Okuva bwe kiri nti okwagala kwa Yakuwa kweyolekera nnyo mu bitonde, tuli bakakafu nti bwe tufuba okumuweereza ajja kutuwa emikisa mingi
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri Ebitonde Gye Byolekamu Okwagala kwa Katonda
Kyangu nnyo okwemalira ku bulamu bwaffe obwa bulijjo, ne tutalowooza ku ngeri ebitonde ebitwetoolodde gye biragamu nti Yakuwa atwagala era nti mugabi. Naye Yesu atukubiriza okwetegereza ebitonde era n’okufumiitiriza ku ekyo kye bituyigiriza ku Yakuwa.—Mat 6:25, 26.
MULABE VIDIYO, EBITONDE BYOLEKA OKWAGALA KWA YAKUWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Biki by’oyigidde ku bintu bino wammanga bwe kituuka ku kwagala Yakuwa kw’alina gye tuli . . .
ebintu ebiri mu bwengula?
ebbanga eryetoolode ensi?
omuddo?
engeri ebisolo gye byakolebwamu?
obusobozi bwe tulina obw’okuwulira, okulaba, okuwunyiriza, n’okuloza?
obwongo bwaffe?