◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe, olukuŋŋaana lusobole okutandika mu ngeri entegeke obulungi. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 10:55 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 9:50 ez’olweggulo.
◼ Enkuŋŋaana Ennene ez’Ensi Yonna: Mu nsi ezimu wajja kubaayo enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna. Ofiisi y’ettabi egenda okuyita ab’oluganda okuva mu bibiina eby’enjawulo ne mu nsi ez’enjawulo ng’emaze okubalirira ebifo we banaatuula, we banaasimba ebidduka, ne wooteri mwe banaasula. Singa ababuulizi bagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna nga tebayitiddwa, wayinza okubaawo omujjuzo. Bwe kiba nti kijja kukwetaagisa okugenda ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olutali olwo lw’olina okugendako, tekyandibadde kirungi kugenda ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna.
◼ Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era ng’anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufuna aw’okusimba ekidduka. Mu bitundu ebimu ebifo aw’okusimba ebidduka biba bitono, n’olwekyo kiba kirungi okukozesa etambula ey’awamu.
◼ Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Osabibwa obuteeyuna kukwata bifo eby’okutuulamu ng’oli ng’avuganya n’abalala. Okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza n’okufaayo ku balala kiraga nti tuli Bakristaayo ab’amazima, era kireetera abalala okutendereza Katonda. (Yok. 13:34, 35; 1 Kol. 13:4, 5; 1 Peet. 2:12) Ab’omu maka go, abo b’otambudde nabo mu kidduka kyo, n’abayizi bo aba Bayibuli, be bokka b’oyinza okukwatira ebifo. Ebifo by’abo abaliko obulemu n’abakaddiye biba bitono, n’olwekyo kiyinza obutasoboka abantu ng’abo okutuula n’ab’omu maka gaabwe bonna. Ebifo ebyo tusabibwa okubirekera abaliko obulemu n’abakaddiye awamu n’abo ababayambako.
◼ Eky’Emisana: Osabibwa okujja n’eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu kiseera eky’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu kantu akatonotono akagya wansi w’entebe yo. Ebintu ebiteekebwamu emmere ebinene ennyo n’ebyatika, tebikkirizibwa mu kifo awali olukuŋŋaana.
◼ Okuwaayo: Bwe tuba mu lukuŋŋaana olunene, tusobola okulaga nti tusiima enteekateeka z’olukuŋŋaana olwo nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira. Ceeke zonna ezinaaweebwayo ku lukuŋŋaana, zisaanidde kuweebwayo mu linnya lya “The Registered Trustees of Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses.”
◼ Eddagala: Bwe kiba nti waliwo eddagala ly’olina okumira okusinziira ku bulagirizi bw’omusawo, osabibwa okutwala eddagala erimala olw’okuba tetujja kuba na ddagala eryo ku lukuŋŋaana. Empiso ezikozeseddwa abalwadde ba sukaali tezirina kusuulibwa mu bintu ebiteekebwamu kasasiro ebiteekeddwawo mu bifo eby’enjawulo awali olukuŋŋaana kubanga ziyinza okutuusa obulabe ku balala.
◼ Okwewala Obubenje: Weegendereze obubenje obuyinza okuva ku kuseerera oba ku kwekoona ku kintu kyonna. Buli mwaka abantu bafuna obubenje olw’engatto ze baba bambadde. Kiba kirungi ne twambala engatto ezisaanira era ezitutuuka obulungi, ezinaatusobozesa okutambulira obulungi ku madaala oba awalala wonna.
◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu ziba mu bizimbe. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.
◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Bw’oba olina omuntu gw’obuulidde embagirawo ku lukuŋŋaana era ng’ayagala okumanya ebisingawo, jjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43), ogitwale mu Kitongole Ekikola ku Bitabo oba ogiwe omuwandiisi w’ekibiina kyo.
◼ Ebifo Awatundirwa Emmere: Weeyise era yambala mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa ng’oli mu bifo ng’ebyo. Kya buntu bulamu okulekawo akasiimo, okusinziira ku ebyo bye baba bakukoledde.
◼ Wooteeri:
(1) Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa.
(2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeeza be kikwatako amangu ddala.—Mat. 5:37.
- Oyo akusituliddeko ku migugu n’oyo ayonja ekisenge mw’osula bawe akasiimo. 
- Fumbira mu bisenge ebyo byokka mwe bakkiriza okufumbira. 
- Todiibuuda ebyo ebiba bikuweereddwa ku ky’enkya. 
- Fuba okwoleka engeri eziri mu kibala eky’omwoyo ng’okolagana n’abakozi b’omu wooteeri. Olw’okuba baweereza abagenyi bangi, basiima bwe tubalaga ekisa, obugumiikiriza, n’obukkakkamu. 
- Abazadde basaanidde okufaayo ku baana baabwe ekiseera kyonna nga bali mu wooteeri, nnaddala nga bali we bawugira, mu nkuubo, ne mu bifo ebirala. 
- Singa ofuna ekizibu mu wooteeri gy’osulamu, tegeeza ab’oluganda abali mu Kitongole Ekikola ku by’Ensula. 
◼ Okuweereza nga Nnakyewa: Oyo yenna eyandyagadde okuweereza nga nnakyewa asobola okutegeeza Ekitongole Ekikola ku Bannakyewa ku lukuŋŋaana. Abaana abali wansi w’emyaka 16 nabo basobola okuweereza nga bannakyewa nga bakolera ku bulagirizi bwa bazadde baabwe oba abantu abalala abakulu abali ku lukuŋŋaana.