Fuba Okukuuma Omuntu Wo ow’Omunda
1. Olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza ogwa 2013 lulina mutwe ki, era lunaatuyamba lutya?
1 Buli lunaku twolekagana n’embeera eziyinza okutuleetera okwonoona omuntu waffe ow’omunda. Eyo ye nsonga lwaki olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza 2013 olujja okutandika nga Ssebutemba 1, 2012, lulina omutwe ogugamba nti “Fuba Okukuuma Omuntu Wo ow’Omunda.” (1 Tim. 1:19) Programu etegekeddwa okuyamba buli omu ku ffe okufaayo ennyo ku ngeri gy’akozesaamu ekirabo kino eky’omuwendo Omutonzi waffe kye yatuwa.
2. Bibuuzo ki ebikulu ebijja okuddibwamu mu lukuŋŋaana olwo?
2 Ebibuuzo Ebinaddibwamu: Mu lukuŋŋaana olwo, ebibuuzo musaanvu ebikulu ebikwata ku muntu ow’omunda bijja kuddibwamu:
• Biki ebiyinza okwonoona omuntu waffe ow’omunda?
• Omuntu waffe ow’omunda tuyinza kumutendeka tutya?
• Tuyinza tutya okwewala okuvunaanibwa omusaayi gw’omuntu yenna?
• Bwe tufumiitiriza era ne tukolera ku misingi gya Bayibuli kiraga ki?
• Tuyinza tutya okwewala okulumya omuntu ow’omunda ow’abalala?
• Abavubuka, muyinza mutya okusigala nga muli banywevu nga mupikirizibwa?
• Abo abagoberera omuntu waabwe ow’omunda akulemberwa omwoyo omutukuvu bafuna mikisa ki?
3. Biki ebinaatuyamba okuganyulwa mu lukuŋŋaana olwo?
3 Yakuwa asobola okutuyamba okuziyiza Sitaani ayagala okwonoona omuntu waffe ow’omunda. Ng’ayitira mu Kigambo kye n’ekibiina kye, Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu atugamba nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.” (Is. 30:21) Olukuŋŋaana luno kye kimu ku ebyo Yakuwa mw’ayitira okutuwa obulagirizi ng’obwo. N’olwekyo, kola enteekateeka eneekusobozesa okubeerawo olunaku lwonna. Ssaayo omwoyo era olabe engeri gy’osobola okukolera ku ebyo bye tunaayigirizibwa. Nga muli wamu ng’amaka, mwogere ku bibadde mu lukuŋŋaana. Bwe tunaakolera ku ebyo bye tunaaba tuyize, kijja kutuyamba okweyongera okuba “n’omuntu ow’omunda omulungi” n’okwewala okutwalirizibwa ebintu ebiri mu nsi ya Sitaani ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.—1 Peet. 3:16.