LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb22 Ssebutemba lup. 5
  • Abafumbo Balina Okubeera Awamu Ebbanga Lyonna Lye Bamala nga Balamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abafumbo Balina Okubeera Awamu Ebbanga Lyonna Lye Bamala nga Balamu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Similar Material
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Kuba Omufumbo n’Obutaba Mufumbo?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda ow’Okwagala
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Okweteekerateekera Obufumbo Obulungi
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Ssebutemba lup. 5
Ow’oluganda ne mukyala we nga bali mu mulimu gw’okubuulira.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abafumbo Balina Okubeera Awamu Ebbanga Lyonna Lye Bamala nga Balamu

Obufumbo bw’Abakristaayo obulungi buweesa Yakuwa ekitiibwa, era buleetera omwami n’omukyala okuba abasanyufu. (Mak 10:9) Okusobola okuba n’obufumbo obunywevu era obulimu essanyu, Abakristaayo balina okukolera ku misingi gya Bayibuli nga balonda omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa.

Kya magezi okwogerezeganya n’omuntu ng’omaze “okuyita mu kiseera ekya kabuvubuka,” okwegomba okw’okwegatta we kubeerera okw’amaanyi era nga kusobola okukulemesa okusalawo obulungi. (1Ko 7:36) Ekiseera ky’omala ng’okyali bwannamunigina kikozese bulungi okunyweza enkolagana yo ne Katonda, n’okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. Ekyo kijja kukusobozesa okuba omwami oba omukyala omulungi.

Nga tonnasalawo kufumbiriganwa na muntu, waayo ekiseera ekimala okumanya ‘omuntu ow’ekyama ow’omu mutima,’ ow’omuntu oyo. (1Pe 3:4) Bwe wabaawo ebintu ebikulu by’obuusabuusa, byogereko naye. Obufumbo okusobola okubaamu essanyu, kisinziira nnyo ku ekyo ky’okolawo okulaba nti bubaamu essanyu, so si ku ekyo ky’obufunamu. (Baf 2:3, 4) Bw’okolera ku misingi gya Bayibuli nga tonnayingira bufumbo, kijja kukubeerera kyangu okweyongera okugikolerako ng’omaze okubuyingira, era obufumbo bwo bujja kubaamu essanyu.

MULABE VIDIYO OKWETEEKERATEEKERA OBUFUMBO​—KITUNDU 3: ‘BALIRIRA EBYETAAGISA.’ OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Mwannyinaffe yatandika atya okuba n’enkolagana ey’enjawulo ne Shane?

  • Kiki kye yeetegereza ng’enkolagana eyo egenda mu maaso?

  • Bazadde be baamuyamba batya, era yasalawo atya mu ngeri ey’amagezi?

Ow’oluganda alina mwannyinaffe gw’ayagala okuwasa ayinza okwebuuza ebibuuzo bino:

Ngeri ki ez’Ekikristaayo mwannyinaffe ono z’alina? Akiraga atya nti asooka kunoonya Bwakabaka? Akolera ku bulagirizi bwe tufuna okuva mu Bayibuli ne mu Kibiina kya Yakuwa? Akiraga nti afaayo ku balala?

Mwannyinaffe alina ow’oluganda gw’ayagala okufumbirwa ayinza okwebuuza ebibuuzo bino:

Ngeri ki ez’Ekikristaayo ow’oluganda ono z’alina? Akulembeza okusinza Yakuwa n’obuvunaanyizibwa bw’alina mu kibiina, mu kifo ky’okukulembeza omulimu, ssente, emizannyo, oba eby’okwesanyusaamu? Ayisa atya ab’ewaabwe? Akiraga nti afaayo ku balala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share