LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/05 lup. 1
  • Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • Koppa Yesu ng’Obuulira n’Obuvumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • ‘Yogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obuulira n’Obuvumu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olwa 2018-2019—Omulabirizi w’Ekitundu
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 10/05 lup. 1

Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu

1 Ng’Abakristaayo, tukimanyi nti bwe tuba tubuulira si buli muntu nti ajja kukkiriza bye tubuulira. (Mat. 10:14) Kyokka ekyo tekitulemesa kubuulira amawulire amalungi. (Nge. 29:25) Kiki ekituyamba okweyongera okubuulira Ekigambo kya Katonda n’obuvumu?

2 Omutume Pawulo yakitwala nga “kya muwendo nnyo okutegeera Kristo Yesu.” Ekyo kyamuleetera okubuulira ‘n’obuvumu.’ (Baf. 3:8, NW; 1 Bas. 1:5) Wadde ng’abamu baatwala obubaka bwe yabuulira ng’ekintu eky’obusiru, yali akimanyi nti obubaka obwo ‘ge maanyi ga Katonda okulokola buli akkiriza.’ (Bar. 1:16) N’olwekyo, ne bwe yali ng’aziyizibwa, yeeyongera ‘okubuulira n’obuvumu mu maanyi ga Yakuwa.’​—Bik. 14:1-7; 20:18-21, 24.

3 Ensibuko y’Amaanyi Gaffe: Obuvumu Pawulo bwe yalina ng’abuulira tebwasibuka mu maanyi ge. Bwe yali nga yeeyogerako ne Siira, Pawulo yawandiika: ‘Bwe twamala okubonaabona n’okugirirwa ekyejo mu Firipi ne tugumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kufuba okungi.’ (1 Bas. 2:2; Bik. 16:12, 37) Ate era bwe yali mu kkomera e Rooma, Pawulo yakubiriza abalala okumusabira asobole okweyongera okubuulira amawulire amalungi ‘n’obuvumu.’ (Bef. 6:18-20) Olw’okuba yeesiga Yakuwa, Pawulo yasobola okweyongera okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.​—2 Kol. 4:7; Baf. 4:13.

4 Ne leero bwe kityo bwe kiri. Ow’oluganda omu eyakisanga nga kizibu okutegeeza bakozi banne nti yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era n’okubuulira embagirawo, yasaba Yakuwa era n’atandika okuwa obujulirwa. Omu ku bakozi banne yasooka n’agaana okuwuliriza, naye ow’oluganda bwe yayogera ku ssuubi ery’okuzuukira, mukozi munne oyo yatandika okuyiga Baibuli. Okuva olwo ow’oluganda yatandika okuwa obujulirwa buli lwe yafunanga akakisa. Bwe yafuna omulimu omulala, yasobola okuyamba abantu 34 okutuuka ku kubatizibwa mu banga lya myaka 14. Tusobola okuba abakakafu nti naffe Yakuwa ajja kutuwa amaanyi ‘tweyongere okubuulira ekigambo kye n’obuvumu.’​—Bik. 4:29.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share