EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZEEKYERI 1-5
Ezeekyeri Yali Musanyufu Okulangirira Obubaka bwa Yakuwa
Mu kwolesebwa, Yakuwa yawa Ezeekyeri omuzingo n’amugamba okugulya. Ekyo kyalina makulu ki?
- Ezeekyeri yalina okutegeera obulungi obubaka Yakuwa bwe yali amuwadde. Okufumiitiriza ku bigambo ebyali mu muzingo ogwo kyandikutte nnyo ku Ezeekyeri ne kimuleetera okubirangirira n’obuvumu 
- Omuzingo ogwo gwawoomera Ezeekyeri kubanga yalina endowooza ennuŋŋamu ku buvunaanyizibwa obwali bumuweereddwa