‘Wa Abayizi Bo Obulamu Bwo’
1. Kiki ekyetaagisa okusobola okuyamba omuyizi wa Baibuli?
1 Okusobola okuyamba omuyizi wa Baibuli okutuuka ku ssa ery’okwewaayo, waliwo bingi ebyetaagisa ng’oggyeko okumuyigiriza Baibuli obutayosa. Okwagala omutume Pawulo kwe yalina eri abo be yayigirizanga, yakugeraageranya ku okwo maama kw’aba nakwo eri abaana be. Naffe kitusanyusa nnyo okuwaayo “obulamu bwaffe” okusobola okuyamba abayizi baffe okukula mu by’omwoyo.—1 Bas. 2:7-9.
2. Lwaki tusaanidde okufaayo ku bayizi baffe, era tuyinza kukikola tutya?
2 Laga nti Obafaako: Omuyizi wa Baibuli bw’atandika okukolera ku ebyo by’ayiga, omuntu we ow’omunda ajja kumukubiriza okwekutula ku abo abatagoberera misingi gya Baibuli. (1 Peet. 4:4) Ab’eŋŋanda ze bayinza okumukyawa. (Mat. 10:34-36) Tuyinza okumuyamba obutawulira kiwuubaalo nga tumulaga nti tumufaako. Omuminsani omu alina obumanyirivu agamba bw’ati: “Toyanguwa kuva wa muyizi wo nga mumaze okuyiga Baibuli. Bwe kiba kyetaagisa, beerawoko akabanga munyumyemu.” Beera mwetegefu okumuwa obuyambi bwe yeetaaga. Ng’ekyokulabirako, oyinza okumukubira essimu oba okumukyalirako nga mulwadde? Oyinza okutuulako naye mu nkuŋŋaana oba okumuyambako ku baana, bwe kiba kyetaagisa?
3. Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe okuzzibwamu amaanyi ab’oluganda mu kibiina?
3 Obuyambi bw’Ekibiina: Bwe muba mubuulira okumpi n’omuyizi wo w’abeera, lwaki tomukyalirako katono n’omwanjulira oyo gw’okoze naye? Bwe kiba kisoboka, buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi wo, oyinza okugenda n’ababuulizi ab’enjawulo, nga mw’otwalidde n’abakadde. Era amangu ddala nga waakatandika okuyiga Baibuli n’omuntu, mukubirize okujja mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Kino kijja kumusobozesa okufuna emikwano emirungi mu kibiina abayinza okufuuka baganda be mu by’omwoyo.—Mak. 10:29, 30; Beb. 10:24, 25.
4. Miganyulo ki egiyinza okuva mu bunyiikivu bwaffe?
4 Omuzadde afuba ennyo okuyamba abaana be mu by’omwoyo asanyuka nnyo bwe banywerera ku Yakuwa era ne batambulira mu mazima. (3 Yok. 4) Naffe tusobola okufuna essanyu eryo bwe tuwaayo obulamu bwaffe okuyamba abayizi baffe aba Baibuli.