OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kulaakulanya Engeri Ennungi—Okukkiriza
LWAKI KIKULU:
Twetaaga okuba n’okukkiriza okusobola okusanyusa Katonda.—Beb 11:6
Okukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa kituyamba okugumira ebizibu.—1Pe 1:6, 7
Obutaba na kukkiriza kiyinza okutuleetera okukola ebintu ebibi.—Beb 3:12, 13
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Saba Yakuwa akuyambe okukkiriza kwo kweyongereko.—Luk 11:9, 13; Bag 5:22
Soma Ekigambo kya Katonda era ofumiitirize ku by’osoma.—Bar 10:17; 1Ti 4:15
Toyosa kubaawo mu nkuŋŋaana.—Bar 1:11, 12
Nnyinza ntya okunyweza okukkiriza kwange n’okw’ab’omu maka gange?
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, LUUBIRIRA EBINAAKUYAMBA OKUBEERA OMWESIGWA—OKUKKIRIZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO: