu okuli mu Kigambo kya Katonda kireeta okumatira okwa nnamaddala. (Bik. 20:35; 1 Bas. 2:19, 20) “Kisanyusa nnyo era kizzaamu nnyo amaanyi okulaba engeri Ekigambo kya Katonda gye kikubiriza abantu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe,” bw’atyo payoniya aweerezza okumala ekiseera ekiwanvu bwe yawandiika. Yee, bwe beewaayo okuyamba abantu n’okubayigiriza Baibuli, bapayoniya baba basobola okufuna emikisa ng’egyo.
3, 4. Obwapayoniya buyigiriza butya omuntu okwesiga Yakuwa, era kino kimuyamba kitya okukula mu by’omwoyo?
3 Okwesiga Yakuwa: Okwesiga omwoyo gwa Katonda buli lunaku nga bali mu buweereza kiyamba bapayoniya okukulaakulanya “ebibala by’omwoyo,” era kino kibawa obukuumi. (Bag. 5:16, 22, 23) Okwongereza kw’ekyo, okuva bwe bakozesa Ekigambo kya Katonda entakera, bapayoniya bafuna obumanyirivu mu kukozesa Ebyawandiikibwa okulwanirira amawulire amalungi n’okuzzaamu abalala amaanyi. (2 Tim. 2:15) Ow’oluganda aweerezza nga payoniya okumala emyaka mingi yagamba: “Obwapayoniya bunyambye okufuna okumanya okw’omunda okwa Baibuli, era okumanya kuno kwe nkozesezza okuyamba abantu bangi okumanya Yakuwa n’ebigendererwa bye.” Nga kireeta okumatira kwa maanyi nnyo!
4 Era bapayoniya aba bulijjo balina okwesiga Yakuwa mu ngeri endala nnyingi. Okukkiriza kwabwe kunywezebwa bwe balaba nga Yakuwa abawa omukisa nga bafuba okwetuusaako ebyetaago eby’omubiri. Ow’oluganda aweza emyaka 72 aweerezza nga payoniya owa bulijjo okumala emyaka 55 agamba: “Yakuwa tandekereranga.” Okwongereza kw’ekyo, nga tebakalubya bulamu bwabwe beewala ebintu ebireeta okweraliikirira mu bulamu. Ekyo kikusikiriza?—Mat. 6:22; Beb. 13:5, 6.
5. Okuweereza nga payoniya kiyamba kitya omuntu okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa?
5 Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda: Enkolagana yaffe ne Yakuwa kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo kye tulina. (Zab. 63:3) Bwe twenyigira mu buweereza mu bujjuvu olw’okuba twagala Yakuwa, enkolagana eno yeeyongera okunywera. (Yak. 4:8) Payoniya aweerezza okumala emyaka 18 yagamba: “Obuweereza bw’obwapayoniya butusobozesa ‘okulega n’okutegeera nti Yakuwa mulungi,’ era buli lunaku tweyongera okunyweza enkolagana ennungi n’Omutonzi waffe.”—Zab. 34:8.
6. Bapayoniya bateekwa kubeera naki, era ng’oggyeko bapayoniya baani abalala abaganyulwa?
6 Ng’oggyeko okubeera n’embeera ezeetaagisa, bapayoniya bateekwa okuba n’okukkiriza okunywevu, okwagala okwa nnamaddala eri Katonda ne muliraanwa, era n’okubeera abeetegefu okwefiiriza. (Mat. 16:24; 17:20; 22:37-39) Kyokka, ng’essanyu lya bapayoniya buli wamu bwe liraga, emikisa egiva mu buweereza bw’obwapayoniya gisingira wala okwefiiriza kwonna. (Mal. 3:10) Emikisa gino tegikoma ku payoniya bokka, naye n’ab’omu maka gaabwe n’ekibiina baganyulwa olw’omwoyo omulungi bapayoniya abo gwe balaga.—Baf. 4:23.