OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abakazi Abakulu Batwale nga Bamaama Bo, Ate Abakazi Abato Batwale nga Bannyoko
Ebyawandiikibwa bitukubiriza okutwala Abakristaayo abakulu nga bamaama baffe ne bataata baffe, ate Abakristaayo abato nga baganda baffe ne bannyinaffe. (Soma 1 Timoseewo 5:1, 2.) Okusingira ddala ab’oluganda basaanidde okuwa bannyinaffe ekitiibwa.
Ow’oluganda tasaanidde kuzannyirira na mwannyinaffe oba okukola ekintu kyonna ekyandireetedde mwannyinaffe okuwulira nga talina mirembe ng’ali naye. (Yob 31:1) Ow’oluganda ali obwannamunigina tasaanidde kuzannyira ku nneewulira ya mwannyinaffe ali obwannamunigina, ng’amuleetera okulowooza nti ayagala kumuwasa, so nga ate si bwe kiri.
Abakadde basaanidde okulaga nti bafaayo ku bannyinaffe ababa balina kye babuuza oba aboogera ku nsonga eyeetaaga okukolebwako. Ate era, abakadde basaanidde okufaayo ennyo naddala eri bannyinaffe, abaafiirwa abaami baabwe abandibawadde obukuumi.—Lus 2:8, 9.
MULABE VIDIYO, WEEYONGERE OKWOLEKA OKWAGALA MU KIBIINA—ERI BANNAMWANDU N’ABATALINA BAKITAABWE, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Ab’oluganda mu kibiina baalaga batya mwannyinaffe Myint okwagala?
Okwagala ab’oluganda kwe baalaga kwawa kutya obujulirwa ku kyalo?
Okwagala ab’oluganda kwe baalaga kwakwata kutya ku muwala wa mwannyinaffe Myint?
Biki by’oyinza okukola okulaga nti ofaayo era nti oyagala bannyinaffe abali mu Kibiina kyo?