LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/09 lup. 2
  • ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Similar Material
  • Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko Akafuzi
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • ‘Okwagala Katonda kye Kitegeeza’
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Okwagala kwa Katonda kwa Lubeerera
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 1/09 lup. 2

‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’

1. Akatabo ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’ kaakubibwa na kigendererwa ki?

1 Nga twesunga nnyo okusoma akatabo ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’ mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina okutandika ne wiiki eya Febwali 23! Ebbaluwa Akakiiko Akafuzi gye kaawandiikira buli muntu yenna ayagala Yakuwa yafundikira n’ebigambo bino: “Tusuubira nti akatabo kano kajja kukuyamba okweyongera okutambulira mu mazima, mu ngeri eyo osobole okwekuumiranga mu ‘kwagala kwa Katonda ng’olindirira obulamu obutaggwaawo.’​—Yuda 21.”

2. Akatabo kano akapya kanaatuyamba mu mbeera ki ez’obulamu bwaffe?

2 Bye Twesunga: Emisingi gya Baibuli gikwata gitya ku bintu gamba ng’okulonda emikwano, eby’okwesanyusaamu, okussa ekitiibwa mu abo abatwala obukulembeze, empisa zaffe, obufumbo, enjogera, n’obulombolombo? Omuntu waffe ow’omunda ajja kubumbibwa mu ngeri etuukagana n’emitindo egya waggulu egy’obutuukirivu egiri mu Kigambo kya Katonda. (Zab. 19:7, 8) Bwe tuneeyongera okutegeera endowooza ya Yakuwa, tujja kweyongera okwagala okumusanyusa, era kino kituleetere okuba abawulize mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe.​—Nge. 27:11; 1 Yok. 5:3.

3. Lwaki twandifubye nnyo okubaako bye tuddamu mu buli kitundu ekinaasomebwa buli wiiki?

3 Ba Mumalirivu Okubaako by’Oddamu: Ng’oteekateeka, kifuule kiruubirirwa kyo okutendereza Katonda wakati mu kibiina ky’abantu be. (Beb. 13:15) Ekibiina kyonna kijja kusomera wamu akatabo kano akapya. Okuva bwe kiri nti ekitundu ekinaasomebwa buli wiiki kijja kuba kitono, tujja kusobola okuteekateeka obulungi era n’okubaako bye tuddamu nga tetutya. Bwe tunaateekateeka obulungi era ne tuddamu mu bumpimpi, kijja kukubiriza abalala okuba n’okwagala n’ebikolwa ebirungi era kijja kusobozesa olukuŋŋaana okuba olw’ebbugumu era olw’omuganyulo. (Beb. 10:24) Era tujja kufuna essanyu lingi bwe tunaabaako bye tuddamu ebyoleka okukkiriza kwaffe.

4. Lwaki kikulu nnyo okukwata ebiragiro bya Yakuwa?

4 Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yalaga nti kikulu nnyo okukwata ebiragiro bya Yakuwa okusobola okusigala mu kwagala kwe. (Yok. 15:10) Akatabo “Kwagala kwa Katonda,” kajja kutuyamba okweyongera okuba abamalirivu okukolera ku misingi gya Baibuli mu bulamu bwaffe obwa bulijjo era ‘n’okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.’​—Yuda 21.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share