‘Kola Ebintu Byonna olw’Amawulire Amalungi’
1. Kiki ababuulizi b’Obwakabaka kye baagala okukolera abalala, era lwaki?
1 Omutume Pawulo yawulira nga kimukakatako okubuulira abalala amawulire amalungi. (1 Kol. 9:16, 19, 23) Mu ngeri y’emu, naffe tufuba okubuulira abalala amawulire amalungi olw’okuba twagala bafune emiganyulo egy’olubeerera.
2. Bwe tuba tubuulira, nkyukakyuka ki ze tuyinza okukola, era lwaki?
2 Buulira mu Kiseera ne mu Kifo w’Oyinza Okusanga Abantu: Omuvubi omulungi asuula obutimba bwe mu kifo ne mu kiseera mw’asuubirira okukwasizza ebyennyanja, so si mu kifo n’ekiseera ye ky’ayagala. Naffe ‘ng’abavubi b’abantu,’ kiyinza okutwetaagisa okukola enkyukakyuka okusobola okusanga abantu mu kitundu kye tubuuliramu era kino kijja kutusobozesa okufuna essanyu mu mulimu ogw’okukuŋŋaanya ‘ebyennyanja ebya buli ngeri.’ (Mat. 4:19; 13:47) Tusobola okukyalira abantu mu maka gaabwe mu biseera eby’akawungeezi oba okubuulira ku nguudo mu biseera eby’okumakya ennyo? Pawulo yalina ekiruubirirwa ‘eky’okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi,’ era kino yakikolanga buli lwe yafunanga akakisa.—Bik. 17:17; 20:20, 24.
3, 4. Nga tuli mu buweereza bw’ennimiro, tuyinza tutya okutuukanya ennyanjula zaffe n’ebyetaago by’abantu, era miganyulo ki egiyinza okuvaamu?
3 Tuukanya Ennyanjula Yo n’Ebyetaago by’Abantu ab’Omu Kitundu Kyammwe: Abavubi batera okukyusakyusa mu ngeri gye bavubamu okusobola okukwasa ekika ky’ekyennyanja kye baagala. Tuyinza tutya okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu ngeri esikiriza abantu ab’omu kitundu kyaffe? Tulina okufaayo ennyo ku nneewulira z’abantu nga twogera ku nsonga ezibakwatako era ne tuwuliriza bulungi nga baliko bye boogera ku nsonga ezo. (Yak. 1:19) Tuyinza okubabuuza ebibuuzo ebibaleetera okuwa endowooza yaabwe. (Nge. 20:5) Mu ngeri eno tujja kusobola okubuulira amawulire amalungi mu ngeri eneetuuka ku mitima gy’abantu. Pawulo ‘yafuuka byonna eri abantu aba buli ngeri.’ (1 Kol. 9:22, NW) Okusobola okutuuka ku mitima gy’abantu, kitwetaagisa okukyusakyusa mu nnyanjula zaffe.
4 Nga kya ssanyu nnyo okubuulira abantu ‘amawulire amalungi agakwata ku bintu ebirungi’! (Is. 52:7) Ka ‘tukole ebintu byonna olw’amawulire amalungi’ tusobole okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka.—1 Kol. 9:23, NW.