EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ENGERO 7-11
‘Temukkirizanga Mitima Gyammwe Kutwalirizibwa’
Yakuwa by’atuyigiriza bituyamba okwewala okugwa mu mitawaana. Kyokka okusobola okubiganyulwamu, tulina okubikuumira mu mitima gyaffe. (Nge 7:3) Omuweereza wa Yakuwa bw’akkiriza omutima gwe okutwalirizibwa, kyangu Sitaani okumukwasa mu mitego gye. Engero essuula 7 eyogera ku muvubuka eyaleka omutima gwe okumulimbalimba. Kiki kye tuyigira ku nsobi ze?
Sitaani akozesa ebintu ebyo ebitaano okutuleetera okukola ebintu ebibi.
Amagezi n’okutegeera bijja kutuyamba okutegeera ebizibu ebiva mu kukola ebibi era tubyewalire ddala