LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/05 lup. 8
  • Yiga Okukubaganya Ebirowoozo n’Abalala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yiga Okukubaganya Ebirowoozo n’Abalala
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • “Basobole Okunoonya Katonda, . . . era Bamuzuule”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Okubuulira Abantu nga Tutuukana n’Embeera Zaabwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • ‘Nyiikiriranga Okuyigiriza’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Otunuulira Otya Ennimiro?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 10/05 lup. 8

Yiga Okukubaganya Ebirowoozo n’Abalala

1. Kyawandiikibwa ki kye tugenda okwekenneenya era lwaki?

1 Okwogera kwa Pawulo mu kkuŋŋaaniro lye Antiyokiya eky’e Pisidiya, okuli mu Ebikolwa by’Abatume 13:16-41, kutuwa ekyokulabirako ekirungi ku ngeri y’okukubaganyamu ebirowoozo n’abalala. Pawulo yafaayo ku mbeera n’endowooza z’abo abaali bamuwuliriza era n’atuukanya ennyanjula ye nabo. Nga twekenneenya ekyawandiikibwa ekyo, ka twetegereze engeri gye tuyinza okukola ekintu kye kimu mu buweereza bwaffe.

2. Ki kye tuyigira ku ngeri Pawulo gye yatandikamu emboozi ye?

2 Manya Kye Mukkiriziganyaako: Wadde ng’obubaka Pawulo bwe yali abuulira bw’ali bukwata ku kifo Yesu ky’alina mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, ekyo si kye yatandikirako ng’awa emboozi ye. Wabula yatandika ng’ayogera ku kintu kye yali akkiriziganyako n’Abayudaaya abaali bamuwuliriza, kwe kugamba ebyafaayo by’Abayudaaya. (Bik. 13:16-22) Mu ngeri y’emu, naffe tujja kutuuka ku mitima gy’abalala singa tusooka kwogera ku ebyo bye tukkiriziganyaako nabo. Kino kiyinza okutwetaagisa okubabuuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi ebibaleetera okubaako kye boogera era ne tubawuliriza bulungi okusobola okumanya kye batwala ng’ekikulu.

3. Lwaki abo abaali bawuliriza Pawulo baazibuwalirwa okukkiriza nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa?

3 Bwe yali ayogera ku byafaayo by’Abayudaaya, Pawulo yajjukiza abaali bamuwuliriza ekisuubizo kya Katonda eky’okubawa Omulokozi okuva mu lunyiriri lwa Dawudi. Abayudaaya bangi baali balindirira omulwanyi nnamige eyandibanunudde okuva mu bufuge bw’Abaruumi era n’ayamba eggwanga lyabwe okulaakulana okusinga amalala gonna. Awatali kubuusabuusa, baali bakimanyi bulungi nti abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya mu Yerusaalemi baali bagaanyi Yesu, ne bamuwaayo mu mikono gy’Abaruumi, era ne bamutta. Kati olwo Pawulo yandisobodde atya okubamatiza nti Oyo ye yali Masiya eyasuubizibwa?

4. Pawulo yakubaganya atya ebirowoozo n’Abayudaaya abaali bamuwuliriza?

4 Tuukanya Ennyanjula Yo n’Abakuwuliriza: Olw’okuba yali amanyi endowooza y’abamuwuliriza, Pawulo yakozesa Ebyawandiikibwa okukubaganya nabo ebirowoozo ng’asinziira ku ebyo bye baali bakkiriza. Ng’ekyokulabirako, yatandika ng’ayogera ku Yesu nga muzzukulu wa Dawudi era n’agamba nti ne Yokaana omubatiza eyali amanyiddwa nga nnabbi wa Katonda, naye yamwogerako. (Bik. 13:23-25) Pawulo yannyonnyola nti abakulembeze b’amadiini okugaana Yesu n’okumuwaayo attibwe, kyali ‘kituukiriza ebyayogerwa Bannabbi.’ (Bik. 13:26-28) Ate era, yannyonnyola nti waliwo abaalaba Yesu ng’azuukiziddwa okuva mu bafu, era n’ayogera ne ku Byawandiikibwa bye baali bamanyi ebyatuukirizibwa nga Yesu azuukiziddwa.​—Bik. 13:29-37.

5. (a) Pawulo yatuukanya atya ennyanjula ye n’Abayonaani abaali bamuwuliriza? (b) Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo bwe tuba tubuulira mu bitundu byaffe?

5 Ate bwe yali mu Asene ng’abuulira Abayonaani mu Aleyopaago, Pawulo yakozesa ennyanjula ey’enjawulo. (Bik. 17:22-31) Kyokka, obubaka bwe yali ababuulira bwali bwe bumu, era ku mirundi gyombi ebyavaamu byali birungi. (Bik. 13:42, 43; 17:34) Mu ngeri y’emu leero, tujja kutuuka ku mitima gy’abantu mu buweereza bwaffe singa tumanya bye tukkiriziganyaako n’abatuwuliriza era ne tutuukanya ennyanjula yaffe n’ebyo bye bamanyi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share