LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w21 Febwali lup. 2-7
  • “Omutwe gwa Buli Musajja Ye Kristo”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Omutwe gwa Buli Musajja Ye Kristo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KITEGEEZA KI OKUBA OMUTWE?
  • LWAKI YAKUWA YASSAAWO ENTEEKATEEKA Y’OBUKULEMBEZE?
  • OMUSAJJA AYINZA ATYA OKUYIGA OKUBA OMUTWE GW’AMAKA OMULUNGI?
  • OMUTWE GW’AMAKA BY’ASAANIDDE OKUKOLA
  • Okutegeera Enteekateeka y’Obukulembeze mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Abakristaayo—Mugoberere Ekyokulabirako kya Yesu mu Maka Gammwe!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Abakazi, Lwaki Musaanidde Okukkiriza Obukulembeze?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Engeri y’Okufuulamu Amaka Gammwe Amasanyufu
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
w21 Febwali lup. 2-7

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 5

“Omutwe gwa Buli Musajja Ye Kristo”

“Omutwe gwa buli musajja ye Kristo.”​—1 KOL. 11:3.

OLUYIMBA 12 Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo

OMULAMWAa

1. Bintu ki ebiyinza okukwata ku ndowooza omusajja gy’aba nayo ku bukulembeze?

KITEGEEZA ki okuba n’obuyinza, gamba ng’okuba “omutwe” gw’amaka? Abasajja abamu engeri gye bayisaamu bakyala baabwe n’abaana baabwe esinziira ku buwangwa bwabwe n’engeri gye baakuzibwamu. Lowooza ku ekyo mwannyinaffe ayitibwa Yanita abeera mu Bulaaya ky’agamba, “Mu kitundu gye mbeera abantu balowooza nti abakazi ba wansi ku basajja era nti balina kutwalibwa nga baddu.” Ate ow’oluganda ayitibwa Luke abeera mu Amerika agamba nti: “Bataata abamu bagamba batabani baabwe nti abakazi tebasaanidde kuwulirizibwa kubanga tebalina kintu kya magezi kye basobola kwogera.” Naye endowooza ng’ezo zikontana n’engeri Yakuwa gy’ayagala abasajja okukozesaamu obuyinza bwabwe. (Geraageranya Makko 7:13.) Kati olwo omusajja ayinza atya okuyiga okuba omutwe gw’amaka omulungi?

2. Kiki omutwe gw’amaka ky’alina okumanya, era lwaki?

2 Okusobola okuba omutwe gw’amaka omulungi, omusajja alina okusooka okumanya ekyo Yakuwa ky’amwetaagisa. Ate era alina okumanya ensonga lwaki Yakuwa yassaawo enteekateeka y’obukulembeze, n’engeri gy’ayinza okukoppa ekyokulabirako Yakuwa ne Yesu kye bassaawo. Lwaki kikulu omusajja okumanya ebintu ebyo? Kubanga Yakuwa yawa emitwe gy’amaka obuyinza obw’ekigero era abasuubira okubukozesa obulungi.​—Luk. 12:48b.

KITEGEEZA KI OKUBA OMUTWE?

3. Ebigambo ebiri mu 1 Abakkolinso 11:3 bituyamba kutegeera ki ku nteekateeka y’obukulembeze?

3 Soma 1 Abakkolinso 11:3. Olunyiriri luno lutulaga enteekateeka y’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo. Okuba omutwe kizingiramu ebintu bibiri ebikulu: okuba n’obuyinza n’okuvunaanyizibwa. Yakuwa gwe “mutwe,” oba y’alina obuyinza obw’enkomeredde, era abaana be bonna, nga mwe muli bamalayika n’abantu, bavunaanyizibwa gy’ali. (Bar. 14:10; Bef. 3:14, 15) Yakuwa yawa Yesu obuyinza ku kibiina, naye Yesu avunaanyizibwa eri Yakuwa ku ngeri gy’atuyisaamu. (1 Kol. 15:27) Yakuwa era yawa omwami obuyinza ku mukyala we n’abaana be, naye omwami avunaanyizibwa eri Yakuwa ne Yesu ku ngeri gy’ayisaamu ab’omu maka ge.​—1 Peet. 3:7.

4. Buyinza ki Yakuwa ne Yesu bwe balina?

4 Olw’okuba Yakuwa gwe Mutwe gw’abo bonna abali mu ggulu ne ku nsi, alina obuyinza okussaawo amateeka agakwata ku ngeri gye basaanidde okweyisaamu n’okukakasa nti amateeka ago bagagondera. (Is. 33:22) Ate era olw’okuba Yesu gwe mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, alina obuyinza okukiteerawo amateeka n’okukakasa nti abakirimu bagakwata.​—Bag. 6:2; Bak. 1:18-20.

5. Buyinza ki omutwe gw’amaka bw’alina, era obuyinza bwe bukoma wa?

5 Okufaananako Yakuwa ne Yesu, omutwe gw’amaka alina obuyinza okusalawo ebikwata ku maka ge. (Bar. 7:2; Bef. 6:4) Naye obuyinza bwe buliko ekkomo. Ng’ekyokulabirako, amateeka g’assaawo galina okuba nga geesigamiziddwa ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda. (Nge. 3:5, 6) Kyokka omutwe gw’amaka talina buyinza kuteerawo mateeka abo abatali ba mu maka ge. (Bar. 14:4) Ate era batabani be ne bawala be bwe bakula ne bava awaka, beeyongera okumussaamu ekitiibwa naye aba takyali mutwe gwabwe​—Mat. 19:5.

LWAKI YAKUWA YASSAAWO ENTEEKATEEKA Y’OBUKULEMBEZE?

6. Lwaki Yakuwa yassaawo enteekateeka y’obukulembeze?

6 Yakuwa yassaawo enteekateeka y’obukulembeze olw’okuba ayagala ab’omu maka ge. Kirabo okuva gy’ali. Enteekateeka eyo esobozesa ab’omu maka ga Yakuwa okuba mu mirembe n’okuba abategeke obulungi. (1 Kol. 14:33, 40) Awatali nteekateeka ya bukulembeze, amaka ga Yakuwa gandibaddemu akavuyo era tegandibaddemu ssanyu. Ng’ekyokulabirako, tewali yandibadde amanya baani abasaanidde okusalawo eky’enkomeredde ku bintu ebitali bimu, na baani abalina okukakasa nti ekisaliddwawo kissibwa mu nkola.

7. Okusinziira ku Abeefeso 5:25, 28, kyali kigendererwa kya Yakuwa abasajja okukajjala ku bakazi?

7 Bwe kiba nti enteekateeka ey’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo nnungi, lwaki abakazi bangi bawulira nti abaami baabwe babanyigiriza era babakajjalako? Ekyo kiri kityo kubanga abasajja bangi tebagoberera mitindo gya Yakuwa egikwata ku maka, wabula basalawo okugoberera obuwangwa bwabwe n’ennono. Ate era bayinza okuyisa obubi bakyala baabwe nga bakitwala nti kirina kye kibongerako. Ng’ekyokulabirako, omwami ayinza okukajjala mu mukazi we ng’akitwala nti ekyo kimwongerako ekitiibwa, oba okulaga abalala nti “musajja.” Ayinza okugamba nti tayinza kuwaliriza mukyala we kumwagala, naye asobola okumuleetera okumutya. Era ayinza okukozesa okutya okwo ng’engeri y’okumufuga.b Enneeyisa n’endowooza ng’eyo eviirako abakazi obutaweebwa kitiibwa kye bagwanidde kuweebwa era ekontana n’ekyo Yakuwa ky’ayagala.​—Soma Abeefeso 5:25, 28.

OMUSAJJA AYINZA ATYA OKUYIGA OKUBA OMUTWE GW’AMAKA OMULUNGI?

8. Omusajja ayinza atya okuyiga okuba omutwe gw’amaka omulungi?

8 Omusajja asobola okuyiga okuba omutwe gw’amaka omulungi ng’akoppa engeri Yakuwa ne Yesu gye bakozesaamu obuyinza bwabwe. Ka tulabeyo engeri bbiri Yakuwa ne Yesu ze booleka, era ka tulabe engeri omutwe gw’amaka gy’ayinza okwoleka engeri ezo ng’akolagana ne mukyala we n’abaana be.

9. Yakuwa ayoleka atya obwetoowaze?

9 Obwetoowaze. Yakuwa y’asingayo okuba ow’amagezi; wadde kiri kityo, awuliriza abaweereza be nga baliko kye bamugamba. (Lub. 18:23, 24, 32) Akkiriza abo abali wansi we okuwa endowooza zaabwe. (1 Bassek. 22:19-22) Yakuwa atuukiridde, naye mu kiseera kino tatusuubira kuba batuukiridde. Mu kifo ky’ekyo, ayamba abaweereza be abatatuukiridde okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe. (Zab. 113:6, 7) Mu butuufu, Bayibuli eyita Yakuwa ‘omuyambi.’ (Zab. 27:9; Beb. 13:6) Kabaka Dawudi yagamba nti obwetoowaze bwa Yakuwa bwe bwamusobozesa okukola ebintu byonna eby’amaanyi bye yakola.​—2 Sam. 22:36.

10. Yesu yayoleka atya obwetoowaze?

10 Lowooza ku Yesu. Wadde nga ye yali Mukama w’abayigirizwa be, yanaaza ebigere byabwe. Lwaki Yakuwa yawandiisa ekintu ekyo mu Bayibuli? Emu ku nsonga eri nti, ayagala abantu, nga mw’otwalidde n’emitwe gy’amaka, okuyigira ku Yesu. Yesu kennyini yagamba nti: “Mbateereddewo ekyokulabirako; nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola.” (Yok. 13:12-17) Wadde nga Yesu yalina obuyinza bungi, yali tasuubira balala kumuweereza. Mu kifo ky’ekyo, yaweerezanga abalala.​—Mat. 20:28.

Ebifaananyi: 1. Omwami ayambako mukyala we okufumba era akikola musanyufu. 2. Omwami oyo y’omu ne mukyala we nga bali mu kusinza kw’amaka.

Omutwe gw’amaka asobola okwoleka obwetoowaze n’okwagala ng’ayambako ku mirimu gy’awaka era ng’afaayo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omwoyo (Laba akatundu 11, 13)

11. Omutwe gw’amaka ayinza atya okukoppa Yakuwa ne Yesu mu kwoleka obwetoowaze?

11 Bye tuyiga. Omutwe gw’amaka asobola okwoleka obwetoowaze mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, tasuubira mukyala we n’abaana be kukola bintu mu ngeri etuukiridde. Awuliriza endowooza z’ab’omu maka ge ne bwe ziba nga zaawukana ku yiye. Marley, abeera mu Amerika agamba nti: “Nze n’omwami wange oluusi tuba n’endowooza za njawulo. Naye nkiraba nti ansiima era anzisaamu ekitiibwa olw’okuba asooka kumbuuza kye ndowooza era n’akifumiitirizaako nga tannaba kubaako ky’asalawo.” Ate era omwami omwetoowaze aba mwetegefu okukola emirimu egy’awaka ne bwe kiba nti mu kitundu gy’abeera emirimu egyo gitwalibwa nti gya bakazi. Ekyo kiyinza obutaba kyangu. Lwaki? Mwannyinaffe ayitibwa Rachel agamba nti: “Mu kitundu gye nva, omwami bw’ayambako mukyala we okwoza ebintu oba okuyonja ennyumba, baliraanwa be n’ab’eŋŋanda ze batandika okwebuuza obanga ddala ‘musajja.’ Balowooza nti aba tasobola kufuga mukazi we.” Bwe kiba nti abantu mu kitundu gy’obeera balina endowooza ng’eyo, kijjukire nti Yesu yanaaza ebigere by’abayigirizwa be wadde ng’omulimu ogwo gwali gutwalibwa okuba ogw’abaddu. Omutwe gw’amaka omulungi ky’atwala ng’ekikulu si kwe kuleetera abalala okumutwala nti wa kitalo, wabula kwe kuleetera mukyala we n’abaana be okuwulira obulungi. Ng’oggyeeko obwetoowaze, ngeri ki endala omutwe gw’amaka gy’asaanidde okwoleka?

12. Okwagala kuleetera Yakuwa ne Yesu kukola ki?

12 Okwagala. Buli kintu Yakuwa ky’akola okwagala kwe kumuleetera okukikola. (1 Yok. 4:7, 8) Olw’okuba atwagala, akola ku byetaago byaffe eby’omwoyo okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli ne mu kibiina kye. Afaayo ku nneewulira yaffe ng’atukakasa nti atwagala. Ate byo ebyetaago byaffe eby’omubiri? Yakuwa “atuwa mu bungi ebintu byonna ebitusanyusa.” (1 Tim. 6:17) Bwe tukola ensobi atugolola naye talekera awo kutwagala. Olw’okuba Yakuwa atwagala, yakola enteekateeka tusobole okununulibwa. Yesu naye atwagala nnyo ne kiba nti yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. (Yok. 3:16; 15:13) Tewali kiyinza kumalawo kwagala Yakuwa ne Yesu kwe balina eri abo beesigwa gye bali.​—Yok. 13:1; Bar. 8:35, 38, 39.

13. Lwaki kikulu omutwe gw’amaka okulaga ab’omu maka ge okwagala? (Laba n’akasanduuko “Omusajja Eyaakawasa by’Ayinza Okukola Okuleetera Mukyala We Okumussaamu Ekitiibwa”)

13 Bye tuyiga. Buli kintu omutwe gw’amaka ky’akola, okwagala kwe kusaanidde okumuleetera okukikola. Lwaki ekyo kikulu nnyo? Omutume Yokaana yagamba nti: “Oyo atayagala muganda we [oba wa mu maka ge] gw’alabako tayinza kwagala Katonda gw’atalabangako.” (1 Yok. 4:11, 20) Omwami ayagala ab’omu maka ge era ayagala okukoppa Yakuwa ne Yesu, aba afaayo ku byetaago byabwe eby’omwoyo, ku nneewurira yaabwe, ne ku byetaago byabwe eby’omubiri. (1 Tim. 5:8) Atendeka abaana be era abakangavvula. Ate era yeeyongera okuyiga okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa era eganyula ab’omu maka ge. Ka tulabe buli kimu ku bintu ebyo, era tulabe engeri omutwe gw’amaka gy’ayinza okukoppa Yakuwa ne Yesu.

Omusajja Eyaakawasa by’Ayinza Okukola Okuleetera Mukyala We Okumussaamu Ekitiibwa

  • Kimanye nti kati ggwe ne mukyala wo muli “omubiri gumu” era nti tewali muntu mulala yenna, ka babe bazadde bammwe, abaana bammwe, oba abakadde, ali omubiri ogumu nammwe.​—Mat. 19:5.

  • Kimanye nti mmwembi kijja kubatwalira ekiseera okumanyiira obuvunaanyizibwa bwammwe obupya n’okubutuukiriza obulungi.​—1 Peet. 3:7.

  • Mukyala wo tomugeraageranya na maama wo.​—Bag. 6:4.

  • Tosuubira mukazi wo kugoberera bulombolombo oba endowooza ebitakwatagana na misingi gya Bayibuli.​—Nge. 3:5, 6; Mak. 7:13.

  • Tolagira mukyala wo kukugondera, wabula ssaawo ekyokulabirako ekirungi ng’okolera ku bulagirizi bwa Yakuwa obuli mu Bayibuli.​—1 Kol. 11:3.

  • Tolagira mukyala wo kukussaamu kitiibwa, wabula kola ebintu ebinaamuleetera okukussaamu ekitiibwa.​—Bef. 5:25; 1 Peet. 5:3.

OMUTWE GW’AMAKA BY’ASAANIDDE OKUKOLA

14. Omutwe gw’amaka afaayo atya ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omwoyo?

14 Afaayo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omwoyo. Okufaananako Kitaawe, Yesu yafaayo nnyo okulaba nti abo abali wansi we baliisibwa bulungi mu by’omwoyo. (Mat. 5:3, 6; Mak. 6:34) Mu ngeri y’emu, ekintu omutwe gw’amaka ky’asaanidde okutwala ng’ekisinga obukulu kwe kufaayo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omwoyo. (Ma. 6:6-9) Ekyo akikola ng’akakasa nti ye n’ab’omu maka ge basoma Ekigambo kya Katonda era ne bakyekenneenya, babaawo mu nkuŋŋaana, babuulira amawulire amalungi, era bafuba okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa.

15. Engeri emu omutwe gw’amaka gy’akiraga nti afaayo ku nneewulira y’ab’omu maka ge y’eruwa?

15 Afaayo ku nneewulira y’ab’omu maka ge. Yakuwa yakyoleka mu lujjudde nti ayagala nnyo Yesu. (Mat. 3:17) Yesu yakyoleka nti ayagala nnyo abagoberezi be okuyitira mu ebyo bye yakola ne bye yayogera, era nabo baakyoleka nti baali bamwagala nnyo. (Yok. 15:9, 12, 13; 21:16) Omutwe gw’amaka asobola okukiraga nti ayagala mukyala we n’abaana be okuyitira mu ebyo by’akola, gamba ng’okusomera awamu nabo Bayibuli. Ate era asaanidde okubategeeza nti abaagala, abasiima, era bwe kiba kituukirawo asaanidde okuboogerako obulungi mu maaso g’abalala.​—Nge. 31:28, 29.

Omusajja ng’akola omulimu ogw’okukanika.

Okusobola okusanyusa Yakuwa, omutwe gw’amaka alina okufaayo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omubiri (Laba akatundu 16)

16. Kiki ekirala omutwe gw’amaka ky’alina okukola, era ayinza atya obutagwa lubege?

16 Afaayo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omubiri. Yakuwa yafaayo ku byetaago by’Abayisirayiri eby’omubiri ne bwe baali nga babonerezebwa olw’obujeemu. (Ma. 2:7; 29:5) Ate era afaayo ku byetaago byaffe eby’omubiri leero. (Mat. 6:31-33; 7:11) Yesu naye yaliisa abo abaali bamugoberera. (Mat. 14:17-20) Yabawonya n’endwadde. (Mat. 4:24) Okusobola okusanyusa Yakuwa, omutwe gw’amaka alina okufaayo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omubiri. Naye alina obutagwa lubege. Tasaanidde kwemalira nnyo ku mulimu gw’akola okusobola okuyimirizaawo ab’omu maka ge n’alemererwa okufaayo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omwoyo ne ku nneewulira yaabwe.

17. Kyakulabirako ki Yakuwa ne Yesu kye bassaawo mu ngeri bye batutendekamu ne gye batukangavvulamu

17 Abatendeka. Yakuwa atutendeka era atukangavvula tusobole okuganyulwa. (Beb. 12:7-9) Okufaananako Kitaawe, Yesu naye atendeka abo abali wansi w’obuyinza bwe mu ngeri ey’okwagala. (Yok. 15:14, 15) Wadde ng’anywerera ku kituufu, ayoleka ekisa. (Mat. 20:24-28) Akimanyi nti tetutuukiridde era nti tusobola okukola ensobi.​—Mat. 26:41.

18. Kiki omutwe gw’amaka omulungi ky’ateerabira?

18 Omutwe gw’amaka akoppa Yakuwa ne Yesu takyerabira nti ab’omu maka ge tebatuukiridde. ‘Tasunguwalira’ mukyala we oba baana be. (Bak. 3:19) Mu kifo ky’ekyo, akolera ku musingi oguli mu Abaggalatiya 6:1 n’afuba okubatereeza mu “mwoyo omukkakkamu” ng’akijjukira nti naye tatuukiridde. Okufaananako Yesu, akimanya nti engeri esingayo obulungi ey’okubayigirizaamu kwe kubateerawo eky’okulabirako ekirungi.​—1 Peet. 2:21.

19-20. Bwe kituuka ku kusalawo, omutwe gw’amaka ayinza atya okukoppa Yakuwa ne Yesu?

19 Afaayo ku balala ng’alina by’asalawo. Ebintu Yakuwa by’asalawo biganyula abalala. Ng’ekyokulabirako, yasalawo okutuwa obulamu, era ekyo teyakikola kwenoonyeza bibye wabula yali ayagala naffe tunyumirwe obulamu nga ye. Ate era tewali yali asobola kuwaliriza Yakuwa kuwaayo Mwana we kutufiirira olw’ebibi byaffe. Ekyo yakikola kyeyagalire tusobole okuganyulwa. Yesu naye yasalangawo ebintu ebyaganyulanga abalala. (Bar. 15:3) Ng’ekyokulabirako, lumu bwe yali ng’akooye nnyo, yasalawo okuyigiriza abantu mu kifo ky’okuwummula.​—Mak. 6:31-34.

20 Omutwe gw’amaka omulungi aba akimanyi nti ekimu ku bintu ebisingayo obuzibu by’alina okukola kwe kusalawo ebintu ebiganyula ab’omu maka ge, era obuvunaanyizibwa obwo abutwala nga bukulu nnyo. Afuba okwewala okusalawo nga talowoozezza oba ng’asinziira ku nneewulira ye. Mu kifo ky’ekyo, akolera ku bulagirizi bwa Yakuwa ng’alina by’asalawo.c (Nge. 2:6, 7) Mu ngeri eyo aba alowooza ku kuganyula abalala so si okwenoonyeza ebibye.​—Baf. 2:4.

21. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

21 Yakuwa yawa emitwe gy’amaka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi era bavunaanyizibwa gy’ali ku ngeri gye batuukirizaamu obuvunaanyizibwa obwo. Naye omwami bw’afuba okukoppa Yakuwa ne Yesu, aba mutwe gwa maka mulungi. Era mukyala we bw’afuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, obufumbo bubaamu essanyu. Omukyala asaanidde kutwala atya enteekateeka y’obukulembeze, era kusoomooza ki kw’ayolekagana nakwo? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kiki ekizingirwa mu kuba omutwe?

  • Omutwe gw’amaka ayinza atya okukiraga nti mwetoowaze?

  • Biki omutwe gw’amaka by’asaanidde okukola okulaga nti afaayo ku b’omu maka ge?

OLUYIMBA 16 Mutende Yakuwa olw’Omwana We Eyafukibwako Amafuta

a Omusajja bw’awasa, afuuka mutwe gwa maka ge agaba gatandikiddwawo. Mu kitundu kino tugenda kulaba obuyinza Yakuwa bwe yawa abalala, ensonga lwaki yabubawa, n’ekyo abasajja kye basobola okuyigira ku kyokulabirako Yakuwa ne Yesu kye bassaawo. Mu kitundu ekinaddako tujja kulaba ekyo abaami n’abakyala kye basobola okuyigira ku kyokulabirako Yesu n’abalala aboogerwako mu Bayibuli kye bassaawo. Ate mu kitundu eky’okusatu tujja kulaba engeri ab’oluganda gye basaanidde okukozesaamu obuyinza mu kibiina.

b Endowooza egamba nti kikkirizibwa omusajja okuyisa obubi mukyala we oba akumutulugunya oluusi yeeyolekera mu firimu, emizannyo, n’ebitabo ebibaamu ebintu ebisesa. Ekyo kiyinza okuleetera abantu okulowooza nti si kikyamu omusajja okukajjala ku mukyala we.

c Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okusalawo mu ngeri ennungi, laba ekitundu “Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa,” ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2011, lup. 13-17.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share