Kozesa Magazini ng’Obuulira
1, 2. Abantu bakwatiddwako batya bwe basoma Watchtower ne Awake!?
1 “Zinyuma, zijjira mu kiseera ekituufu, era zizzaamu amaanyi.” “Bwe butabo obusinga okuzzaamu amaanyi bwe nnali nsomye.” Ebigambo ebyo byoleka engeri abasomi gye basiimamu Watchtower ne Awake! mu nsi yonna. Mazima ddala, magazini zaffe zitusobozesezza okutuusa amawulire amalungi ku ‘bantu aba buli kika.’—1 Tim. 2:4.
2 Omusajja omu munnabizinesi yafuna magazini ya Awake! eyalimu ekitundu ekyamusanyusa. Oluvannyuma yasoma ne Watchtower eyalimu ekitundu ekyamuleetera okwekenneenya enjigiriza ya Tiriniti. Ebitundu bino byamuleetera okwagala okumanya ebisingawo. Waayitawo emyezi mukaaga, n’abatizibwa. Omwami omulala ye yafunanga magazini naye nga tazisoma. Kyokka ate ye mukyala we eyeewalanga Abajulirwa, yasomanga magazini ze baalekeranga omwami. Bwe yasoma ebikwata ku kisuubizo kya Baibuli eky’abantu abatuukirivu okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi yakwatibwako nnyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, omukyala oyo, mutabani we, awamu ne muwala we, baafuuka abaweereza ba Yakuwa.
3. Lwaki kirungi okugaba magazini zombi?
3 Zigabire Wamu Zombi: Okusinziira ku byokulabirako ebyo bye tulabye, tetuyinza kumanya ani anaasoma magazini zaffe oba okumanya ekiyinza okusikiriza omuntu. (Mub. 11:6) N’olwekyo, kiba kirungi okugabira awamu Watchtower ne Awake! wadde ng’emu yokka gye twogerako nga tuzigaba. Mu mbeera ezimu, kiyinza okuba ekirungi okugaba magazini eziwerako omulundi gumu.
4. Tuyinza kukola nteekateeka ki ey’okugaba magazini?
4 Kyandibadde kirungi ne tutegekawo olunaku lumu buli wiiki olw’okugabirako magazini. Ku kalenda y’Abajujulirwa ba Yakuwa eya 2005 kiragibwa nti buli Lwamukaaga “Lunaku lwa Kugaba Magazini.” Okuva embeera z’omu kitundu n’eza buli muntu bwe zaawukana, abamu bayinza okusalawo okugaba magazini ku lunaku olulala. Olina olunaku olw’okugabirako magazini buli wiiki?
5. Mikisa ki gye tuyinza okukozesa okugaba magazini era kiki ekinaatuyamba okukikola?
5 Weeteerewo Ekirubirirwa: Okweteerawo ekiruubirirwa eky’omuwendo gwa magazini z’ogaba buli mwezi, kijja kutuyamba okufuba okugaba magazini. Olina abantu b’otwalira magazini buli lwe zifuluma? Ogaba magazini ng’oli mu buweereza bw’ennimiro? Ogaba magazini ku nguudo, mu bifo awakolerwa bizineesi, oba mu bifo bya lukale? Obeera ne magazini ng’oli ku lugendo, ng’olina by’ogenda okugula, oba ng’olina gw’oteeseteese okusisinkana? Kozesa buli kakisa k’ofuna okuyamba abalala okuganyulwa mu Watchtower ne Awake!
6. Tuyinza tutya okukozesa obulungi magazini ezaafuluma mu kiseera eky’emabega?
6 Tuyinza n’okussaawo ekiruubirirwa eky’okugaba magazini ezaafuluma mu kiseera eky’emabega. Magazini ne bw’eba nga yafuluma omwezi gumu oba ebiri emabega, ebirimu biba bikyali bya muganyulo. Zigabire abantu abaagala okuzisoma. Abantu bukadde na bukadde basobodde okufuna ‘ekigambo ekirungi mu kiseera ekituufu’ bwe basomye Watchtower ne Awake! (Nge. 25:11) Ka tukozese magazini zino okusobola okuyamba obukadde n’obukadde bw’abantu abalala, n’abo basobole okumanya Yakuwa era bamuweereze.