LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb18 Maaki lup. 7
  • “Mubeere Bulindaala”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Mubeere Bulindaala”
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Laba Ebirala
  • Onoosigala ng’Oli “Bulindaala”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ayigiriza ku Kuba Obulindaala—Abawala Embeerera
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Okolera ku Kulabula?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • ‘Omuddu Omwesigwa’ Asiimibwa mu Kiseera eky’Okukeberebwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Maaki lup. 7
Abawala ekkumi embeerera aboogerwako mu lugero lwa Yesu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 25

“Mubeere Bulindaala”

25:1-12

Wadde ng’olugero olukwata ku bawala ekkumi lusinga kukwata ku bagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta, eby’okuyiga ebirimu bikwata ku Bakristaayo bonna. (w15 3/15 lup. 12-16) “N’olwekyo, mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.” (Mat 25:13) Osobola okunnyonnyola olugero lwa Yesu olwo?

  • Omugole omusajja (luny. 1)​—Yesu

  • Abawala ab’amagezi abaali beeteeseteese (luny. 2)​—Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeetegefu okukola omulimu ogwabaweebwa n’obwesigwa, era n’okweyongera okwaka ng’ettaala okutuuka ku nkomerero (Baf 2:15)

  • Okwogerera waggulu nti: “Omugole omusajja wuuno ajja!” (luny. 6)​—Ebiraga okubeerawo kwa Yesu

  • Abawala abasirusiru (luny. 8)​—Abakristaayo abaafukibwako amafuta abagenda okwaniriza omugole omusajja, kyokka ne batabeera bulindaala era ne batakuuma bugolokofu bwabwe

  • Abawala ab’amagezi bagaana okugaba amafuta gaabwe (luny. 9)​—Oluvannyuma lw’okuteekebwako akabonero akasembayo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa bajja kuba tebakyasobola kuyamba abo abatali beesigwa

  • “Omugole omusajja n’atuuka” (luny. 10)​—Yesu ajja kujja okusala omusango ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako

  • Abawala ab’amagezi ne bayingira n’omugole omusajja awali embaga, era oluggi ne luggalwawo (luny. 10)​—Yesu atwala Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa mu ggulu, naye abatali beesigwa ne bafiirwa empeera yaabwe

Olugero olwo terulaga nti Abakristaayo bangi abaafukibwako amafuta tebajja kusigala nga beesigwa ne kiba nga kyetaagisa okuzzaawo abalala mu kifo kyabwe. Wabula, kulabula eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta basobole okusigala nga bali bulindaala era nga beesigwa. Yesu atukubiriza ffenna nti: “Mubeerenga beetegefu.” (Mat 24:44) Ka tube nga tulina ssuubi ki, Yesu ayagala ffenna tusigale nga tuli bulindaala era tweyongere okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.

Nnyinza ntya okukiraga nti ndi bulindaala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza