LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb20 Okitobba lup. 5
  • Abavubuka—Yakuwa Mumutwala nga Mukwano Gwammwe Asingayo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abavubuka—Yakuwa Mumutwala nga Mukwano Gwammwe Asingayo?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Similar Material
  • Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Katonda Akukubiriza Ofuuke Mukwano Gwe
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Yakuwa—Mukwano Gwaffe Asingayo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Okitobba lup. 5
Ow’oluganda omuvubuka atudde ku mmeeza era yeesomesa.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abavubuka​—Yakuwa Mumutwala nga Mukwano Gwammwe Asingayo?

Ngeri ki z’onoonya mu muntu gw’oyagala okufuula mukwano gwo? Oyinza okuba ng’oyagala omuntu omwesigwa, ow’ekisa, era omugabi. Yakuwa alina engeri ezo zonna. (Kuv 34:6; Bik 14:17) Bw’omusaba, awuliriza essaala zo. Akuyamba nga weetaaga obuyambi. (Zb 18:19, 35) Ate era, bwe weenenya ebibi byo akusonyiwa. (1Yo 1:9) Yakuwa ye mukwano gwaffe asingayo!

Oyinza otya okufuuka mukwano gwa Yakuwa? Soma Ekigambo kye osobole okuyiga ebimukwatako. Mubuulire ebikuli ku mutima. (Zb 62:8; 142:2) Kirage nti osiima ebyo Yakuwa by’atwala nga bikulu, gamba ng’Omwana we, Obwakabaka bwe, n’ebisuubizo bye ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Buulira abalala ebimukwatako. (Ma 32:3) Bw’onoofuba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, ajja kuba mukwano gwo emirembe gyonna.​—Zb 73:25, 26, 28.

MULABE VIDIYO, ABAVUBUKA​—“MULEGEEKO MULABE NTI YAKUWA MULUNGI,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Abavubuka​—Mulegeeko Mulabe Nti Yakuwa Mulungi.’ Mwannyinaffe omuvubuka asaba nga tannatandika kwesomesa.

    Biki by’osaanidde okukola okusobola okutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Abavubuka​—Mulegeeko Mulabe Nti Yakuwa Mulungi.’ Ow’oluganda aweereza nga payoniya asomera omusajja ekyawandiikibwa mu lulimi Olukaleeni (S’gaw).

    Abalala mu kibiina bayinza batya okukuyamba okuweereza Yakuwa?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Abavubuka​—Mulegeeko Mulabe Nti Yakuwa Mulungi.’ Ow’oluganda omuvubuka asiima obuyambi obumuweebwa ab’oluganda abakaddiye ng’abuulira n’ow’oluganda akaddiye.

    Okubuulira kuyinza kutya okukuyamba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Abavubuka​—Mulegeeko Mulabe Nti Yakuwa Mulungi.’ Oluvannyuma lwa mwannyinaffe okutambula essaawa bbiri okuva ewuwe, asoma Bayibuli n’omuwala kiggala.

    Enkolagana yo ne Yakuwa esobola okuba ey’olubeerera!

    Buweereza ki obw’enjawulo bw’osobola okwenyigiramu?

  • Ku ngeri za Yakuwa, ziruwa ezisinga okukusikiriza?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share