LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w21 Okitobba lup. 29-31
  • 1921—Emyaka Kikumu Egiyise

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 1921—Emyaka Kikumu Egiyise
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BAABUULIRA N’OBUVUMU
  • ENTEEKATEEKA Y’OKWESOMESA
  • EKITABO EKIPYA!
  • OMULIMU OGWALI GUBALINDIRIDDE
  • Okukola Yakuwa by’Atugamba Okukola Kivaamu Emikisa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • 1922—Emyaka Kikumi Egiyise
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Eky’Obusika Ekiganyudde Emirembe Musanvu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • 1923—Emyaka Kikumi Emabega
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
w21 Okitobba lup. 29-31

1921—Emyaka Kikumi Egiyise

MU MAGAZINI ya Watch Tower eya Jjanwali 1, 1921 mwalimu ekibuuzo kino ekyabuuzibwa Abayizi ba Bayibuli: “Mulimu ki gwe twesunga okukola omwaka guno?” Mu kuddamu ekibuuzo ekyo, magazini eyo yajuliza ebigambo ebiri mu Isaaya 61:1, 2, ebyabajjukiza omulimu omukulu ogwabaweebwa ogw’okubuulira. Wagamba nti: ‘Yakuwa yanfukako amafuta okubuulira abawombeefu amawulire amalungi. Okulangirira olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwoolerako eggwanga.’

BAABUULIRA N’OBUVUMU

Okusobola okukola omulimu ogwabaweebwa, Abayizi ba Bayibuli baalina okubuulira n’obuvumu. Tebaalina kukoma ku kubuulira abawombeefu “amawulire amalungi,” naye era baalina n’okubuulira ababi ‘olunaku olw’okuwoolerako eggwanga.’

Ow’Oluganda J. H. Hoskin, eyali abeera mu Canada, yabuulira n’obuvumu wadde nga waaliwo okuziyizibwa okw’amaanyi. Mu 1921, ow’oluganda oyo bwe yali abuulira yasisinkana munnaddiini omu. Ow’oluganda yatandika okwogera ne munnaddiini oyo ng’agamba nti: “Tusobola okwogera ku Byawandiikibwa. Naye ne bwe tuba nga tetukkiriziganyizza ku bintu ebimu, tusobola okwawukana mu mirembe ne tusigala nga tuli ba mukwano.” Naye ekyo si kye kyaliwo. Ow’oluganda Hoskin yagamba nti: “Twali twakoogerera ekiseera kino n’akuba nnyo oluggi, era nnalowooza nti endabirwamu yali eyiise.”

Munnaddiini oyo yaleekaana nnyo ng’agamba nti: “Lwaki togenda n’obuulira abatali Bakristaayo?” Naye Ow’oluganda Hoskin teyamuddamu. Ow’oluganda Hoskin yagamba nti: ‘Muli nnagamba nti wadde nga munnaddiini oyo yali yeeyita Mukristaayo, yali teyeeyisizza ng’Omukristaayo!’

Munnaddiini oyo bwe yali abuulira ku lunaku olwaddirira, yabuulira abagoberezi be eby’obulimba ku w’Oluganda Hoskin. Ow’oluganda yagamba nti: “Munnaddini oyo yagamba abagoberezi be nti nze muntu akyasinzeeyo okuba omulimba eyali abadde mu kabuga ako, era nti nsaana kukubibwa masasi.” Ebigambo ebyo tebyamalamu ow’Oluganda Hoskin maanyi. Yeeyongera okubuulira awatali kuddirira era yafuna emikisa mingi. Yagamba nti: “Nnanyumirwa nnyo obuweereza mu kiseera ekyo. Abantu abamu baŋŋambanga nti, ‘Tumanyi nti oli musajja wa Katonda.’ Era bambuuzanga obanga basobola okunnyambako ku byetaago byange.”

ENTEEKATEEKA Y’OKWESOMESA

Okusobola okuyamba abantu okweyongera okutegeera ebyo bye baali basoma mu Bayibuli, Abayizi ba Bayibuli baafulumya enteekateeka ey’okwesomesa mu magazini eyali eyitibwa The Golden Age.a Mwalimu n’ebibuuzo abazadde bye baali basobola okukubaganyaako ebirowoozo n’abaana baabwe. Abazadde “baabuuzanga abaana baabwe ebibuuzo ebyo oluvannyuma ne babayamba okufuna eby’okuddamu mu Bayibuli.” Ebibuuzo ebimu, gamba nga, “Bayibuli erimu ebitabo bimeka?,” byayambanga abaana okutegeera ebintu ebisookerwako ebikwata ku Bayibuli. Ate ebirala gamba nga, “Buli Mukristaayo asaanidde okusuubira okuyigganyizibwa?,” byateekateekanga abaana okusobola okubuulira n’obuvumu.

Ekitundu kya programu y’okwesomesa ekyali kiyitibwa Advanced Studies in the Divine Plan of the Ages, kyalimu ebibuuzo n’eby’okuddamu ebyali biyamba abo abaali bamaze ekiseera nga bayiga Bayibuli. Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo byali byesigamiziddwa ku muzingo ogusooka ogw’ekitabo ekyali kiyitibwa Studies in the Scriptures. Abantu bangi baaganyulwa nnyo mu programu eyo ey’okwesomesa, naye magazini ya The Golden Age eya Ddesemba 21, 1921, yagamba nti enteekateeka eyo yali egenda kukoma. Lwaki?

EKITABO EKIPYA!

Ekitabo The Harp of God

Kaadi okuli ebitundu eby’okusoma

Kaadi okuli ebibuuzo

Abo abaali batwala obukulembeze baakiraba nti abayizi ba Bayibuli abapya baali beetaaga okuyiga amazima agasookerwako mu ngeri entegeke obulungi. Bwe kityo, ekitabo ekiyitibwa The Harp of God kyafulumizibwa mu Noovemba 1921. Abo abakkirizanga ekitabo ekyo baali basobola okwesomesa bokka. Enteekateeka eyo ey’okwesomesa yayamba abantu okumanya “ekigendererwa kya Katonda eky’okuwa abantu obulamu obutaggwaawo.” Ekitabo ekyo kyasomebwanga kitya?

Omuntu bwe yakkirizanga okutwala ekitabo, baamuweerangako ne kaadi eriko ekitundu eky’okusoma okuva mu kitabo ekyo. Wiiki eddako yaweerezebwanga kaadi eriko ebibuuzo ebyabanga byesigamiziddwa ku ebyo ebyabanga bimuweereddwa okusoma. Kaadi eyo era yabangako ekitundu eky’okusoma wiiki eddako.

Buli wiiki, okumala wiiki 12, buli muyizi yaweerezebwanga kaadi okuva mu kibiina eky’omu kitundu kye. Ebiseera ebisinga, abo abaabanga bakaddiye oba abatasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba, be baaweerezanga kaadi ezo. Ng’ekyokulabirako, Anna K. Gardner, eyali abeera mu Millvale, Pennsylvania, Amerika, yagamba nti: “Ekitabo ekiyitibwa The Harp of God bwe kyafulumizibwa, muganda wange ayitibwa Thayle, eyali tasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba, yafuna omulimu ogw’okukola. Buli wiiki yaweerezanga abayizi kaadi ezaabangako ebibuuzo.” Omuyizi bwe yamalangako ekitabo ekyo, omubuulizi yamukyaliranga okusobola okumuyamba okumanya ebisingawo.

Thayle Gardner ng’atudde mu kagaali k’abalema

OMULIMU OGWALI GUBALINDIRIDDE

Ku nkomerero y’omwaka, Ow’oluganda J. F. Rutherford yasindikira ebibiina byonna ebbaluwa. Mu bbaluwa eyo yagamba nti yali akyetegerezza nti “obujulirwa obwali buweereddwa ku Bwakabaka mu mwaka ogwo bwali bwa maanyi nnyo era bwavaamu ebirungi bingi okusinga omwaka omulala gwonna.” Era yagattako nti: “Waliwo omulimu munene ogukyetaagisa okukola. Mukubirize abalala okwenyigira mu mulimu ogwo omulungi ennyo.” Abayizi ba Bayibuli baayanukula omulaga ogwo. Mu mwaka gwa 1922, beeyongera okubuulira n’obuvumu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.

Ab’emikwano Abavumu

Abayizi ba Bayibuli baalagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala nga bayambagana. Baali ba mukwano “mu biro eby’okulaba ennaku,” nga bwe tugenda okulaba wammanga.​—Nge. 17:17.

Ku Lwokubiri nga Maayi 31, 1921, omusajja omu omuddugavu yakwatibwa n’asibibwa olw’okulumba omukazi omuzungu mu kibuga Tulsa, mu ssaza lye Oklahoma, Amerika. Oluvannyuma lw’ekyo, ekibinja ky’abasajja abazungu abaali basukka mu 1,000 kyalumba ekibinja ekitono eky’abasajja abaddugavu. Okulwanagana kwasaasaana mangu mu kitundu ekiyitibwa Greenwood, ekyali kisinga okubeeramu abaddugavu era ennyumba ezisukka mu 1,400 n’ebifo ebikolerwamu bizineesi byanyagibwa era ne byokebwa omuliro. Lipoota yalaga nti abantu 36 be baafa, naye ng’omuwendo gw’abantu abaafa guyinza okuba nga gwali mu 300.

Ow’Oluganda Richard J. Hill, eyali Omuyizi wa Bayibuli omuddugavu eyali abeera mu Greenwood, yayogera bw’ati ku ebyo ebyaliwo: “Ku lunaku okulwanagana okwo lwe kwabalukawo, twalina enkuŋŋaana zaffe ez’akawungeezi nga bulijjo. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, twawulira amasasi agavuga wakati mu kibuga. Wetwagendera okwebaka gaali gakyavuga.” Enkeera ku Lwokusatu, nga Jjuuni 1, embeera yali yeeyongedde okwonooneka. Ow’oluganda Hill era yagamba nti: “Waaliwo abantu abajja ne batugamba nti okusobola okufuna obukuumi, twali tulina okugenda amangu ddala mu kizimbe ekyali kikuŋŋaanirwamu abantu abangi mu kibuga Tulsa.” Bwe kityo, ow’Oluganda Hill ne mukyala we, awamu n’abaana baabwe abataano badduka ne bagenda mu kizimbe ekyo. Eyo waaliyo abasajja n’abakazi abaddugavu nga 3,000 abaali bakuumibwa abasirikale gavumenti be yali esindise okukomya okulwanagana okwo.

Mu kiseera kye kimu ekyo, ow’Oluganda Arthur Claus, eyali omuzungu, yakola ekintu eky’obuvumu ennyo. Yagamba nti: “Bwe nnawulira nti mu Greenwood waaliyo okunyaga ebintu n’okwokya amayumba, nnasalawo okugenda okulaba embeera mukwano gwange ow’Oluganda Hill gye yalimu.”

Arthur Claus yayigiriza ekibiina ekyalimu abayizi 14 ng’akozesa ekitabo The Harp of God

Bwe yatuuka mu maka g’ow’Oluganda Hill, yasangayo muliraanwa we eyali akutte emmundu. Omusajja oyo naye yali mukwano gw’ow’Oluganda Hill, era yalowooza nti Arthur yali omu ku abo abaali bakola effujjo. Yamubuuza nti: “Kiki ekikuleese wano?”

Arthur yagamba nti: “Singa nnamuddamu mu ngeri etamatiza, yandinkubye essasi.” Nnamugamba nti nnali mukwano gw’ow’Oluganda Hill era nti nnateranga okujja mu maka ago. Arthur ne muliraanwa wa Hill baakuuma ebintu bya Hill ne bitanyagibwa.

Oluvannyuma, Arthur yakizuula nti ow’Oluganda Hill n’ab’omu maka ge baali mu kizimbe ekikuŋŋaanirwamu abantu abangi mu Tulsa. Arthur yagambibwa nti abaddugavu baali tebakkirizibwa kuva mu kizimbe ekyo nga tebafunye lukusa okuva eri Omukulu omu mu magye eyali ayitibwa Barrett. Arthur yagamba nti: “Tekyali kyangu n’akatono okulaba omusirikale oyo. Bwe nnamugamba ku nteekateeka ze nnalina, yambuuza nti: ‘Onoolabirira omusajja oyo n’ab’omu maka ge era n’okola ku byetaago byabwe?’ Nnamuddamu nga ndi musanyufu nti, yee.”

Arthur yaweebwa empapula ezaali zimukkiriza okujjayo ow’Oluganda Hill n’ab’omu maka ge era n’ayanguwa okugenda ku kizimbe gye baali. Arthur bwe yawa omusirikale eyali akuuma ekifo ekyo empapula, omusirikale oyo yeewuunya nnyo okuba nti Barrett kennyini ye yali azitaddeko omukono! Yagamba nti: “Okimanyi nti leero gwe muntu asoose okuweebwa olukusa okuggya omuntu mu kifo kino?” Mangu ddala, omusirikale oyo ne Arthur baanoonya ow’Oluganda Hill n’ab’omu maka ge ne babazuula era ne balinnya emmotoka ya Arthur ne bagenda awaka waabwe.

“Tewali yeetwala nti wa wagulu ku balala”

Ow’Oluganda Claus yakakasa nti ow’Oluganda Hill n’ab’omu maka ge tebatuukibwako kabi konna. Abantu abalala bwe baalaba obuvumu n’okwagala ow’oluganda Claus bye yayoleka, baakwatibwako nnyo. Arthur yagamba nti: “Muliraanwa wa Hill eyakuuma ebintu bye yeeyongera okuwa Abajulirwa ba Yakuwa ekitiibwa. Era abantu bangi baatandika okwagala okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka, olw’okuba baakiraba nti abantu ba Katonda tebasosola mu langi, era nti tewali yeetwala nti wa wagulu ku balala.”

a Magazini ya The Golden Age yatuumibwa Consolation mu 1937 oluvannyuma n’etuumibwa Awake! mu 1946.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share