EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 15-17
Lwaki Yakuwa Yatuuma Ibulaamu ne Salaayi Amannya Amalala?
Yakuwa yatwala Ibulaamu ng’omuntu ataaliko kya kunenyezebwa. Bwe yabuulira Ibulaamu ebisingawo ku kisuubizo kye yali amuwadde, yatuuma Ibulaamu ne Salaayi amannya amalala agaali galaga ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso.
Ng’amannya gaabwe bwe gategeeza, Ibulayimu yafuuka kitaawe w’amawanga mangi, ate Saala n’afuuka jjajja wa bakabaka.
Ibulayimu
Kitaawe w’Abangi
Saala
Omumbejja
Tetusobola kwesalirawo linnya lye tunaatuumibwa nga tuzaaliddwa. Naye okufaananako Ibulayimu ne Saala, tusobola okwekolera erinnya eddungi. Weebuuze:
‘Biki bye nnyinza okukola, Yakuwa asobole okuntwala ng’omuntu ataliiko kya kunenyezebwa?’
‘Linnya ki lye nneekolera eri Yakuwa?’