EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 12-14
Endagaano Ekukwatako
Yakuwa yakola endagaano ne Ibulayimu, era endagaano eyo ye yakakasa nti Obwakabaka obw’omu ggulu bwandissiddwawo
Kirabika endagaano eyo yatandika okukola mu mwaka gwa 1943 E.E.T., Ibulayimu bwe yasomoka omugga Fulaati ng’agenda mu nsi ya Kanani
Endagaano eyo ejja kusigala ng’ekola okutuusa ng’Obwakabaka bwa Masiya bumaze okuzikiriza abalabe ba Katonda n’okuwa abantu bonna ku nsi emikisa
Yakuwa yawa Ibulayimu emikisa olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi. Bwe tukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa, mikisa ki gye tujja okufuna okuyitira mu ndagaano Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu?