EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 1-2
Yesu Akola Ekyamagero Ekisooka
Ekyamagero Yesu kye yasooka okukola kituyamba okutegeera engeri ze. Ebyogerwako mu nnyiriri ezo biraga bitya ensonga zino wammanga?
Yesu yalina endowooza ennuŋŋamu ku by’okwesanyusaamu, era yasanyukirangako wamu ne mikwano gye
Yesu yalumirirwanga abalala
Yesu yali mugabi