Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu
Olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza 2008 lulina omutwe: “Ffe Tuli Bbumba—Yakuwa Ye Mubumbi Waffe,” nga gwesigamiziddwa ku Isaaya 64:8. Okubuulirira okw’omu Byawandiikibwa okunaaweebwa mu lukuŋŋaana luno, kujja kutuyamba okweyongera okutegeera amagezi ga Yakuwa, obwenkanya bwe, amaanyi ge, n’okwagala kwe ng’Omubumbi Omukulu.
Okwogera kw’omulabirizi w’ekitundu okulina omutwe, “Okuweereza ng’Ebibya eby’Ekitiibwa mu Nnimiro,” kujja kutulaga engeri abantu gye beeyongedde okutegeera amazima era n’okugabuulirako abalala. Okwogera okulina omutwe “Okufumiitiriza Kujja Kukukuuma,” kujja kutulaga engeri gye tukuumibwamu bwe tufumiitiriza ennyo ku misingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Omwogezi anaaba akyadde ajja kuwa emboozi erina omutwe ogugamba nti “Temufaananyizibwanga ng’Emirembe Gino” ne “Mubumbibwe Omubumbi Omukulu.” Abazadde n’abaana bajja kuzzibwamu nnyo amaanyi mu kwogera okulina omutwe “Abavubuka Ab’omugaso eri Yakuwa” ne “Ekifo Ekikulu Abazadde Kye Balina mu Mulimu gw’Okubumba.” Okuyitira mu byokulabirako n’okubuuza ebibuuzo, tujja kuba basanyufu okuwulira n’okulaba ebyo baganda baffe ne bannyinaffe bye batuukiriza mu buweereza bwabwe. Abo abandyagadde okubatizibwa, basaanidde okutegeeza omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde amangu ddala nga bwe kisoboka. Kakasa nti ojja n’akatabo k‘Omunaala gw’Omukuumi akalina okusomebwa mu wiiki eyo ey’olukuŋŋaana.
Omubumbi Omukulu atuukiriza ebigendererwa bye byonna. Kyokka kiri eri buli omu ku ffe okwesalirawo oba ng’anakkiriza okubumbibwa. Abo abagoberera emitindo gya Yakuwa, basobola okukyusibwa, okutereezebwa, era n’okufuulibwa ebibya eby’omugaso, okufaananako ekitole ky’ebbumba ekiri mu mikono gy’omubumbi. Bwe tugondera Yakuwa, tugulumiza obufuzi bwe era ekyo kituviirako okufuna emikisa mingi.