Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyambako Oyo gw’Oba Obuulira Naye
Lwaki Kikulu: Yesu yali akimanyi nti kya muganyulo nnyo omubuulizi okubaako gw’abuulira naye. Eyo ye nsonga lwaki bwe yali atuma abayigirizwa be 70 okugenda okubuulira, yabatuma babiri babiri. (Luk. 10:1) Oyo gw’oba obuulira naye asobola okukuyamba singa ofuna ekizibu oba singa oba tomanyi ngeri ya kuddamu kibuuzo ky’oyo gwe muba mubuulira. (Mub. 4:9, 10) Asobola okukubuulirako ku ebyo ebimuyambye mu buweereza bwe naawe ebisobola okukuyamba. (Nge. 27:17) Ate era by’ayogera nga munyumya naye biyinza okukuzzaamu amaanyi.—Baf. 4:8.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Bwe muba mumaze okubuulira, oyo gw’obuulidde naye mubuulire engeri gy’akuyambyemu era omwebaze.