EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUYIMBA LWA SULEMAANI 1-8
Omuwala Omusunamu Yassaawo Ekyokulabirako Ekirungi
Kyakulabirako ki ekirungi kye yatuteerawo?
- Yalindirira okutuusa lwe yandifunye omuntu gw’ayagalira ddala 
- Abalala bwe baamupikiriza okwagala omuntu yenna eyali amwegwanyiza, teyakkiriza 
- Yali mwetoowaze era yeekuuma 
- Omukwano gwe gwali tegusobola kugulwa 
Weebuuze:
‘Ngeri ki ennungi omuwala Omusunamu gye yalina gye nnyinza okukoppa?’