EKITUNDU EKY’OKUSOMA 7
Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
“Osoma otya?”—LUK. 10:26.
OLUYIMBA 97 Obulamu Bwaffe Bwesigamye ku Kigambo kya Katonda
OMULAMWAa
1. Kiki ekiraga nti Yesu yatwalanga Ebyawandiikibwa nti bikulu nnyo?
TEEBEREZAAMU nga bwe kyandibadde singa waliwo nga Yesu ayigiriza. Emirundi mingi yajulizanga Ebyawandiikibwa ebitukuvu ng’abiggya mu mutwe. Mu butuufu, mu bigambo bye yasooka okwogera oluvannyuma lw’okubatizibwa ne bye yasembayo okwogera ng’anaatera okufa, yajuliza Ebyawandiikibwa.b (Ma. 8:3; Zab. 31:5; Luk. 4:4; 23:46) Ate era mu myaka esatu n’ekitundu Yesu gye yamala ng’ayigiriza, emirundi mingi yasoma ebyawandiikibwa mu lujjudde, era yabijulizanga n’abinnyonnyola.—Mat. 5:17, 18, 21, 22, 27, 28; Luk. 4:16-20.
Mu bulamu bwe bwonna ku nsi, Yesu yalaga nti ayagala nnyo Ebyawandiikibwa era yabikolerangako (Laba akatundu 2)
2. Yesu bwe yagenda akula, kiki ekyamuyamba okutegeera obulungi Ebyawandiikibwa? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
2 Yesu bwe yali tannatandika buweereza bwe obw’oku nsi, yasomanga Ekigambo kya Katonda era yawuliranga nga kisomebwa enfunda n’enfunda. Bwe yali akyali ne bazadde be, Yusufu ne Maliyamu, ayinza okuba nga yabawuliranga nga boogera ku byawandiikibwa bwe baabanga banyumya.c (Ma. 6:6, 7) Ate era Yesu yagendanga mu kkuŋŋaaniro ku buli Ssabbiiti ne bazadde be era ne baganda be. (Luk. 4:16) Bwe yabanga mu kkuŋŋaaniro, ateekwa okuba nga yawulirizanga n’obwegendereza ng’Ebyawandiikibwa bisomebwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, Yesu yayiga okusoma Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. N’ekyavaamu, Yesu yategeera bulungi Ebyawandiikibwa n’abyagala, era n’abikolerangako mu bulamu bwe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo mu yeekaalu nga Yesu wa myaka 12. Abayigiriza abaali bamanyi obulungi Amateeka ga Musa ‘baamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’okutegeera kwa Yesu, n’olw’ebyo bye yali addamu.’—Luk. 2:46, 47, 52.
3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Naffe tusobola okumanya era n’okwagala Ekigambo kya Katonda singa tukisoma buli lunaku. Kati olwo kiki ekinaatuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli? Waliwo bye tusobola okuyiga mu ebyo Yesu bye yagamba abo abaali bamanyi obulungi Amateeka, omwali abawandiisi, Abafalisaayo, n’Abasaddukaayo. Abakulembeze b’eddiini abo baali bamanyi bulungi Ebyawandiikibwa, naye tebaaganyulwa mu ebyo bye baasomanga. Yesu yayogera ku bintu bisatu ebyali biremesa abasajja abo okuganyulwa mu Byawandiikibwa. Ebyo bye yabagamba bijja kutuyamba (1) okutegeera ebyo bye tusoma, (2) okufunamu eby’okuyiga, (3) n’okukolera ku ebyo bye tuba tuyize.
BA N’EKIGENDERERWA EKY’OKUTEGEERA BY’OSOMA
4. Ebyo ebiri mu Lukka 10:25-29, bituyigiriza ki ku kusoma Ekigambo kya Katonda?
4 Twagala okutegeera ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda. Bwe tutakola tutyo, tuba tetujja kuganyulwa mu ebyo bye tusoma. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo Yesu bye yagamba omusajja “eyali omukenkufu mu Mateeka.” (Soma Lukka 10:25-29.) Omusajja oyo bwe yabuuza Yesu kye yalina okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, Yesu yamuddamu nti: “Amateeka gagamba ki? Osoma otya?” Omusajja oyo yaddamu bulungi ng’ajuliza ebyawandiikibwa ebyogera ku kwagala Katonda ne ku kwagala muliraanwa. (Leev. 19:18; Ma. 6:5) Naye weetegereze kye yazzaako. Yagamba nti: “Muliraanwa wange y’ani?” Bwe kityo omusajja oyo yalaga nti yali tategeera bulungi ebyo bye yali asoma. Era ekyo kiraga nti yali tamanyi bulungi ngeri ya kukolera ku byawandiikibwa ebyo mu bulamu bwe.
Soma ng’olina ekigendererwa eky’okutegeera by’osoma
5. Okusaba n’okusoma Bayibuli nga tetwanguyiriza, bisobola bitya okutuyamba okutegeera ebyo bye tusoma?
5 Tusobola okutegeera obulungi ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda, nga tukisoma mu ngeri entuufu. Ka tulabe ebimu ku ebyo ebisobola okutuyamba. Saba Yakuwa nga tonnatandika kusoma Bayibuli. Twetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusobola okutegeera Ebyawandiikibwa. N’olwekyo kikulu okumusaba akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okussaayo omwoyo ku by’osoma. Oluvannyuma soma nga toyanguyiriza. Ekyo kijja kukuyamba okutegeera ebyo by’osoma. Ate era osobola okuganyulwa singa osoma Bayibuli mu ddoboozi eriwulikika, oba okuwuliriza Bayibuli eyakwatibwa ku katambi, ng’eno bw’ogoberera mu Bayibuli yo. Ekyo kijja kukuyamba okussaayo omwoyo ku ebyo by’osoma mu Kigambo kya Katonda, era n’okubitegeera obulungi. (Yos. 1:8) Bw’omala okusoma, saba Yakuwa omwebaze olw’okutuwa Ekigambo kye era omusabe akuyambe okukolera ku ebyo by’osomye.
Lwaki okubaako by’owandiika kisobola okukuyamba okutegeera by’osoma era n’okubijjukira? (Laba akatundu 6)
6. Okubaako by’owandiika ng’osoma Bayibuli n’okwebuuza ebibuuzo kiyinza kukuyamba kitya? (Laba n’ekifaananyi.)
6 Ka tulabe ebintu ebirala bibiri ebisobola okukuyamba okutegeera obulungi ebyo by’osoma mu Bayibuli. Baako ebibuuzo bye weebuuza ku ebyo by’osoma. Bw’oba ng’olina by’osoma mu Bayibuli, weebuuze: ‘Baani abasinga okwogerwako? Ani ayogera? Ayogera n’ani, era lwaki? Ebyo bye nsomako byali ludda wa, era byaliwo ddi?’ Ebibuuzo ng’ebyo bijja kukuyamba okulowooza ku ebyo by’osoma era n’okuggyamu ensonga enkulu. Ate era bw’oba osoma, baako ebintu ebitonotono by’owandiika. Bw’obaako by’owandiika, kikuyamba okweyongera okulowooza ku ebyo by’osoma era n’okubitegeera. Ate era okuwandiika kukuyamba okujjukira ebyo by’oba osomye. Osobola okuwandiika ebibuuzo bye weebuuza, ebyo by’ozudde mu kunoonyereza, ensonga enkulu, era n’engeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’osomye. Oba oyinza okuwandiika ku ngeri ebyo by’osomye gye bikukutteko. Bw’onookola bw’otyo, ojja kukiraba nti ebyo by’osomye mu Kigambo kya Katonda bikukwatako kinnoomu.
7. Ngeri ki gye twetaaga okuba nayo bwe tuba ab’okuganyulwa mu kusoma Bayibuli, era lwaki? (Matayo 24:15)
7 Yesu yayogera ku kintu ekikulu kye twetaaga okuba nakyo bwe tuba ab’okufuna amakulu mu ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda, nga kwe kutegeera. (Soma Matayo 24:15.) Okutegeera kye ki? Bwe busobozi bw’okulaba engeri ekintu ekimu gye kikwataganamu n’ekirala, n’engeri gye kyawukanamu nakyo, era n’okufuna amakulu mu kintu ekitalambuluddwa bulungi. Ate era, nga Yesu bwe yagamba, twetaaga okuba n’okutegeera okusobola okulaba ebintu ebituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli. Twetaaga okuba n’engeri eyo okusobola okuganyulwa mu ebyo bye tusoma mu Bayibuli.
8. Kiki ekinaatuyamba okutegeera ebyo bye tusoma mu Bayibuli?
8 Yakuwa ayamba abaweereza be okuba n’okutegeera. N’olwekyo, musabe akuyambe okukulaakulanya engeri eyo. (Nge. 2:6) Oyinza otya okukolera ku kusaba kwo? Fumiitiriza ku ebyo by’osoma olabe engeri gye bikwataganamu n’ebintu ebirala by’omanyi. Ate era osobola okunoonyereza mu bitabo byaffe, gamba ng’Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Ebitabo ng’ebyo bisobola okukuyamba okutegeera amakulu g’ebyawandiikibwa by’osoma, era n’engeri gy’oyinza okubikolerako mu bulamu bwo. (Beb. 5:14) Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okutegeera ebyo by’osoma mu Byawandiikibwa.
BA N’EKIGENDERERWA EKY’OKUBAAKO BY’OYIGA
9. Mazima ki ag’omuwendo Abasaddukaayo ge baali batategedde?
9 Abasaddukaayo baali bamanyi bulungi ebiri mu bitabo ebitaano ebisooka eby’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, naye baali tebategeera mazima ag’omuwendo agali mu bitabo ebyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yesu gye yaddamu, Abasaddukaayo bwe baamubuuza ebikwata ku kuzuukira. Yabagamba nti: “Temusomangako mu kitabo kya Musa ng’ayogera ku byaliwo ku kisaka, Katonda bwe yamugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo’?” (Mak. 12:18, 26) Wadde ng’Abasaddukaayo bayinza okuba nga baali basomye ekyawandiikibwa ekyo emirundi mingi, ekibuuzo Yesu kye yababuuza kyalaga nti baali tebategedde mazima ag’omuwendo ennyo agali mu kyawandiikibwa ekyo agakwata ku kuzuukira.—Mak. 12:27; Luk. 20:38.d
10. Kiki kye tusaanidde okussaako omwoyo bwe tuba tusoma Bayibuli?
10 Ekyo kituyigiriza ki? Bwe tuba tusoma ekyawandiikibwa, tusaanidde okulowooza ku bintu eby’enjawulo bye tusobola okuyiga mu kyawandiikibwa ekyo. Tetusaanidde kukoma ku bintu ebyangu okutegeera, wabula tusaanidde okufuba okuzuula amazima amalala ag’omuwendo awamu n’emisingi ebiri mu kyawandiikibwa ekyo. Biri ng’eky’obugagga ekyakwekebwa ekitali kyangu kuzuula.
11. Okusinziira ku 2 Timoseewo 3:16, 17, kiki ekinaatuyamba okubaako bye tuyiga mu ebyo bye tusoma mu Bayibuli?
11 Bw’oba osoma Bayibuli, kiki ekinaakuyamba okufunamu eby’okuyiga? Lowooza ku ebyo ebiri mu 2 Timoseewo 3:16, 17. (Soma.) Ennyiriri ezo zigamba nti “buli Kyawandiikibwa . . . kigasa” (1) mu kuyigiriza, (2) mu kunenya, (3) mu kutereeza ebintu, ne (4) mu kukangavvula. Osobola okufuna emiganyulo egyo egy’emirundi ena, ne mu bitabo bya Bayibuli by’otatera kusoma. Lowooza ku ebyo by’osoma olabe kye bikuyigiriza ku Yakuwa ne ku kigendererwa kye, oba ofunemu emisingi gy’osobola okukolerako mu bulamu bwo. Lowooza ku ngeri ekyawandiikibwa ky’osomye gye kiri eky’omugaso mu kunenya. Ekyo osobola okukikola ng’olwooza ku ngeri ekyawandiikibwa ekyo gye kikuyamba okulaba endowooza enkyamu gy’oyinza okuba nayo, era n’engeri gy’oyinza okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okukozesa ekyawandiikibwa ky’osomye okutereeza endowooza enkyamu oboolyawo omuntu gwe wabuulira gye yalina. Ate era lowooza ku kukangavvula okuli mu kyawandiikibwa ky’osomye, olabe engeri gye kisobola okukuyamba okutereeza endowooza yo esobole okutuukana n’eya Yakuwa. Bw’olowooza ku bintu ebyo ebina ng’osoma Bayibuli, ojja kufunamu eby’okuyiga ebijja okukuganyula ennyo.
BA N’EKIGENDERERWA EKY’OKUKOLERA KU EBYO BY’OYIGA
12. Lwaki Yesu yabuuza Abafalisaayo nti, “Temusomangako?”
12 Yesu era yabuuza Abafalisaayo nti, “Temusomangako?” okulaga nti baalina endowooza enkyamu ku ebyo bye baali basoma mu Byawandiikibwa. (Mat. 12:1-7)e Ku lunaku olwo Abafalisaayo baagamba nti abayigirizwa ba Yesu baali bamenye etteeka lya Ssabbiiti. Mu kubaddamu, Yesu yakozesa ebyokulabirako bibiri ebiri mu Byawandiikibwa era n’ajuliza olunyiriri oluli mu kitabo kya Koseya, okulaga nti Abafalisaayo abo baali tebategeera nsonga lwaki etteeka lya Ssabbiiti lyassibwawo era nti baali balemereddwa okulaga ekisa. Lwaki Abafalisaayo abo baali tebakolera ku Byawandiikibwa, wadde nga baabisomanga? Kubanga Ebyawandiikibwa baabisomanga nga balina endowooza enkyamu era baalina amalala. Ekyo kyabalemesa okutegeera ebyo bye baabanga basomye.—Mat. 23:23; Yok. 5:39, 40.
13. Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo nga tusoma Bayibuli, era lwaki?
13 Ebyo Yesu bye yagamba Abafalisaayo bituyigiriza nti kirungi okusoma Ekigambo kya Katonda nga tulina endowooza ennuŋŋamu. Obutafaananako Bafalisaayo, tusaanidde okuba abantu abawombeefu era abeetegefu okuyiga. Tusaanidde ‘okukkiriza mu bukkakkamu okusigibwamu ekigambo.’ (Yak. 1:21) Bwe tuba abawombeefu, Ekigambo kya Katonda kijja kutuyamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe. Ate era bwe twewala okuba ab’amalala, kijja kutuyamba okukolera ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli; tujja kuba bantu ba kisa, abasaasizi, era abalina okwagala.
Tusobola tutya okumanya obanga tukolera ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda? (Laba akatundu 14)f
14. Tuyinza tutya okumanya obanga tukolera ku ebyo bye tuyiga mu Bayibuli? (Laba n’ekifaananyi.)
14 Engeri gye tuyisaamu abalala eraga obanga tukolera ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda. Olw’okuba Abafalisaayo tebaaleka Kigambo kya Katonda kutereeza ndowooza yaabwe, ‘baanenyanga abatalina musango.’ (Mat. 12:7) Naffe engeri gye tutwalamu abalala era n’engeri gye tubayisaamu, eraga obanga tukolera ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda. Okugeza, tutera okwogera ku birungi bye tulaba mu balala, oba tutera kwogera ku nsobi zaabwe? Tuli ba kisa era tuli beetegefu okusonyiwa abalala, oba tunoonya ensobi mu balala era tubasibira ekiruyi? Bwe twebuuza ebibuuzo ng’ebyo, kituyamba okulaba obanga tuleka ebyo bye tusoma okutereeza endowooza yaffe era n’okutuyamba okweyisa obulungi.—1 Tim. 4:12, 15; Beb. 4:12.
OKUSOMA BAYIBULI KITUYAMBA OKUBA ABASANYUFU
15. Yesu yali atwala atya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu?
15 Yesu yali ayagala nnyo Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, era engeri gye yali abitwalamu eragibwa bulungi mu bigambo eby’obunnabbi ebiri mu Zabbuli 40:8, awagamba nti: “Ai Katonda wange, nsanyukira okukola by’oyagala, era amateeka go gali munda mu nze.” Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Ebyawandiikibwa, kyamuyamba okuweereza Yakuwa nga musanyufu era n’okutuukiriza obulungi obuweereza bwe. Naffe tusobola okuba abasanyufu era n’okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe, singa tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukikolerako.—Zab. 1:1-3.
16. Biki ebinaatuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Ekigambo kya Katonda? (Laba akasanduuko, “Ebigambo bya Yesu Bisobola Okukuyamba Okutegeera by’Osoma.”)
16 Nga tukolera ku ebyo Yesu bye yayogera era nga tugoberera ekyokulabirako kye, ka tweyongere okulongoosa mu ngeri gye tusomamu Bayibuli. Tusobola okutegeera obulungi ebyo bye tusoma mu Bayibuli, nga tusooka kusaba nga tetunnagisoma, nga tusoma mpolampola, nga twebuuza ebibuuzo, era nga tubaako ebitonotono bye tuwandiika. Tusobola okukozesa ebitabo byaffe okunoonyereza ku ebyo bye tuba tusoma, tusobole okubitegeera obulungi. Tusobola okutegeera obulungi ebyawandiikibwa, nga mw’otwalidde n’ebyo bye tutatera kusoma, nga tulowooza ku by’okuyiga ebitalabikirawo ebiri mu byawandiikibwa ebyo. Ate era tusaanidde okusoma Ekigambo kya Katonda nga tulina endowooza ennuŋŋamu, era nga tulina ekigendererwa eky’okukolera ku ebyo bye tuyiga. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli era enkolagana yaffe ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera.—Zab. 119:17, 18; Yak. 4:8.
OLUYIMBA 95 Ekitangaala Kyeyongera
a Ffenna abasinza Yakuwa tufuba okusoma Ekigambo kye buli lunaku. Waliwo n’abantu abalala bangi abasoma Bayibuli. Kyokka, tebategeera bulungi ebyo bye basoma. Bwe kityo bwe kyali ne ku bantu abamu abaaliwo mu kiseera kya Yesu. Bwe tuneekenneenya ebyo Yesu bye yagamba abo abaali basoma Ekigambo kya Katonda, tujja kubaako bye tuyiga ebinaatuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli.
b Yesu bwe yali yaakamala okubatizibwa era n’okufukibwako omwoyo omutukuvu, kirabika Katonda yamujjukiza obulamu bwe yalimu mu ggulu nga tannajja ku nsi.—Mat. 3:16.
c Maliyamu yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa era yabijulizanga. (Luk. 1:46-55) Yusufu ne Maliyamu bayinza okuba nga baali tebasobola kwegulira mizingo gy’Ebyawandiikibwa. Bateekwa okuba nga baawulirizanga n’obwegendereza ng’Ebyawandiikibwa bisomebwa mu kkuŋŋaaniro basobole okubijjukira oluvannyuma.
d Laba ekitundu ekirina omutwe, “Semberera Katonda—Ye ‘Katonda w’Abalamu’” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 1, 2013.
e Laba ne Matayo 19:4-6, Yesu we yabuuliza Abafalisaayo ekibuuzo kye kimu nti: “Temusomangako?” Wadde nga baasomanga ku bikwata ku kutondebwa kw’ebintu, baali tebaategeera ndowooza Katonda gy’alina ku bufumbo.
f EKIFAANANYI: Ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso mu Kizimbe ky’Obwakabaka, omu ku b’oluganda abakola ku vidiyo n’amaloboozi akola ensobi ezitali zimu. Kyokka oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, ab’oluganda bamusiima olw’ebyo by’akoze obulungi, mu kifo ky’okussa essira ku nsobi z’akoze.