LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb23 Ssebutemba lup. 16
  • Kozesa Ebyo Ebiri Awatandikirwa ku JW.ORG mu Buweereza Bwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kozesa Ebyo Ebiri Awatandikirwa ku JW.ORG mu Buweereza Bwo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Similar Material
  • Ebinaakuyamba Okukozesa Omukutu Gwaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Wali Weebuuzizza?
    Zuukuka!—2019
  • Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • “Eno Ngeri Mpya ey’Okuyigiriza!”
    Zuukuka!—2016
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Ssebutemba lup. 16
Ebifaananyi ebitali bimu ebiraga ebitundu eby’okusoma mu nnimi ez’enjawulo ebibeera awatandikirwa ku jw.org.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kozesa Ebyo Ebiri Awatandikirwa ku JW.ORG mu Buweereza Bwo

Awatandikirwa ku mukutu gwaffe wabaawo ebitundu ne vidiyo ebitegekebwa okuyamba abalina endowooza ennuŋŋamu abatali Bajulirwa ba Yakuwa. (Bik 13:48) Bitera okubaamu ebyo ebifulumira mu mawulire oba ebyo abantu bye batera okwogerako n’okulowoozaako.

Oyinza otya okukozesa ebyo ebiri awatandikirwa ku jw.org mu buweereza bwo?

  • Kebera ebyo ebiba biteekeddwa ku mukutu obutayosa. Weetegereze ebipya ebiba byakateekebwayo, ebiba wansi w’omutwe “Ebiriko,” era olabe engeri gy’oyinza okubikozesaamu okuyamba abo abaagala okumanya ebikwata ku Katonda. (Okusobola okufuna ebirala ebyali byateekebwa awatandikirwa, nyiga ku bigambo “Laba n’Ebirala.”) Bw’ofuba okumanya ebipya ebyakateekebwa ku mukutu gwaffe kijja kukuyamba okuba n’ebipya eby’okwogerako ng’obuulira.

  • Kozesa ebitundu ne vidiyo ebiteekebwa awatandikirwa ku mukutu gwaffe okutandika okunyumya n’abantu. Bijja kukuyamba okumanya ebintu abantu bye bayinza okuba nga balowoozaako.

  • Laga abantu awatandikirwa ku mukutu gwaffe. Balage ebimu ku bintu ebiriko era obalage n’engeri gye bayinza okukozesaamu omukutu gwaffe.

  • Weereza linki. Abantu abamu bayinza obutaagala kwogera naffe butereevu, naye bayinza okwagala okugenda ku mukutu gwaffe. N’olwekyo tolonzalonza kuweereza abo abaagala okumanya ebisingawo linki ebatwala awatandikirwa ku jw.org oba ey’ekitundu kyonna eky’okusoma oba vidiyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share