OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Tayinza Kwerabira Kwagala Kwe Mwalaga
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, YAKUWA TAYINZA KWERABIRA KWAGALA KWE MWALAGA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Bizibu ki ebijjawo ng’omuntu akaddiye? 
- Ngeri ki ennungi abantu abakadiye gye batera okuba nayo? 
- Bw’oba ng’okaddiye, ebigambo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:32 ne Engero 16:31 bikuzzaamu bitya amaanyi? 
- Yakuwa atwala atya abaweereza be abakaddiye abatakyasobola kumuweereza nga bwe baakolanga edda? 
- Kiki Yakuwa ky’ayagala tukole ne bwe tuba nga tukaddiye? 
- Abo abakaddiye bayinza batya okuzzaamu abato amaanyi? 
- Muganda waffe oba mwannyinaffe akaddiye yakuzzaamu atya amaanyi?