Mwebaze
1 Wadde nga tuli mu “biro eby’okulaba ennaku,” tulina ensonga nnyingi ezituleetera okwebaza Yakuwa. (2 Tim. 3:1) Ensonga esingiridde mu ezo ye Mwana we gwe yawaayo ku lwaffe. (Yok. 3:16) Okugatta ku ekyo, wadde nga abo abali mu ddiini ez’obulimba balumwa enjala ey’ebyomwoyo, ffe tufuna emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. (Is. 65:13) Tuli mu luganda olw’ensi yonna era tulina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu gw’okugaziya okusinza okw’amazima. (Is. 2:3, 4; 60:4-10, 22) Tuyinza tutya okwebaza Yakuwa olw’emikisa gy’atuwa mu bungi?—Bak. 3:15, 17.
2 Okuweereza n’Essanyu era n’Omutima Gwonna: Ng’ayogera ku kugaba ebintu, omutume Pawulo yawandiika: “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Kol. 9:7) Omusingi guno gukwata ne ku buweereza bwaffe eri Katonda. Tulaga nti twebaza Katonda bwe tuba n’ebbugumu mu mazima, bwe twoleka essanyu mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, bwe tuba abanyiikivu mu buweereza, era bwe tukola Katonda by’ayagala nga tuli basanyufu.—Zab. 107:21, 22; 119:14; 122:1; Bar. 12:8, 11.
3 Mu Isiraeri ey’edda, Amateeka gaali tegeetaaza bantu kuwaayo muwendo mugereke ku biweebwayo ebimu. Buli musinza yalaganga okusiima ‘ng’awaayo okusinzira ku mikisa Yakuwa gye yamuwanga.’ (Ma. 16:16, 17) Mu ngeri y’emu leero, omutima ogujjudde okusiima gujja kutukubiriza okukola kyonna kye tusobola mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Okuva mu mwezi gwa Jjulaayi okutuuka mu Ssebutemba tufuna akakisa ak’okulaga okusiima kwaffe. Abamu bakozesa ennaku ez’okuwummula ku mulimu oba ku ssomero okwongera ku biseera bye bamala mu nnimiro, n’okukola nga bapayoniya abawagizi. Osobola okugaziya ku buweereza bwo mu myezi egyo?
4 Okusukkirira mu Kwebaza: Engeri esingayo gye tuyinza okwebazaamu Yakuwa kwe kusaba. (1 Bas. 5:17, 18) Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘okusukkirira mu kwebaza.’ (Bak. 2:7) Ne bwe tuba nga tulina eby’okukola bingi oba nga tuli banyiikaavu, twandibadde twebaza Katonda mu ssaala zaffe eza buli lunaku. (Baf. 4:6) Yee, okuyitira mu buweereza bwaffe ne mu ssaala zaffe, ka ‘tusukkirire mu kwebazanga Katonda.’—2 Kol. 9:12.