LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/05 lup. 3-6
  • Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ebitabo eby’Okukozesa
  • Engeri y’Okuteekateekamu
  • Bye Musoma Bituukaganye n’Ebyetaago by’Omuyizi
  • Kozesa Ekigambo kya Katonda ng’Oyigiriza
  • Okusaza ku by’Okuddamu n’Okubaako by’Awandiika
  • Okuyitaayitamu n’Okwejjukanya
  • Zimba Okukkiriza Okunywevu
  • Tolandagga
  • Kozesa Amagezi
  • Beera Mwetoowaze
  • Engeri gy’Oyinza Okutandika Okusaba
  • By’Oyinza Okwogerako ng’Osaba
  • Enkuŋŋaana z’Ekibiina:
  • Kozesa Vidiyo Okubayamba Okutegeera Obulungi Ekibiina
  • Mukubirize Okubuulira
  • Mutendeke Engeri y’Okunnyonnyola Abalala Enzikiriza Ze
  • Tegekera Wamu Naye
  • Mubuulirire Wamu
  • Nga Muteekateeka Okuddayo
  • Okunyiikira Okuddayo eri Abo Abaalaga Okusiima
  • Okutandika Okuyigiriza Omuntu Baibuli
  • Okutendeka Abayizi Okuba Abasomesa
  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu Ekisooka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu eky’Okubiri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Weeteeketeeke Bulungi ng’Ogenda Okuyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 9/05 lup. 3-6

LUTEREKE

Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana

Olupapula luno luliko ensonga enkulu eziggyiddwa mu bitundu ebirina omutwe, okuyamba abayizi ba Baibuli okukulaakulana ebibadde bifulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Mwenna mukubirizibwa okulukuuma era n’okulweyambisa nga muyigiriza abayizi ba Baibuli. Okugatta ku ekyo, ensonga eziri ku lupapula luno zisobola okukozesebwa mu lukuŋŋaana olw’okugenda mu buweereza bw’ennimiro era n’abalabirizi b’obuweereza basobola okuzeeyambisa mu mboozi ze bawa nga bakyalidde ebibinja awabeera okusoma ekitabo.

Ekitundu 1: Omuyizi wa Baibuli y’Ani?

Singa toyosa kukubaganya birowoozo n’omuntu ng’okozesa Baibuli n’ebitabo bye tweyambisa okuyigiriza, wadde ng’omala akabanga katono, omuntu oyo aba muyizi wa Baibuli. Bw’osoma n’omuntu emirundi egiwera ebiri oluvannyuma lw’okumulaga engeri gye tuyigamu Baibuli n’abantu, osobola okuwaayo lipoota ekwata ku muyizi oyo bw’oba olaba ng’aneeyongera mu maaso okuyiga.​—km-LU 7/04 lup. 1.

Ebitabo eby’Okukozesa

◼ Katonda Atwetaagisa Ki?

◼ Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwawo

◼ Sinza Katonda Omu ow’Amazima

◼ Osobola Okuba Mukwano gwa Katonda! kasobola okukozesebwa okusoma n’abantu abataafuna buyigirize bumala oba abatamanyi kusoma.

Ekitundu 2: Okweteekateeka Okuyigiriza Omuntu Baibuli

Tusaanidde okuyigiriza mu ngeri etuuka ku mutima gw’omuyizi. Kino kitwetaagisa okuteekateeka obulungi kisobozese omuyizi okuganyulwa.​—km-LU 8/04 lup. 1.

Engeri y’Okuteekateekamu

◼ Weekenneenye omutwe gw’essuula oba essomo, emitwe emitono n’ebifaananyi.

◼ Zuula awali eby’okuddamu era osaze ku nsonga enkulu zokka.

◼ Londamu ebyawandiikibwa bye mujja okusoma nga muyiga. Baako ebitonotono by’owandiika ku mabbali g’olupapula.

◼ Teekateeka ensonga enkulu ze mujja okwejjukanya oluvannyuma lw’okusoma.

Bye Musoma Bituukaganye n’Ebyetaago by’Omuyizi

◼ Tegeeza Yakuwa ebyetaago by’omuyizi wo ng’oyitira mu kusaba.

◼ Lowooza ku nsonga eziyinza okumuzibuwalira okutegeera oba okukkiriza.

◼ Weebuuze: Kiki ky’asaanidde okutegeera oba nkyukakyuka ki z’alina okukola okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo? Nnyinza ntya okumutuuka ku mutima?

◼ Oluusi kiyinza okukwetaagisa okutegeka eky’okulabirako, engeri gy’onoomunnyonnyolamu, oba okutegeka ebibuuzo ebinaayamba omuyizi okutegeera ensonga gye mwogerako oba ekyawandiikibwa.

Ekitundu 3: Okukozesa Obulungi Ebyawandiikibwa

Ekigendererwa kyaffe mu kuyigiriza abantu Baibuli kwe ‘kubafuula abayigirizwa’ nga tubayamba okutegeera n’okukkiriza enjigiriza eziri mu Kigambo kya Katonda era n’okuzissa mu nkola mu bulamu bwabwe. (Mat. 28:19, 20; 1 Bas. 2:13) N’olwekyo, bye tuyigiriza byandyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.​—km-LU 11/04 lup. 4.

Kozesa Ekigambo kya Katonda ng’Oyigiriza

◼ Laga omuyizi engeri gy’ayinza okuzuulamu ebyawandiikibwa mu Baibuli ye.

◼ Soma era mukubaganye ebirowoozo ku Byawandiikibwa ebyesigamiziddwako enzikiriza zaffe.

◼ Kozesa ebibuuzo. Mu kifo ky’okunnyonnyola omuyizi ebyawandiikibwa, muleke ye abikunnyonnyole.

◼ Yigiriza mu ngeri ennyangu. Togezaako kunnyonnyola buli ekiri mu kyawandiikibwa. Nokolayo ebyo byokka ebyetaagisa okuggyayo ensonga gye mwogerako.

◼ Laga engeri y’okubissa mu nkola. Yamba omuyizi okulaba engeri Ebyawandiikibwa gye bimukwatako ye kennyini.

Ekitundu 4: Okuyigiriza Abayizi Okutegeka

Omuyizi ategeka nga bukyali, n’asaza ku by’okuddamu era n’alowooza ne ku ngeri gy’ayinza okuddamu mu bigambo bye, akulaakulana mangu nnyo mu by’omwoyo. N’olwekyo, bw’otandika okuyiga n’omuntu, musome naye essomo osobole okumulaga engeri y’okutegekamu. Kiba kirungi okutegekera awamu n’abayizi abasinga obungi essuula yonna oba essomo lyonna.​—km-LU 12/04 lup. 1.

Okusaza ku by’Okuddamu n’Okubaako by’Awandiika

◼ Nnyonnyola omuyizi engeri gy’ayinza okufunamu eby’okuddamu mu bibuuzo ebiba biweereddwa.

◼ Mulage ekitabo kyo mwe wasaza ku bigambo byokka ebiggayo ensonga enkulu.

◼ Muyambe okukitegeera nti buli kyawandiikibwa ekiweereddwa, kyokka nga tekisimbuliziddwa butereevu okuva mu Baibuli, kirina ensonga gye kiwagira mu katundu era omulage engeri gy’ayinza okubaako ebitonotono by’awandiika ku mabbali g’empapula mu katabo ke.

Okuyitaayitamu n’Okwejjukanya

◼ Laga omuyizi engeri y’okwekenneenyamu omutwe omukulu ogw’essuula, emitwe emitono n’ebifaananyi nga tannatandika kutegeka.

◼ Mukubirize okwejjukanya ensonga enkulu ng’amaze okutegeka essomo.

Ekitundu 5: Okumanya Obungi bw’Ebyo by’Olina Okuyigiriza Omuyizi

Obungi bw’ebyo ebirina okuyigirizibwa bwandisinzidde ku busobozi n’embeera y’omusomesa awamu n’omuyizi.​—km-LU 1/05 lup. 1.

Zimba Okukkiriza Okunywevu

◼ Ekisinga obukulu kwe kuyamba omuyizi okutegeera obulungi by’asoma so si okumuyigiriza ebintu ebingi mu kiseera ekitono.

◼ Waayo ebiseera ebimala okuyamba omuyizi okutegeera n’okukkiriza ebyo by’ayiga.

◼ Waayo ebiseera ebimala okusoma ebyawandiikibwa ebiggyayo ensonga z’omuyigiriza.

Tolandagga

◼ Singa omuyizi agezaako okulandagga ng’ayogera ku bimukwatako, oyinza okutegeka ne mu byogerako oluvannyuma lw’okusoma.

◼ Bw’oba oyigiriza, weewale okwogera ekisukkiridde. Bw’okozesa ensonga endala oba ekyokulabirako, tebirina kuba bingi ne bituuka n’okulemesa omuyizi okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli enkulu.

Ekitundu 6: Omuyizi bw’Abuuza Ekibuuzo

Omuntu bw’amala okufuuka omuyizi, kiba kirungi okugoberera amasomo nga bwe gaddiriŋŋana mu kifo ky’okulondamu ago omuyizi g’ayagala. Kino kijja kumuyamba okufuna okumanya okutuufu okunaamusobozesa okukulaakulana mu by’omwoyo.​—km-LU 2/05 lup. 6.

Kozesa Amagezi

◼ Bw’abuuza ebibuuzo ebikwatagana ne bye muyigako, osobola okubiddamu mu kiseera ekyo kyennyini.

◼ Ebibuuzo bwe biba nga tebikwatagana na ssomo lye muliko oba nga byetaagisa okunoonyerezaako, kyandibadde kirungi okubiddamu ku mulundi omulala. Kiba kirungi okuwandiika ebibuuzo ng’ebyo.

◼ Singa omuyizi azibuwalirwa okutegeera enjigiriza emu, kiba kirungi okwekenneenya ebitabo ebirala ebinnyonnyola enjigiriza eyo mu ngeri esingawo.

◼ Omuyizi bw’aba ng’akyalemereddwa okugitegeera, musobola okweyongera mu maaso n’okuyiga kwammwe ne mutegeka okugyogerako olunaku olulala.

Beera Mwetoowaze

◼ Bw’oba nga teweekakasa kya kuddamu, weewale okuwa endowooza yo.

◼ Yigiriza omuyizi engeri gy’ayinza okunoonyereza.

Ekitundu 7: Okusaba

Abayizi ba Baibuli beetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo. N’olwekyo, buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuntu Baibuli, kyetaagisa okutandika era n’okufundikira n’okusaba.​—km-LU 3/05 lup. 4.

Engeri gy’Oyinza Okutandika Okusaba

◼ Eri abo abafaayo ku by’eddiini, tusobola okusaba ku mulundi gwe tusoose okuyiga nabo.

◼ Ate eri abo abatafaayo ku bya ddiini, tuyinza okukozesa amagezi ne tulaba ddi lwe kisaanira okutandika okusaba nabo.

◼ Osobola okukozesa Zabbuli 25:4, 5 ne 1 Yokaana 5:14 okunnyonnyola ensonga lwaki tusaba.

◼ Osobola okukozesa Yokaana 15:16 okunnyonnyola obukulu bw’okuyitira mu Yesu Kristo nga tusaba Yakuwa.

By’Oyinza Okwogerako ng’Osaba

◼ Kisaana okutendereza Yakuwa olw’okuba y’ensibuko y’ebyo bye tuyiga.

◼ Yogera ku bintu ebiraga nti ofaayo ku muyizi.

◼ Laga nti osiima ekibiina Yakuwa ky’akozesa.

◼ Saba Yakuwa ayambe omuyizi okussa mu nkola by’ayiga.

Ekitundu 8: Okuyamba Abayizi Okwegatta ku Kibiina

Ekiruubirirwa kyaffe mu kuyigiriza abayizi, si kwe kubayigiriza enjigiriza za Baibuli kyokka naye era n’okubayamba okwegatta ku kibiina Ekikristaayo. Kozesa eddakiika ntonotono buli wiiki nga musoma omuyigirizeeyo ekintu kimu ekikwata ku kibiina kya Yakuwa.​—km-LU 4/05 lup. 8.

Enkuŋŋaana z’Ekibiina:

◼ Bannyonnyole buli lukuŋŋaana lw’ekibiina. Bakubirize okubaawo mu nkuŋŋaana ku mulundi gw’osoose okuyiga nabo.

◼ Babuulire ensonga enkulu ezaayogeddwako mu lukuŋŋaana.

◼ Baleetere okwesunga olunaku olw’Ekijjukizo, enkuŋŋaana ennene n’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu.

◼ Kozesa ebifaananyi ebiri mu bitabo byaffe okubayamba okutegeera obulungi ebyo ebibeera mu nkuŋŋaana.

◼ Bakubirize okusoma brocuwa Abajulirwa ba Yakuwa​—Be Baani? Kiki Kye Bakkiriza?

Kozesa Vidiyo Okubayamba Okutegeera Obulungi Ekibiina

◼ Jehovah’s Witnesses​—The Organization Behind the Name

◼ Our Whole Association of Brothers

◼ United by Divine Teaching

◼ To the Ends of the Earth

Ekitundu 9: Okuyamba Abayizi Okubuulira Embagirawo

Abayizi ba Baibuli bwe batandika okukkiririza mu ebyo bye bayiga, babibuulirako abalala.​—km-LU 5/05 lup. 1.

Mukubirize Okubuulira

◼ Waliwo mikwano gye n’ab’omu maka b’ayinza okuyita ne babeerawo ng’ayiga Baibuli?

◼ Waliwo bakozi banne, basomi banne oba abantu abalala abalaze nti baagala amawulire amalungi?

Mutendeke Engeri y’Okunnyonnyola Abalala Enzikiriza Ze

◼ Oluusi n’oluusi oyinza okubuuza omuyizi wo, “Wandikozesezza otya Baibuli okunnyonnyola ab’omu maka go amazima gano?”

◼ Yamba omuyizi okulaba obukulu bw’okuwa abalala ekitiibwa n’okuba ow’ekisa ng’ababuulira ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa bye.

◼ Brocuwa Abajulirwa ba Yakuwa​—Be Baani? Kiki Kye Bakkiriza? erimu ebintu abayizi bye basobola okukozesa, okuyamba mikwano gyabwe n’ab’omu maka gaabwe okutegeera enzikiriza zaffe n’ebyo bye tukola ebyesigamiziddwa ku Baibuli.

Ekitundu 10: Okutendeka Omuyizi wa Baibuli Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba

Abakadde bwe balaba ng’omuyizi wa Baibuli atuukiriza ebisaanyizo by’okubeera omubuulizi atali mubatize, ayinza okutandika okubuulira awamu n’ekibiina.​—km-LU 6/05 lup. 1.

Tegekera Wamu Naye

◼ Laga omuyizi w’ayinza okusanga ennyanjula ez’okukozesa.

◼ Mulondere ennyanjula ennyangu etuukagana n’abantu b’omu kitundu kye mubuuliramu.

◼ Mukubirize okukozesa Baibuli ng’ali mu buweereza.

◼ Mwegezeemu mwembi. Mulage engeri gy’ayinza okuddamu ebibuuzo ebitera okubuuzibwa mu kitundu kye mubuuliramu.

Mubuulirire Wamu

◼ Mugambe yeetegereze ng’okozesa ennyanjula gye mwategekedde awamu.

◼ Lowooza ku busobozi n’engeri z’omuyizi. Emirundi egimu kiba kirungi okumuleka n’abaako ebitonotono by’ayogera mu ennyanjula.

◼ Yamba omubuulizi omuppya okuba n’enteekateeka ey’okubuulira buli wiiki.

Ekitundu 11: Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okuddayo eri Abaalaga Okusiima

Lwe tuba tusoose okubuulira omuntu, lwe tulina okukola enteekateeka ey’okuddayo okumukyalira. Kubiriza omubuulizi omuppya okufaayo ku abo b’ayogera nabo. Mutendeke engeri gy’ayinza okumanyamu endowooza yaabwe, okubawuliriza, n’okumanya ebintu ebibeeraliikiriza.​—km-LU 7/05 lup. 1.

Nga Muteekateeka Okuddayo

◼ Mwejjukanye bye yawandiika era omulage engeri gy’ayinza okulondamu ekintu ky’anaayogerako ekinaasikiriza nnyinimu.

◼ Muteeketeeke mwembi ennyanjula eri mu bufunze ng’erimu okusoma ekyawandiikibwa kimu n’akatundu kamu mu katabo ke mukozesa okuyiga.

◼ Mutegekeeyo ekibuuzo kye munaaleka bwe munaaba nga mufundikira.

Okunyiikira Okuddayo eri Abo Abaalaga Okusiima

◼ Kubiriza omuyizi okuddayo amangu ddala eri abo bonna abaalaga okusiima.

◼ Muyambe okulaba obwetaavu bw’okuddayo enfunda n’enfunda eri abo abatatera kubeera waka.

◼ Muyigirize engeri gy’ayinza okukolamu enteekateeka okuddayo okukyalira omuntu era omuyambe okutegeera nti kikulu nnyo okuddayo nga bw’aba asuubizza.

Ekitundu 12: Okuyamba Abayizi Baffe Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli

Kikulu nnyo okukoppa Yesu ng’ossaawo ekyokulabirako ekirungi mu buweereza. Omuyizi wo bw’alaba ekyokulabirako ky’ossaawo mu buweereza, ajja kutegeera nti ekiruubirirwa eky’okuddayo eri abantu kwe kutandika okubayigiriza Baibuli.​—km-LU 8/05 lup. 1.

Okutandika Okuyigiriza Omuntu Baibuli

◼ Nnyonnyola omuyizi nti tekyetaagisa kubuulira muntu kalonda yenna akwata ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza.

◼ Ekisinga obulungi kwe kulaga obulazi omuntu engeri y’okuyigamu naye nga musoma akatundu kamu oba bubiri mu katabo.

◼ Mwejjukanye era mwegezeemu ennyanjula ekwata ku kutandika okuyigiriza Abantu Baibuli.​—km-LU 8/05 lup. 8; km-LU 1/02 lup. 6.

Okutendeka Abayizi Okuba Abasomesa

◼ Kubiriza abayizi okuyingira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.

◼ Kubiriza ababuulizi abappya bakuwerekereko ng’ogenda okuyigiriza abantu Baibuli. Bayinza okubaako ebitonotono bye boogera.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share