LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb18 Jjanwali lup. 6
  • Yesu Yali Ayagala Nnyo Abantu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Yali Ayagala Nnyo Abantu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Jjanwali lup. 6
Yesu awonya omugenge

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 8-9

Yesu Yali Ayagala Nnyo Abantu

Matayo essuula 8 ne 9 zoogera ku buweereza bwa Yesu mu kitundu ky’e Ggaliraaya. Yesu bwe yawonyanga abantu, kyalaga nti yalina amaanyi, naye okusingira ddala kyalaga nti yali ayagala nnyo abantu era nti yali musaasizi.

  1. Ebibuga by’e Ggaliraaya Yesu gye yawonyeza abantu

    Yesu yawonya omugenge.​—Mat 8:1-3

  2. Yesu yawonya omuddu w’omusirikale.​—Mat 8:5-13

    Yawonya maama wa muka Peetero.​—Mat 8:14, 15

    Yagoba dayimooni era n’awonya abantu abaali babonaabona.​—Mat 8:16, 17

  3. Yesu yagoba dayimooni ezaali enkambwe ennyo, n’azisindika mu mbizzi.​—Mat 8:28-32

  4. Yesu yawonya omusajja eyali yasannyalala.​—Mat 9:1-8

    N’omukazi eyakwata obukwasi ku kyambalo kye yawona, era Yesu yazuukiza muwala wa Yayiro.​—Mat 9:18-26

    Yawonya abazibe b’amaaso n’abatayogera.​—Mat 9:27-34

  5. Yesu yagenda mu bibuga ne mu byalo, ng’awonya endwadde eza buli kika.​—Mat 9:35, 36

Nnyinza ntya okwongera okulaga abantu abalala okwagala n’ekisa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share