EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 29-30
Okuwaayo Ekiweebwayo eri Yakuwa
Weema entukuvu bwe yazimbibwa, buli omu yalina enkizo ey’okuwaayo ssente okuwagira okusinza okw’amazima, k’abe nga yali mwavu oba mugagga. Leero, tuyinza tutya okuwaayo ekiweebwayo eri Yakuwa? Engeri emu kwe kuwaayo ssente okuwagira emirimu egikolebwa ku Bizimbe by’Obwakabaka, ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene, ofiisi awavvuunulirwa ebitabo, ofiisi z’amatabi, n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima.
Biki bye tuyiga mu byawandiikibwa bino bwe kituuka ku kuwaayo ssente okuwagira okusinza okw’amazima?