Bayambe Beeyongere Okufuna Obujulirwa
1 Bwe tuba tubuulira, emirundi mingi tusanga abantu abatabeera mu kitundu kye tubuuliramu oba aboogera olulimi olulala nga mw’otwalidde n’olwa bakiggala. Ate era abamu ku be tubadde tuyiga n’abo Baibuli bayinza okusengukira mu bifo ebirala. Kiki kye tuyinza okukola abantu bano okusobola okweyongera okuyiga? Nga tujjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43).
2 Emirundi mingi, abantu batera okussaayo omwoyo bwe babuulirwa amawulire amalungi mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa. (Bik. 22:1, 2) N’olw’ensonga eyo, bwe tusanga omuntu ayogera olulimi olulala, twandijjuzizaamu foomu ka kibe nti omuntu oyo alabise nga tasiimye bubaka bwaffe. Kyokka, singa ekitundu kye tubuuliramu kibaamu abantu abawerako aboogera olulimi olugwira era nga batera okuweebwa obujulirwa mu lulimi lwabwe, kiba tekyetaagisa kujjuzaamu foomu omuntu bw’aba tasiimye bubaka.
3 Okujjuza Foomu: Mu ngeri ey’amagezi, gezaako okufuna erinnya ly’omuntu, endagiriro ye, era ne nnamba ye ey’essimu. Ku foomu, laga engeri gy’alazeemu okusiima, ebiseera w’oyinza okumukyalira, akatabo k’omulekedde oba k’ayagala bamutwalire, n’olulimi lw’asinga okutegeera. Amangu ddala ng’omaze okujjuzaamu foomu, giwe omuwandiisi w’ekibiina asobole okugiweereza ekibiina ekikozesa olulimi olwo.
4 Okuweereza Foomu: Omuwandiisi w’ekibiina bw’aba nga tamanyi kibiina gy’alina kuweereza foomu, oba nga talina ndagiriro y’ekibiina ekyo, ayinza okukuba essimu ku ofiisi y’ettabi asobole okumanya ebisingawo. Foomu eno bw’eba eweerezebwa, tekikyetaagisa kutegeeza mulabirizi wa kibuga.
5 Ekibiina bwe kifuna foomu eyitibwa Please Follow Up, enteekateeka zirina okukolebwa okukyalira omuntu oyo amangu ddala. Bwe tufuba okukola kyonna kye tusobola mu buweereza bwaffe, tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuggula emitima gy’abo ‘abagwanira okufuna obulamu obutaggwaawo.’—Bik. 13:48.