LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb23 Jjulaayi lup. 11
  • Osobola Okubaako ky’Okolawo Okwongera Essanyu mu Maka

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Osobola Okubaako ky’Okolawo Okwongera Essanyu mu Maka
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Laba Ebirala
  • Okubuulirira kwa Maama Okw’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Amaka go Gasobola Okubaamu Essanyu
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yakuwa bw’Atukangavvula Kiba Kiraga nti Atwagala
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • “Kitaawo ne Nnyoko Obassangamu Ekitiibwa”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Jjulaayi lup. 11
Ebifaananyi: Ebifaananyi ebyaggibwa mu vidiyo “Mube n’Essanyu mu Maka.” 1. Abawala nga batunuulira bazadde baabwe nga balya keeki. 2. Abawala nga bali mu kusinza kw’amaka era nga basanyufu. 3. Omu ku bawala ng’ali ne maama we eyeebase mu ntebe nga mulwadde.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Osobola Okubaako ky’Okolawo Okwongera Essanyu mu Maka

Yakuwa ayagala ab’omu maka babeere basanyufu. (Zb 127:3-5; Mub 9:9; 11:9) Kyokka ebintu ebyeraliikiriza mu nsi, n’ensobi abamu ku b’omu maka gaffe ze bakola biyinza okutumalako essanyu. Kiki buli omu mu maka ky’ayinza okukola okusobola okwongera okuleetawo essanyu?

Omwami asaanidde okuwa mukyala we ekitiibwa. (1Pe 3:7) Asaanidde okuwaayo ebiseera okubeerako awamu naye. Tasaanidde kumusuubiramu kisukkiridde era alina okukyoleka nti asiima ebyo by’amukolera n’ebyo by’akolera ab’omu maka bonna. (Bak 3:15) Asaanidde okukyoleka nti amwagala, era asaanidde okwogera ebigambo ebimutendereza.​—Nge 31:28, 31.

Omukyala alina okufuba okuwagira omwami we. (Nge 31:12) Asaanidde okumugondera n’okukolera awamu naye. (Bak 3:18) Asaanidde okwogera naye mu ngeri ey’ekisa, n’okumwogerako obulungi.​—Nge 31:26.

Abazadde basaanidde okuwaayo ebiseera okubeerako awamu n’abaana baabwe. (Ma 6:6, 7) Basaanidde okubuulira abaana baabwe nti babaagala. (Mat 3:17) Bwe baba babakangavvula, basaanidde okwoleka okwagala n’okutegeera.​—Bef 6:4.

Abaana basaanidde okussaamu bazadde baabwe ekitiibwa n’okubagondera. (Nge 23:22) Basaanidde okubuulira bazadde baabwe ebibali ku mutima n’engeri gye beewuliramu. Bazadde baabwe bwe babakangavvula tebasaanidde kukitwala bubi.​—Nge 19:20.

MULABE VIDIYO, MUBE N’ESSANYU MU MAKA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:

• Kiki buli omu kye yakola okusobola okuleetawo essanyu mu maka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza