EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 60-68
Tendereza Yakuwa, Oyo Awulira Okusaba
Saba Yakuwa akuyambe okutuukiriza bye weeyama
Bwe tutegeeza Yakuwa obweyamo bwaffe, kituyamba okuba abamalirivu okubutuukiriza
Okwewaayo eri Katonda bwe bweyamo obusinga obukulu bwe tuyinza okukola
Kaana
Kirage nti weesiga Yakuwa ng’omutegeeza buli ekikuli ku mutima
Bwe tutegeeza Yakuwa ekyo kyennyini ekituli ku mutima, essaala yaffe eba ya makulu
Bwe tusaba Yakuwa nga tumutegeeza ekyo kyennyini kye twagala, kitusobozesa okulaba engeri gy’azzeemu okusaba kwaffe
Yesu
Yakuwa awulira okusaba kw’abantu bonna ab’emitima emirungi
Yakuwa awulira okusaba ‘kw’abantu aba buli kika’ abaagala okumumanya n’okukola by’ayagala
Tusobola okusaba Yakuwa ekiseera kyonna
Koluneeriyo
Bye njagala okuteeka mu kusaba kwange.