LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Maayi lup. 8
  • Engeri y’Okukozesaamu JW Library

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okukozesaamu JW Library
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Okozesa JW Library?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Kozesa Omukutu jw.org ng’Obuulira—Beera Mukwano gwa Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Etterekero ly’Ebitabo ery’Ekibiina Lituyamba Litya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Maayi lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okukozesaamu JW Library

MU KWESOMESA:

  • Osobola okusomerako Bayibuli n’ekyawandiikibwa eky’olunaku

  • Soma Yearbook, magazini, n’ebitabo ebirala. Kozesa akabonero kano akalaga w’okomye okusoma (bookmark)

  • Tegeka enkuŋŋaana era osaze ne ku by’okuddamu

  • Laba vidiyo ezitali zimu

Abajulirwa ba Yakuwa basoma Bayibuli nga bali mu ntambula eya lukale

MU NKUŊŊAANA:

  • Soma ebyawandiikibwa omwogezi by’ajuliza. Bw’onyiga ku kabonero kano kakuzzaayo ku byawandiikibwa bye wasomyeko

  • Mu kifo ky’okujja n’ebitabo mu nkuŋŋaana, kozesa essimu yo oba ka kompyuta ko ak’omu ngalo okugoberera ebitundu ebiri mu nkuŋŋaana n’okuyimba ennyimba. JW Library erimu ennyimba empya ezitannaba kuteekebwa mu katabo k’ennyimba

Abajulirwa ba Yakuwa nga bakozesa JW Library mu nkuŋŋaana

MU BUWEEREZA:

  • Oyo gw’obuulidde baako ky’omulaga ekiri ku JW Library, era muyambe okuwanula programu eno n’ebintu ebirala abisse ku ssimu ye

  • Kozesa akabonero kano okunoonya ekyawandiikibwa ky’oyagala mu bwangu. Bw’oba olina ekigambo ky’onoonya naye nga tekiri mu Enkyusa ey’Ensi Empya, kinoonyeze mu Reference Bible ey’Olungereza

  • Laga vidiyo. Oyo gw’obuulidde bw’aba alina abaana, oyinza okubalaga emu ku buvidiyo bw’abaana obuli mu kitundu Beera Mukwano gwa Yakuwa. Oba oyinza okubalaga vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? basobole okusikirizibwa okuyiga Bayibuli. Omuntu bw’aba ayogera olulimi olulala, mulage vidiyo eri mu lulimi lwe

  • Laga omuntu ekyawandiikibwa ng’okozesa enkyusa ya Bayibuli eri lulimi lwe. Genda ku kyawandiikibwa okoone ku lunyiriri lw’oyagala; ojja kulaba olunyiriri olwo mu Bayibuli endala

Abajulirwa ba Yakuwa nga balaga omuwala omuto ne bazadde be vidiyo
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share