EKITUNDU EKY’OKUSOMA 49
Tusobola Okuba Abalamu Emirembe Gyonna
“Oyo anzikiriza alina obulamu obutaggwaawo.”—YOK. 6:47.
OLUYIMBA 147 Katonda Atusuubizza Obulamu Obutaggwaawo
OMULAMWAa
1. Okwatibwako otya bw’ofumiitiriza ku kisuubizo kya Yakuwa eky’obulamu obutaggwaawo?
YAKUWA yasuubiza nti abo abakola by’ayagala bajja kufuna ‘obulamu obutaggwaawo.’ (Bar. 6:23) Bwe tufumiitiriza ku ekyo Yakuwa kye yatusuubiza, tweyongera okumwagala. Kirowoozeeko: Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo ne kiba nti ayagala tube balamu emirembe gyonna.
2. Essuubi lye tulina ery’obulamu obutaggwaawo lituyamba litya?
2 Essuubi ery’obulamu obutaggwaawo lye tulina lituyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo kati. Abalabe baffe ne bwe batutiisatiisa okututta, tetwekkiriranya. Lwaki? Ensonga emu eri nti bwe tufa nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tukimanyi nti ajja kutuzuukiza tube nga tulina essuubi ery’obutaddamu kufa. (Yok. 5:28, 29; 1 Kol. 15:55-58; Beb. 2:15) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti tusobola okuba balamu emirembe gyonna? Lowooza ku nsonga zino wammanga.
YAKUWA ABEERAWO EMIREMBE GYONNA
3. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa asobola okutuwa obulamu obutaggwaawo? (Zabbuli 102:12, 24, 27)
3 Tukimanyi nti Yakuwa asobola okutuwa obulamu obutaggwaawo, kubanga ye nsibuko y’obulamu era abeerawo emirembe gyonna. (Zab. 36:9) Bayibuli etukakasa nti Yakuwa abaddewo emirembe gyonna era ajja kweyongera okubaawo emirembe gyonna. Zabbuli 90:2 wagamba nti Yakuwa ye Katonda “okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna.” Zabbuli 102 nayo eraga ensonga y’emu. (Soma Zabbuli 102:12, 24, 27.) Ate era nnabbi Kaabakuuku bwe yali ayogera ku Kitaffe ow’omu ggulu, yagamba nti: “Ai Yakuwa, tobaddeewo okuva edda n’edda? Ai Katonda wange, Omutukuvu wange, ggwe tofa.”—Kaab. 1:12.
4. Okuba nti tetusobola kutegeera mu bujjuvu eky’okuba nti Yakuwa abaddewo emirembe gyonna, kyanditumazeemu amaanyi? Nnyonnyola.
4 Kikuzibuwalira okukkiriza nti Yakuwa abaddewo ‘emirembe n’emirembe’? (Is. 40:28) Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Waliwo abantu abalala bangi abakisanga nga kizibu okukkiriza. Eriku bwe yali ayogera ku Katonda, yagamba nti: “Emyaka gye tegiyinza kumanyika.” (Yob. 36:26) Naye okuba nti tetusobola kutegeera kintu, tekitegeeza nti si kituufu. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tetutegeerera ddala engeri amasannyalaze gye gakolamu, naye ekyo kiba tekitegeeza nti tegaliiyo. Mu ngeri y’emu, ffe abantu tuyinza okuba nga tetutegeera mu bujjuvu eky’okuba nti Yakuwa abaddewo emirembe gyonna era nti ajja kweyongera okubaawo emirembe gyonna. Naye ekyo tekitegeeza nti Yakuwa tabaddeewo mirembe gyonna. Amazima agakwata ku Katonda tegakoma ku ebyo byokka bye tumanyi. (Bar. 11:33-36) Ate era, Yakuwa yaliwo nga n’obwengula nga mw’otwalidde enjuba, tebinnabaawo. Bayibuli egamba nti Yakuwa “ye yakola ensi ng’akozesa amaanyi ge.” Ate era yaliwo nga tannaba ‘kubamba ggulu.’ (Yer. 51:15; Bik. 17:24) Nsonga ki endala etuleetera okuba abakakafu nti tusobola okuba abalamu emirembe gyonna?
TWATONDEBWA KUBA BALAMU EMIREMBE GYONNA
5. Ssuubi ki Adamu ne Kaawa lye baalina?
5 Ng’oggyeeko abantu, ebintu ebirala byonna ebiramu Yakuwa bye yatonda, tebyali bya kubaawo mirembe gyonna. Abantu bokka be yawa essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna. Kyokka Yakuwa yagamba Adamu nti: “Naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Lub. 2:17) Singa Adamu ne Kaawa baagondera Yakuwa, tebandifudde. Tuba batuufu okugamba nti ekiseera kyandituuse Yakuwa n’abakkiriza okulya ku “muti ogw’obulamu.” Era obwo bwandibadde bukakafu obulaga nti bandibadde ‘balamu emirembe gyonna.’b—Lub. 3:22.
6-7. (a) Kiki ekirala ekiraga nti abantu tebaali ba kufa? (b) Biki bye weesunga okukola mu nsi empya? (Laba ebifaananyi.)
6 Bannassaayansi baakizuula nti obwongo bwaffe bulina obusobozi bw’okutereka obubaka bungi nnyo okusinga ebintu byonna bye tusobola okumanya mu kiseera kye tumala nga tuli balamu. Mu 2010, ekitundu ekyafulumira mu magazini eyitibwa Scientific American Mind kyagamba nti obwongo bwaffe bulina obusobozi bw’okutereka obubaka obwenkana programu za ttivi eziyinza okulagibwa okumala essaawa obukadde busatu (emyaka egisukka mu 300). Kyokka, obwongo bwaffe buyinza okuba n’obusobozi bw’okutereka obubaka bungi nnyo n’okusinga obwo. Yakuwa yakola obwongo bwaffe nga bulina obusobozi obw’okutereka obubaka bungi nnyo obusinga obwo bwe tufuna mu myaka 70 oba 80 gyokka gye tumala nga tuli balamu.—Zab. 90:10.
7 Ate era, Yakuwa yatutonda nga twagala okuba abalamu emirembe gyonna. Bayibuli egamba nti Yakuwa yateeka mu ‘mitima gy’abantu ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna.’ (Mub. 3:11) Eyo y’emu ku nsonga lwaki okufa tukutwala ng’omulabe. (1 Kol. 15:26) Ate era, eyo ye nsonga lwaki bwe tulwala tetulinda bulinzi kufa, wabula tubaako kye tukolawo. Tugenda mu ddwaliro ne tufuna obujjanjabi. Mu butuufu tukola kyonna kye tusobola okwewala okufa. Ate era omuntu waffe bw’afa, ka kibe nti omuntu oyo mwana muto oba mukadde, tuwulira ennaku ya maanyi okumala ekiseera. (Yok. 11:32, 33) Omutonzi waffe atwagala ennyo teyanditutonze nga twagala okubaawo emirembe gyonna, singa ekyo si kye yali ayagaliza abantu. Naye tulina ensonga endala ezituleetera okukkiriza nti tusobola okuba abalamu emirembe gyonna. Kati ka tulabe ebimu ku bintu Yakuwa bye yakola mu biseera eby’edda era n’ebyo by’akola mu kiseera kino, ebiraga nti akyayagala tube balamu emirembe gyonna.
Olw’okuba tulina essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna, twagala nnyo okufumiitiriza ku ebyo bye tunaakola mu nsi empya (Laba akatundu 7)c
EKIGENDERERWA KYA YAKUWA TEKIKYUKANGA
8. Ebigambo ebiri mu Isaaya 55:11 bitulaga ki ku kigendererwa Yakuwa ky’alina gye tuli?
8 Wadde nga Adamu ne Kaawa baayonoona ne kiviirako abantu okufa, ekigendererwa Yakuwa kye yalina ng’atonda abantu tekikyukanga. (Soma Isaaya 55:11.) Akyayagala abantu abawulize babe balamu emirembe gyonna. Tusobola okuba abakakafu ku ekyo bwe tulowooza ku ebyo Yakuwa bye yayogera ne by’akoze okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.
9. Kiki Katonda kye yatusuubiza? (Danyeri 12:2, 13)
9 Yakuwa yasuubiza nti ajja kuzuukiza abafu era abawe obulamu obutaggwaawo. (Bik. 24:15; Tit. 1:1, 2) Omuweereza wa Yakuwa ayitibwa Yobu naye yali mukakafu nti Yakuwa ayagala nnyo okuzuukiza abantu abaafa. (Yob. 14:14, 15) Nnabbi Danyeri naye yali akkiriza nti abantu bajja kuzuukizibwa babeere balamu emirembe gyonna. (Zab. 37:29; soma Danyeri 12:2, 13.) Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Yesu nabo baali bakimanyi nti Yakuwa ajja kuzuukiza abaweereza be abeesigwa abawe “obulamu obutaggwaawo.” (Luk. 10:25; 18:18) Emirundi mingi Yesu yayogera ku ssuubi eryo ery’okuzuukira, era ye kennyini kitaawe yamuzuukiza mu bafu.—Mat. 19:29; 22:31, 32; Luk. 18:30; Yok. 11:25.
Nnabbi Eriya okuzuukiza omwana kitukakasa ki? (Laba akatundu 10)
10. Okuzuukira okwaliwo mu biseera eby’edda kulaga ki? (Laba ekifaananyi.)
10 Yakuwa ye yatuwa obulamu, era asobola okuzuukiza abantu abaafa. Yasobozesa nnabbi Eriya okuzuukiza omwana wa nnamwandu w’e Zalefaasi. (1 Bassek. 17:21-23) Oluvannyuma, yasobozesa nnabbi Erisa okuzuukiza omwana w’omukazi Omusunamu. (2 Bassek. 4:18-20, 34-37) Okuzuukira ng’okwo okwaliwo mu biseera eby’edda, kwakakasa nti Yakuwa asobola okuzuukiza abantu abaafa. Yesu bwe yali ku nsi yakiraga nti Kitaawe yamuwa obuyinza okuzuukiza abafu. (Yok. 11:23-25, 43, 44) Kati Yesu ali mu ggulu, era yaweebwa “obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” N’olwekyo, asobola okuzuukiza abo “bonna abali mu ntaana” era ne baba n’essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna.—Mat. 28:18; Yok. 5:25-29.
11. Ekinunulo kitusobozesa kitya okuba abalamu emirembe gyonna?
11 Lwaki Yakuwa yaleka omwana we okufiira mu bulumi obw’amaanyi? Yesu yalaga ensonga bwe yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Katonda bwe yawaayo omwana we okutufiirira, ya tusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Ekyo kyali kikulu nnyo mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. (Mat. 20:28) Omutume Pawulo yagamba nti: “Ng’okufa bwe kwayitira mu muntu, n’okuzuukira kw’abafu nakwo kuyitira mu muntu. Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.”—1 Kol. 15:21, 22.
12. Obwakabaka bwa Katonda bunaasobozesa butya ekigendererwa Yakuwa ky’alina eri abantu okutuukirira?
12 Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje era ne by’ayagala okukolebwa ku nsi. (Mat. 6:9, 10) Abantu okuba abalamu emirembe gyonna ku nsi, kye kimu ku bizingirwa mu kigendererwa kya Katonda. Ekyo okusobola okukituukiriza, Yakuwa yalonda Omwana we okuba Kabaka w’Obwakabaka bwe. Katonda azze alonda abantu 144,000 okuva ku nsi, okukolera awamu ne Yesu okutuukiriza ekigendererwa kye.—Kub. 5:9, 10.
13. Kiki Yakuwa ky’akola kati, era kiki ggwe ky’osaanidde okukola?
13 Mu kiseera kino Yakuwa akuŋŋaanya “ekibiina ekinene” eky’abantu, era abatendeka basobole okubeera mu Bwakabaka bwe. (Kub. 7:9, 10; Yak. 2:8) Wadde ng’abantu bangi leero beeyawuddemu olw’obukyayi n’entalo, ab’ekibiina ekinene bafuba okweggyamu obukyayi n’obusosoze. Mu ngeri ey’akabonero, ebitala byabwe babikolamu enkumbi. (Mi. 4:3) Mu kifo ky’okwenyigira mu ntalo eziviiriddeko abantu bangi nnyo okufa, bayamba abantu okuba n’essuubi ery’okufuna “obulamu obwa nnamaddala” nga babayigiriza ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa bye. (1 Tim. 6:19) Ab’eŋŋanda zaabwe bayinza okubakyawa oba bayinza okufuna ebizibu by’eby’enfuna olw’okuba bawagira Obwakabaka bwa Katonda, naye Yakuwa akakasa nti bafuna ebyo bye beetaaga. (Mat. 6:25, 30-33; Luk. 18:29, 30) Ebyo bitulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwa ddala, era bujja kweyongera okutuukiriza ebyo Yakuwa by’ayagala.
TWESSUNGA EBISEERA EBY’OMU MAASO EBIRUNGI
14-15. Ekisuubizo kya Yakuwa eky’okuggirawo ddala okufa kinaatuukirizibwa kitya?
14 Yesu kati afuga nga Kabaka mu ggulu, era anaatera okutuukiriza ebyo byonna Yakuwa bye yasuubiza. (2 Kol. 1:20) Okuviira ddala mu 1914, Yesu azze awangula abalabe be. (Zab. 110:1, 2) Yesu, awamu n’abo bajja okufuga nabo, banaatera okumaliriza okuwangula kwabwe era bazikirize abantu ababi bonna.—Kub. 6:2.
15 Mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, abafu bajja kuzuukizibwa era abantu abawulize bajja kufuulibwa abatuukiridde. Oluvannyuma lw’ekigezo ekisembayo, abo Yakuwa b’anaatwala okuba abatuukirivu ‘bajja kusikira ensi, era bagibeereko emirembe gyonna.’ (Zab. 37:10, 11, 29) Oluvannyuma, “omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.”—1 Kol. 15:26.
16. Nsonga ki enkulu etuleetera okuweereza Yakuwa?
16 Nga bwe tulabye, essuubi lye tulina ery’okuba abalamu emirembe gyonna lyesigamye ku Kigambo kya Katonda. Essuubi eryo lisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa mu kiseera kino ekizibu eky’ennaku ez’enkomerero. Naye okusobola okusanyusa Yakuwa, tetusaanidde kulowooza bulowooza ku kuba abalamu emirembe gyonna. Ensonga enkulu etuleetera okuba abeesigwa eri Yakuwa ne Yesu eri nti tubaagala nnyo. (2 Kol. 5:14, 15) Okwagala okwo kwe kutuleetera okubakoppa n’okuba abanyiikivu mu kubuulira abalala ebikwata ku ssuubi lye tulina. (Bar. 10:13-15) Bwe tweyongera okufaayo ku balala n’okuba abagabi, tufuuka bantu Yakuwa baayagala okuba mikwano gye emirembe gyonna.—Beb. 13:16.
17. Buvunaanyizibwa ki buli omu ku ffe bw’alina? (Matayo 7:13, 14)
17 Tunaabeera abamu ku abo abanaafuna obulamu obutaggwaawo? Yakuwa awadde buli omu ku ffe akakisa okufuna obulamu obwo. Kati kiri eri buli omu ku ffe okusigala mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. (Soma Matayo 7:13, 14.) Obulamu obutaggwaawo buliba butya? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
OLUYIMBA 141 Obulamu Kyamagero
a Weesunga okuba omulamu emirembe gyonna? Yakuwa yatusuubiza nti ekiseera kijja kutuuka tube nga tubeerawo emirembe gyonna era nga tetweraliikirira nti ekiseera kirituuka ne tufa. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ezimu ku nsonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ekisuubizo kye ekyo.
b Laba akasanduuko, “Ebigambo ‘Emirembe Gyonna’ nga Bwe Bikozesebwa mu Bayibuli.”
c EKIFAANANYI: Ow’oluganda omukulu mu myaka ng’afumiitiriza ku bintu ebimu by’ajja okukola mu nsi empya.