OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Biki Bye Tuyinza Okuyiga mu Nnyimba Ezifulumira mu Programu za Buli Mwezi?
Ku nnyimba ezifulumira mu programu za buli mwezi, ziruwa ezisinga okukunyumira, era lwaki? Okirabye nti ebiba mu vidiyo z’ennyimba ezo bikwata ku bulamu obwa bulijjo? Olw’okuba ennyimba ezo zikwata ku nsonga ez’enjawulo, buli omu asobola okuba n’oluyimba olumukwatako. Kyokka, ennyimba ezo tezitegekebwa kutusanyusa busanyusa, wabula okubaako bye tuyigamu.
Buli luyimba lulimu eby’okuyiga bye tuyinza okukozesa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo ne mu buweereza. Ennyimba ezimu zoogera ku kusembeza abagenyi, okuba obumu, okukola emikwano, obuvumu, okwagala, oba okukkiriza. Ate endala zikubiriza okudda eri Yakuwa, okusonyiwa, okukuuma obugolokofu, n’okuluubirira ebintu eby’omwoyo. Waliwo n’oluyimba olukwata ku ngeri y’okukozesaamu obulungi amasimu. Bya kuyiga ki ebirala by’ofunye mu nnyimba ezifulumira mu programu za buli mwezi?
MULABE VIDIYO Y’OLUYIMBA OLULINA OMUTWE, BINAATERA OKUTUUKA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Kiki abafumbo abo abakaddiye kye beesunga mu biseera eby’omu maaso?—Lub 12:3
Biki ebinaatuyamba okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye?
Ani gwe weesunga okuddamu okulaba ng’abafu bazuukidde?
Essuubi erikwata ku Bwakabaka lituyamba litya okugumira ebizibu bye tufuna kati?—Bar 8:25