LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp23 Na. 1 lup. 14-15
  • Okuyamba Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyamba Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kye Kitegeeza
  • Engeri Amagezi Gano Gye Gayinza Okuyambamu
  • ‘Ba mugumiikiriza.’ —1 ABASESSALONIKA 5:14.
  • Bw’Omuyamba Kireetawo Enjawulo
  • Onooyamba Otya Mukwano Gwo Omulwadde?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Katonda Akukubiriza Ofuuke Mukwano Gwe
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Olowooza Otya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
wp23 Na. 1 lup. 14-15
Omusajja ng’awuliriza mukyala we omwennyamivu.

Okuyamba Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”—ENGERO 17:17.

Kye Kitegeeza

Tuwulira bubi nnyo singa omuntu gwe twagala aba n’obulwadde obumukosa mu birowoozo. Naye tuyinza okubaako kye tukolawo okumuyamba ng’ayolekagana n’ekizibu ekyo. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Engeri Amagezi Gano Gye Gayinza Okuyambamu

‘Ba mwangu wa kuwuliriza.’—YAKOBO 1:19.

Emu ku ngeri esingayo obulungi gy’oyinza okuyambamu omuntu wo, kwe kumuwuliriza obulungi ng’aliko ky’akugamba. Tokitwala nti buli ky’akugamba olina okubaako ky’oddamu. Leka akirabe nti omuwuliriza bulungi, era nti omufaako. Gezaako okutegeera engeri gye yeewuliramu era weewale okumusalira omusango. Kijjukire nti ayinza okwogera ebintu by’atategeeza era oluvannyuma by’ayinza okwejjusa.—Yobu 6:2, 3.

‘Babudeebude.’ —1 ABASESSALONIKA 5:14.

Omuntu wo ayinza okuba nga yeeraliikirira, oba ayinza okuba nga muli awulira nti talina mugaso. Bw’omukakasa nti omufaako, kisobola okumubudaabuda n’okumuzzaamu amaanyi ne bw’oba nga tomanyi kya kwogera.

“Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna.”—ENGERO 17:17.

Baako ky’okolawo okumuyamba. Mu kifo ky’okulowooza nti omanyi engeri gy’oyinza okumuyambamu, mubuuze ky’oyinza okukola okumuyamba. Bw’aba ng’azibuwalirwa okwogera ekyo kye yeetaaga, gezaako okumubuulira ebintu ebitali bimu by’oyinza okumukolera, gamba ng’okutambulako naye, okumuyambako okugula ebintu, okuyonja, oba ekintu ekirala kyonna.—Abaggalatiya 6:2.

‘Ba mugumiikiriza.’ —1 ABASESSALONIKA 5:14.

Ebiseera ebimu omuntu wo ayinza okuba nga tayagala kwogera. Mukakase nti oli mwetegefu okumuwuliriza, singa anaawulira nti ayagala okubaako ky’ayogera. Olw’obulwadde bwe, ayinza okwogera oba okukola ebintu ebikulumya. Ayinza okusazaamu enteekateeka z’okoze naye, oba ayinza okunyiiga awatali nsonga yonna. Ng’ofuba okumuyamba, ba mugumiikiriza, era gezaako okutegeera embeera ye.—Engero 18:24.

Bw’Omuyamba Kireetawo Enjawulo

“Nfuba okulaba nti tatya kuntuukirira buli lw’aba ayagala okubaako ky’aŋŋamba. Ne bwe kiba nti ekizibu ky’ayolekagana nakyo siyinza kukigonjoola, nfuba okukakasa nti mmuwuliriza bulungi bw’aba ng’aliko ky’aŋŋamba. Oluusi ky’aba yeetaaga kyokka, kwe kumuwuliriza.”—Farrah,a alina mukwano gwe alina obulwadde obumulemesa okulya obulungi era alina n’ekizibu ky’okwekyawa.

Omuwala ng’akutte ku mukono gw’omukazi akaddiye ng’amubudaabuda.

“Omu ku mikwano gyange wa kisa nnyo, era azzaamu abalala amaanyi. Lumu yampita ewuwe okuliirako awamu naye ekijjulo. Nga ndi naye ku kijjulo, nnasobola okumubuulira ebyandi ku mutima n’engeri gye nnali nneewuliramu. Ekyo kyanzizaamu nnyo amaanyi!”—Ha-eun, alina ekizibu ky’okwekyawa.

“Kikulu nnyo okuba omugumiikiriza. Mukyala wange bw’akola ekintu ekyandibadde kinnyiiza, nfuba okukijjukira nti obulwadde bwe bumuleetedde okukola ekyo, so si nti akigenderedde. Ekyo kinnyamba obutanyiiga, era n’okukiraga nti mmufaako.”—Jacob, alina mukyala we alina ekizibu ky’okwekyawa.

“Mukyala wange annyamba nnyo era ambudaabuda. Bwe mba nga nneeraliikirira nnyo, tampaliriza kukola kintu kye mba ssaagala kukola. Oluusi yeewala n’okukola ekintu kye yandyagadde okukola. Mmusiima nnyo olw’omwoyo gw’okwefiiriza gw’ayoleka, n’olw’okunfaako.”—Enrico, alina ekizibu eky’okweraliikirira ennyo.

a Amannya agamu gakyusiddwa.

Ebirala Ebisobola Okukuyamba:

Soma ekitundu ku jw.org ekirina omutwe “When a Loved One Is Sick,” mu Awake! eya Okitobba 2015.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share