Koppa Okukkiriza Kwabwe
1. Kitabo ki kye tujja okutandika okusoma mu lukuŋŋaana lw’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina?
1 Mu wiiki etandika Okitobba 19, 2015, tujja kutandika okusoma ekitabo Koppa Okukkiriza Kwabwe mu Kuyiga Bayibuli okw’Ekibiina. Ekitabo kino kyogera ku basajja n’abakazi 14 abaalina okukkiriza okw’amaanyi. Ekitabo kino kyawandiikibwa mu ngeri etuyamba okulaba nti abantu bano baali ba ddala era nti baayolekagana n’okusoomoozebwa okutali kumu nga baweereza Yakuwa. Ekitabo kino era kituyamba okufuna eby’okuyiga bye tusobola okukozesa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo.—Beb. 6:12.
2. Nnyonnyola ebimu ku ebyo ebiri mu kitabo Koppa Okukkiriza Kwabwe.
2 Ebiri mu kitabo kino: Ekitabo kino kirimu mmaapu eziraga ebifo abantu aboogerwako gye baabeeranga n’ekiseera we baabeererawo. Ate era buli ssuula erimu ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Eby’okulowoozaako . . . ,” ekijja okutuyamba okufumiitiriza ku ebyo bye tunaaba tusomye era n’okubikolerako mu bulamu bwaffe. Ekitabo kino era kirimu ebifaananyi ebirabika obulungi ebijja okutuyamba okukuba akafaananyi ku ebyo ebyogerwako.
3. Biki bye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa nga tusoma ekitabo kino?
3 Engeri gy’Oyinza Okuganyulwa: Ekitabo kino kitandika n’ebbaluwa okuva eri Akakiiko Akafuzi, era erimu ebigambo bino: “Soma nga bw’okuba akafaananyi era weeteeke mu mbeera y’abo b’oba osomako. Lowooza ku kye wandikoze singa ggwe wali mu mbeera y’oyo gw’oba osomako.” Tekitwetaagisa kuteebereza buli kimu ekikwata ku bantu abo, kye twetaaga kwe kuba akafaananyi ku ebyo ebyogerwako era n’okwessa mu mbeera y’abo aboogerwako. Ekyo kyetaagisa ebiseera n’okufumiitiriza. (Nek. 8:8) Bwe muba ng’ekitundu kye mugenda okuyigako kitandikira wakati mu ssuula, akubiriza asaanidde okukozesa obutikitiki 30 oba 60 okwogera ku ebyo bye mwasembayo okuyiga. Bwe kiba nti ekitundu kye muyigako tekiriimu kitundu ekirina omutwe “Eby’okulowoozaako . . . ,” akubiriza asaanidde okubuuza ekibuuzo kimu oba bibiri asobole okuwumbawumbako ebyo bye muyize.
4. Lwaki twetaaga okusoma ekitabo Koppa Okukkiriza Kwabwe?
4 Ensi gye tulimu ekola kyonna ekisoboka okusaanyaawo okukkiriza kwaffe oba okukunafuya. Ekitabo kino, awamu n’ebitundu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi kwe kyesigamiziddwa, kirabo okuva eri Yakuwa ekijja okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. (Yak. 1:17) Ffenna ka tufube okubangawo mu lukuŋŋaana lw’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina era n’okulwenyigiramu, tusobole okuganyulwa mu bujjuvu nga tusoma ekitabo kino.