LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/13 lup. 1
  • Kiki Ekitukubiriza Okubuulira?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kiki Ekitukubiriza Okubuulira?
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Laba Ebirala
  • Tuyinza Tutya Okulaga Muliraanwa Waffe Okwagala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Oteekwa Okwagala Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Okwagala Kwo Kukoma Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Oyagala “Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 5/13 lup. 1

Kiki Ekitukubiriza Okubuulira?

1. Kakwate ki akaliwo wakati w’okwagala n’obuweereza bwaffe?

1 Okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gwe mulimu ogusingayo obukulu gwe tulina leero. Mu butuufu, okuyitira mu mulimu guno, tulaga nti tugondera amateeka abiri agasinga obukulu; okwagala Yakuwa n’okwagala bantu bannaffe. (Mak. 12:29-31) Okwagala kwe kutukubiriza okuba ababuulizi abanyiikivu.—1 Yok. 5:3.

2. Bwe tubuulira, lwaki kiba kiraga nti twagala Yakuwa?

2 Okwagala Yakuwa: Okwagala kwe tulina eri Yakuwa, mukwano gwaffe asingiridde, kwe kutukubiriza okubuulira abalala amazima agamukwatako. Okumalira ddala emyaka nga 6,000 Sitaani azze amuwaayiriza. (2 Kol. 4:3, 4) N’ekivuddemu, abantu bangi bakkiriza nti Katonda ayokya abantu ababi mu muliro ogutazikira, nti ali mu busatu, era nti tafaayo ku bantu. Abamu batuuse n’okugamba nti taliiyo. Twagala nnyo abantu bamanye amazima agakwata ku Kitaffe ow’omu ggulu! Bwe tubuulira amazima agakwata ku Katonda n’obunyiikivu, kimusanyusa nnyo era kiswaza Sitaani.—Nge. 27:11; Beb. 13:15, 16.

3. Bwe tubuulira, lwaki kiba kiraga nti twagala bantu bannaffe?

3 Okwagala Bantu Bannaffe: Bwe tubuulira omuntu, tuba tulaga nti tumwagala. Mu biseera bino ebizibu, abantu beetaaga nnyo okuwulira amawulire amalungi. Abantu bangi balinga abantu b’omu Nineeve abaaliwo mu kiseera kya Yona, abaali ‘batayinza kwawulawo mukono gwabwe ogwa ddyo n’omukono gwabwe ogwa kkono.’ (Yon. 4:11) Bwe tubuulira abantu, bamanya engeri y’okutambuzaamu obulamu bwabwe era bafuna essanyu. (Is. 48:17-19) Ate era, bafuna essuubi. (Bar. 15:4) Bwe bawuliriza era ne bakolera ku ebyo bye baba bayize ‘bajja kulokolebwa.’—Bar. 10:13, 14.

4. Kiki Yakuwa ky’atayinza kwerabira?

4 Abaana abalungi tebalaga bazadde baabwe kwagala mu biseera bimu na bimu, wabula ekiseera kyonna. Mu ngeri y’emu, okwagala okungi kwe tulina eri Katonda n’eri bantu bannaffe kujja kutukubiriza okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira, so si olwo lwokka lwe tuba tugenze okubuulira. Kujja kutukubiriza okubuulira awatali kuddirira. (Bik. 5:42) Okwagala ng’okwo Yakuwa tayinza kukwerabira.—Beb. 6:10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza