LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp20 Na. 2 lup. 4-5
  • Lwaki Twetaaga Obwakabaka bwa Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Twetaaga Obwakabaka bwa Katonda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ABANTU BATANDIKA OKUFUGA
  • KATONDA ANAATERA OKUBAAKO KY’AKOLAWO!
  • Obwakabaka bwa Katonda—Obufuzi bw’Ensi Obuppya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Ensonga Ekukwatako Ggwe
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
  • Kyeyolese Nti Obufuzi bwa Yakuwa Bwe Busingayo Obulungi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Lwaki Waliwo Ebintu Ebibi n’Okubonaabona?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 2 lup. 4-5
Adamu ne Kaawa batunuulidde amazzi agayira mu lusuku Edeni.

Ku ntandikwa, ebitonde byonna byali bumu era nga biri mu mirembe

Lwaki Twetaaga Obwakabaka bwa Katonda?

Ku ntandikwa, Omutonzi waffe ayitibwa Yakuwa, ye yali Omufuzi yekka era ng’afuga mu ngeri ya kwagala. Yatonda olusuku olulabika obulungi mu Edeni, n’ateekamu abantu abaasooka era n’abawa emmere nnyingi. Ate era, yabawa emirimu egyandibaleetedde essanyu. (Olubereberye 1:28, 29; 2:8, 15) Abantu bandibadde mu mirembe singa bakkiriza okusigala nga bafugibwa Katonda.

Adamu akutte ekibala Kaawa ky’amuwadde Katonda kye yabagaana okulya.

Abantu abaasooka baajeemera Katonda

Bayibuli eraga nti malayika omujeemu, oluvannyuma eyayitibwa Sitaani, yabuusabuusa obanga Katonda y’agwanidde okufuga abantu. Yagamba nti abantu bandibadde basanyufu nga tebafugibwa Katonda era nga tebagoberera bulagirizi bwe. Eky’ennaku, bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, bakkiriza obulimba bwa Sitaani obwo era ne bajeemera Katonda.​—Olubereberye 3:1-6; Okubikkulirwa 12:9.

Olw’okuba Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, baagobebwa mu lusuku Edeni ne bafiirwa obulamu obutaggwaawo era obutuukiridde. (Olubereberye 3:17-19) Kye baasalawo kyakwata ne ku baana be baazaala. Bayibuli egamba nti olw’okuba Adamu yajeemera Katonda, “ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi.” (Abaruumi 5:12) Ate era ekibi ekyo kyaleetawo ekizibu ekirala. Bayibuli egamba nti: ‘Omuntu aba n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’ (Omubuulizi 8:9) Ekyo kitegeeza nti abantu bwe bafuga bantu bannaabwe, wabaawo ebizibu.

ABANTU BATANDIKA OKUFUGA

Nimuloodi ayimiridde mu ngeri eraga amalala. Emabega we abantu bali mu kuzimba ekizimbe.

Nimuloodi yajeemera Yakuwa

Omuntu eyasooka okufuga ayogerwako mu Bayibuli ayitibwa Nimuloodi. Nimuloodi yajeemera obufuzi bwa Yakuwa. Okuviira ddala mu kiseera kye, abantu abalina obuyinza ku balala babukozesezza bubi. Emyaka nga 3,000 emabega, kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Nnalaba amaziga g’abo abanyigirizibwa, era nga tewali ababudaabuda. Tewaali ababudaabuda olw’okuba abaali babanyigiriza baalina obuyinza.”​—Omubuulizi 4:1.

Ne leero bwe kityo bwe kiri. Mu 2009, ekitabo ekyafulumizibwa Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kyagamba nti, effuga bbi “kye kimu ku bisinze okuleeta ebizibu ebiriwo leero.”

KATONDA ANAATERA OKUBAAKO KY’AKOLAWO!

Ensi yeetaaga abafuzi abalungi era ne gavumenti ennungi. Era ekyo kyennyini Omutonzi waffe ky’atusuubiza!

Ekifaananyi: Ebivudde mu bufuzi bw’abantu. 1. Omukazi ava mu nsi ya Asiya atudde ku mabbali g’ekkubo awakyafu ng’akutte omwana akaaba. 2. Omusajja akaddiye ali ku kitanda mu ddwaliro. 3. Abajaasi nga bakuba amasasi mu lutalo. 4. Abeekalakaasi baleekaana nga bakutte ebipande. 5. Omukazi ne muwala we bayimiridde wa bweru w’ennyumba yaabwe era basanze oluggi lwabwe lumenyeddwa. 6. Ekibuga ekijjudde omukka nga kirimu waya z’amasannyalaze.

Ne gavumenti z’abantu ezisingayo okuba ennungi ziremereddwa okumalawo ebizibu by’abantu

Katonda ataddewo Obwakabaka, oba gavumenti ejja okuggyawo obufuzi bw’abantu, era ‘bwo bwokka bubeerewo emirembe n’emirembe.’ (Danyeri 2:44) Obwo bwe Bwakabaka abantu bukadde na bukadde bwe baludde nga basaba bujje. (Matayo 6:9, 10) Naye Katonda si y’ajja okuba omufuzi mu gavumenti eyo. Alina gwe yalonda okuba Kabaka. Ani oyo Katonda gwe yalonda?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share