LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/09 lup. 2
  • Weeteeseteese Okuddayo ku Ssomero?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeteeseteese Okuddayo ku Ssomero?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Similar Material
  • Abaana Bo Beeteefuteefu?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Tolonzalonza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 8/09 lup. 2

Weeteeseteese Okuddayo ku Ssomero?

1. Kakisa ki ke munaaba nako nga muzzeeyo ku ssomero?

1 Ka kibe nti guno gwe mwaka gwammwe ogusooka okugenda ku ssomero oba nga muddayo buzzi, abavubuka Abakristaayo mujja kwolekagana n’okusoomooza okutali kumu era n’okupikirizibwa. Naye era mujja kuba n’akakisa ‘okuwa obujulirwa ku mazima.’ (Yok. 18:37) Mweteeseteese okuwa obujulirwa?

2. Weeteekeddeteekedde otya essomero?

2 Ofunye okutendekebwa kwa maanyi okuva eri Yakuwa, bazadde bo, n’okuva eri omuddu omwesigwa era ow’amagezi okunaakuyamba okuyita mu mbeera zonna ez’obulamu. (Nge. 1:8; 6:20; 23:23-25; Bef. 6:1-4; 2 Tim. 3:16, 17) Awatali kubuusabuusa, oteekwa okuba ng’omanyi obuzibu bw’osuubira okusanga ku ssomero. Weeteeketeeke okuwa obujulirwa ng’osinziira ku kutendekebwa kw’ofunye okuva eri Katonda era ne ku mbeera gy’osuubira okusanga ku ssomero. (Nge. 22:3) Lowooza nnyo ku bulagirizi ne ku magezi ageesigamiziddwa ku Byawandiikibwa agali mu mizingo gyombi egy’obutabo bwa Young People Ask awamu n’ago agasangibwa mu bitundu ebikwata ku bavubuka ebifulumira mu Awake!

3. Onoosobola otya okuwa obujulirwa?

3 Ojja kusobola okuwa obujulirwa mu ngeri nnyingi ng’oli ku ssomero. Abalala bwe banaalaba ekyokulabirako ekirungi ky’ossaawo mu nnyambala n’okwekolako, mu mpisa ne mu njogera, engeri gy’ossa ekitiibwa mu bayizi banno n’abasomesa, engeri gy’okolamu obulungi ku ssomero, era ne bakitegeera nti olina ekigendererwa mu bulamu, abamu bayinza okukubuuza nti, “Lwaki ggwe oli wa njawulo nnyo?” (Mal. 3:18; Yok. 15:19; 1 Tim. 2:9, 10) Oyinza okufuna akakisa okubawa obujulirwa era n’okubannyonnyola enzikiriza yo. Mu mwaka gwonna, oyinza okwolekagana n’okusoomooza okutali kumu, gamba ng’okwenyigira mu mikolo gy’eggwanga n’okukuza ennaku enkulu. Bwe banaakubuuza nti lwaki tobyenyigiramu, onoogamba bugamba nti, “Eddiini yange tenzikiriza; Ndi omu ku Bajulirwa ba Yakuwa,” oba onookozesa akakisa ako okuwa obujulirwa ku Kitaawo ow’okwagala, Yakuwa? Bw’oneeteekateeka obulungi ng’ogoberera obulagirizi bwa Yakuwa, ojja kusobola okuwa obujulirwa bayizi banno, abasomesa, era n’abantu abalala.​—1 Peet. 3:15.

4. Lwaki oli mukakafu nti ojja kusobola okumalako bulungi emisomo gyo egy’omwaka?

4 Wadde nga muli oyinza okuba ng’otiddemu okugenda ku ssomero, ba mukakafu nti bangi bakwagaliza omaleko bulungi emisomo gyo egy’omwaka. Okugatta ku ekyo, naffe kijja kutusanyusa nnyo bw’onoofuna akakisa okuwa abalala obujulirwa ku ssomero. N’olwekyo, ba muvumu era weeteekereteekere essomero!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share