‘Muleke Ekitangaala Kyammwe Kyake’
1. Nkizo ki gye tulina, era kiki kye tuyinza okukola okuganyula abalala?
1 Ekitangaala ekirungi kye tufuna buli lunaku okuva ku makya okutuusiza ddala obudde lwe buziba kituleetera okutendereza Yakuwa Katonda. Kyokka, ekitangaala Yesu kye yakubiriza abayigirizwa be okufuna kya njawulo ku ekyo—“ekitangaala eky’obulamu.” (Yok. 8:12) Okuba n’ekitangaala kino eky’eby’omwoyo nkizo ya njawulo ezingiramu obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Yesu yagamba: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu,” bwe tukola bwe tutyo abalala bajja kuganyulwa. (Mat. 5:16) Okuva bwe kiri nti leero abantu bali mu kizikiza eky’eby’omwoyo, tulina okulaba nti ekitangaala kino kibaakira, era nga kyetaagisa nnyo mu kiseera kino. Tuyinza tutya okuleka ekitangaala kyaffe okwaka nga Yesu bwe yakola?
2. Yesu Kristo yalaga atya obukulu bw’okuyamba abalala okufuna ekitangaala eky’eby’omwoyo?
2 Nga Tubuulira: Yesu yakozesa ebiseera bye, amaanyi ge, n’ebintu bye okusobozesa abantu okufuna ekitangaala eky’amazima mu maka gaabwe, mu bifo ebya lukale, ku nsozi—wonna we baasangibwanga. Yali amanyi obukulu bw’okuwa abalala ekitangaala eky’eby’omwoyo eky’amazima. (Yok. 12:46) Okusobola okutuuka ku bantu bangi, Yesu yatendeka abayigirizwa be basobole okuba ‘ekitangaala ky’ensi.’ (Mat. 5:14) Baalekanga ekitangaala kyabwe okwaka nga bakolera baliraanwa baabwe ebirungi era nga babuulira amazima ag’eby’omwoyo.
3. Kiki kye tuyinza okukola okulaga nti tutwala ekitangaala eky’amazima nga kikulu?
3 Abantu ba Katonda bakitwala nga kikulu nnyo ‘okutambulanga ng’abaana b’ekitangaala,’ era babuulira buli wamu awali abantu. (Bef. 5:8) Okusomera Bayibuli oba ebitabo by’omuddu omwesigwa mu kifo abalala we bakulabira mu kaseera ak’okuwummulamu ku mulimu oba ku ssomero, kiyinza okukusobozesa okukubaganya ebirowoozo n’abalala ku Byawandiikibwa. Ng’akozesa amagezi ago, mwannyinaffe omu omuto yafuna omuyizi wa Bayibuli era n’agabira ne bayizi banne 12 ebitabo!
4. Lwaki okuleka ‘ekitangaala kyaffe okwaka’ kizingiramu okweyisa obulungi?
4 Nga Twoleka Ebikolwa Ebirungi: Ate era okuleka ekitangaala kyaffe okwaka kizingiramu okweyisa obulungi buli lunaku. (Bef. 5:9) Enneeyisa y’Abakristaayo eba ya njawulo nnyo ku y’abalala nga bali ku mulimu, ku ssomero, ne mu bifo ebirala ebya lukale, era nga kino kibawa akakisa okubuulira abalala amazima agali mu Bayibuli. (1 Peet. 2:12) Ng’ekyokulabirako, empisa ennungi omulenzi ow’emyaka etaano ze yalina zaaleetera omusomesa we okuyita bazadde be. Yagamba nti, “Sirabangako mwana afuba okweyisa obulungi ng’omulenzi ono era anywerera ku kukola ekituufu!” Yee, obuweereza bwaffe n’empisa zaffe ennungi bisikiriza abantu eri “ekitangaala eky’obulamu” era bireetera Katonda ettendo.