Abaavu Bawe Essuubi
1 Yesu yafangayo nnyo ku baavu. Emirundi egimu yakolanga ku byetaago byabwe eby’omubiri mu ngeri y’ekyamagero era n’awonya n’abalwadde, naye essira yasinga kulissa ku kubuulira ‘amawulire amalungi’ eri abaavu. (Mat. 11:5) Obuweereza bw’Abakristaayo leero bukyeyongera okuganyula abaavu n’abantu abalala.—Mat. 24:14; 28:19, 20.
2 Essuubi Erya Nnamaddala: Abakulembeze ba Kristendomu batera okusuubiza abaavu nti bajja kugaggawala singa bawaayo ssente nnyingi eri ekkanisa. Kyokka, Baibuli eyigiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okuggyawo obwavu n’okugonjoola ebizibu by’abantu byonna. (Zab. 9:18; 145:16; Is. 65:21-23) Bwe tuyamba abaavu okutegeera ekyo Baibuli ky’eyigiriza, tuba tubawa essuubi era ne tubasobozesa okukola ku bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.—Mat. 5:3.
3 Abafalisaayo abaaliwo mu kiseera kya Yesu baanyoomanga abaavu nga babayita ‘am-ha·’aʹrets, ekigambo ekifeebya ekitegeeza “abantu aba wansi.” Wadde kyali kityo, Yesu yatwala “omusaayi gwabwe” oba obulamu bwabwe, nga bwa “muwendo mungi.” (Zab. 72:13, 14) Tusobola okukoppa Yesu nga ‘tusaasira’ abaavu era nga tubalumirirwa. (Nge. 14:31) Tetwagala kwogera mu ngeri efeebya abo abava mu maka amaavu oba okulonzalonza okubawa obujulirwa. Bangi ku abo abasiima obubaka bw’Obwakabaka bantu baavu.
4 Bayambe Kati: Abaavu abali mu kitundu kyaffe bwe tubayigiriza emisingi gya Baibuli, nakyo kibayamba mu kiseera kino okwewala ebintu ebimu ebireeta obwavu. Ng’ekyokulabirako, Baibuli evumirira obutamiivu, okukuba zzaala, obugayaavu, okunywa sigala, n’emize emirala egireeta obwavu. (Nge. 6:10, 11; 23:21; 2 Kol. 7:1; Bef. 5:5) Ebyawandiikibwa bitukubiriza okuba abeesigwa era n’okukola ‘n’omutima gwaffe gwonna,’ nga zino z’engeri ezeetaagisibwa mu abo abakozesebwa. (Bak. 3:22, 23; Beb. 13:18) Mu butuufu, mu kunoonyereza okumu okwakolebwa, abakozesa abasinga obungi baagamba nti obwesigwa y’engeri gye basinga okwagala mu abo abaagala okukozesebwa.
5 Yakuwa afaayo ku kubonaabona kw’abaavu. Mangu ddala Yesu Kristo ajja kununula “omwavu atalina mubeezi.” (Zab. 72:12) Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tulina enkizo ey’okubudaabuda abalala, nga mw’otwalidde n’abaavu, nga tubatwalira obubaka bwa Baibuli obuwa essuubi.