Ebituweereddwa Okutuyamba Okwewala Omusaayi
Ababuulizi ababatize abajjuzaamu Ebiwandiiko by’Enzijanjaba Ebiwa Obulagirizi era Ebiggyako Obuvunaanyizibwa oba Kaadi Ezinnyonnyola, tekijja kubeetaagisa kujjuzaamu biwandiiko bippya omwaka guno singa bye bajuzaamu tebiraga mwaka lwe byafulumzibwa oba nga biraga nti byakubibwa mu 3/99. Mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki eya Ddesemba 29, omuwandiisi alina okubeera n’ebiwandiiko ebimala eby’okuwa ababuulizi abaakabatizibwa, abaana baabwe, n’abo abaagala okuzza obuggya bye balina. Ebibiina tebijja kuweerezebwa biwandiiko bino. Singa ekibiina kiba tekirina biwandiiko bimala, omuwandiisi w’ekibiina ayinza okusaba ebibiina eby’oku muliraano, oba si ekyo ayinza okulagirizaayo ebiwandiiko ebirala ekibiina lwe kinnaddako okulagiriza ebitabo.
Ebiwandiiko bino birina okujjuzibwamu n’obwegendereza awaka naye TEBIRINA kussibwako mukono. Mu Lukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo oluddako, ebiwandiiko ebyo birina okuteekebwako emikono, n’ennaku z’omwezi, nga bayambibwako akubiriza okusoma ekitabo nga bwe kiba kyetaagisa. Abajulirwa balina okulaba nnyini kiwandiiko ng’ateekako omukono.
Ababuulizi abatannabatizibwa basobola okwekolera ekiwandiiko ekyabwe n’eky’abaana baabwe nga bagoberera ebiri ku Kiwandiiko ky’Enzijanjaba era Ekiggyako Obuvunaanyizibwa ne Kaadi Ennyonnyola.