EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MIKKA 1-7
Kiki Yakuwa ky’Atwetaagisa?
Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe we bukoma, era tatusuubira kukola kye tutasobola. Enkolagana yaffe ne baganda baffe, Yakuwa agitwala nga nkulu nnyo. Bwe tuba twagala Yakuwa akkirize ssaddaaka ze tuwaayo gy’ali tulina okwagala baffe n’okubawa ekitiibwa.