EBYAFAAYO
Ndabye Abantu ba Yakuwa Abalina Okukkiriza okw’Amaanyi
OBOOLYAWO olina ebintu by’ojjukira bye wanyumyako ne mukwano gwo, ebyali ebikulu ennyo gy’oli. Waliwo ekintu kye nnanyumyako ne mukwano gwange emyaka 50 emabega bwe twali twota omuliro e Kenya, kye nkyajjukira n’okutuusa leero. Twali tutindizze olugendo luwanvu okumala emyezi egiwera era nga tukooye nnyo. Ku olwo twali tunyumya ku firimu emu eyali ekwata ku by’eddiini. Bwe twali tunyumya, mukwano gwange yagamba nti: “Ebiri mu firimu eyo tebikwatagana na Bayibuli.”
Nnaseka, kubanga nnali sirowooza nti mukwano gwange oyo yali alina ekintu kyonna kye yali amanyi ku by’eddiini. Nnamubuuza nti: “Kiki ky’omanyi ku Bayibuli?” Teyanziramu amangu ago, naye oluvannyuma yambuulira nti maama we yali Mujulirwa wa Yakuwa, era nti waliwo maama we bye yali amuyigirizza ebikwata ku Bayibuli. Bwentyo nnamusaba ambuulire ebisingawo.
Ekiro ekyo twanyumya okumala ekiseera kiwanvu. Mukwano gwange oyo yaŋŋamba nti Bayibuli eraga nti Sitaani ye mufuzi w’ensi. (Yok. 14:30) Oboolyawo ekyo si kipya gy’oli, naye nze nnali sikiwulirangako era kyanneewuunyisa nnyo. Nnakula nkimanyi nti Katonda ow’ekisa era omwenkanya y’afuga ensi. Naye ekyo kyali tekikwatagana n’ebyo bye nnali ndaba ebyali bigenda mu maaso mu nsi. Wadde nga nnalina emyaka 26 gyokka, nnali ndabye ebintu bingi ebyali binneeraliikiriza.
Taata wange yali mugoba w’ennyonyi mu ggye ly’Amerika ery’omu bbanga. Bwe nnali nkyali muto, nnali nkiraba nti olutalo lw’eby’okulwanyisa ebya nukiriya lwali lusobola okubalukawo ekiseera kyonna, era nti amagye gaali meetegefu okukozesa eby’okulwanyisa ebyo. We nnabeerera mu kolegi mu California, olutalo lw’e Vietnam lwali lugenda mu maaso. Lumu bwe nneegatta ku bayizi abaali beekalakaasa, abasirikale ba poliisi baatugoba nga bakutte emiggo, era baatukuba omukka mungi nnyo ogubalagala nga tetusobola na kulaba bulungi. Kyali kiseera kya katabanguko. Bannabyabufuzi bangi battibwanga era abantu bangi beekalakaasanga nga bawakanya ebyali bigenda mu maaso. Buli omu yalina endowooza ya njawulo ku kyali kirina okukolebwa okusobola okutereeza embeera, era abantu abasinga obungi baali basobeddwa.
Okuva e London okutuuka mu Afirika
Mu 1970, nnafuna omulimu mu Alaska era ne nkola ssente nnyingi nnyo. Oluvannyuma nnagenda e London ne ngula pikipiki, ne ngivuga nga nzira e bukiikaddyo, kyokka nga sirina kifo kyonna kye nteeseteese kugendamu. Bwe nnali mu kkubo nga ŋŋenda, nnina abantu be nnasisinkana nga nabo baagala okufuna yonna gye balaga basobole okudduka ebizibu ebingi bye baalimu.
Olw’ebyo bye nnali ndabye ne bye nnali mpulidde, enjigiriza ya Bayibuli egamba nti waliwo ekitonde eky’omwoyo ekibi ekiri emabega w’ebintu byonna ebibi ebikolebwa mu nsi, yakola amakulu gye ndi. Naye nneebuuzanga nti, Bwe kiba nti Katonda si y’afuga ensi, kati olwo kiki ky’akola?
Mu myezi egyaddirira, nnafuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Ate era oluvannyuma lw’ekiseera, nnasisinkana abasajja n’abakazi abasobodde okusigala nga beesigwa eri Katonda mu mbeera ez’enjawulo.
NORTHERN IRELAND—“ENSI YA BBOMU N’AMASASI”
Bwe nnaddayo e London, nnagenda eri maama wa mukwano gwange n’ampa Bayibuli. Oluvannyuma bwe nnagenda mu kibuga Amsterdam, waliwo omwami omu Omujulirwa wa Yakuwa eyansanga mu budde obw’ekiro nga nsomera Bayibuli ku mataala g’oku nguudo, era n’annyamba okumanya ebisingawo. Nga wayise ekiseera, nnasengukira mu kibuga Dublin, ekya Ireland, era lumu ne ŋŋenda ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa. Eyo gye nnasanga ow’oluganda Arthur Matthews, eyalina obumanyirivu mu kuyigiriza. Nnamusaba atandike okunjigiriza Bayibuli era n’akkiriza.
Nnali munyiikivu nnyo mu kuyiga kwange, era nnasomanga magazini n’ebitabo ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Ate era nnasomanga Bayibuli yennyini, era nnanyumirwanga nnyo bye nnali njiga. Bwe nnagendanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina, nnakiraba nti n’abaana abato baali bamanyi eby’okuddamu mu bibuuzo n’abantu abayivu bye bamaze emyaka mingi nga beebuuza, gamba nga bino: ‘Lwaki waliwo ebintu ebibi? Katonda y’ani? Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?’ Mikwano gyange bonna baali Bajulirwa ba Yakuwa. Kyannyanguyira nnyo okubafuula mikwano gyange, kubanga tewali muntu mulala yenna gwe nnali mmanyi mu nsi eyo. Bannyamba okwagala Yakuwa era n’okwagala okukola by’ayagala.
Nga ndi wamu ne Nigel era ne Denis
Nnabatizibwa mu 1972. Oluvannyuma lw’omwaka gumu, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo era ne ŋŋenda okuweerereza mu kibuga Newry, eky’omu Northern Ireland. Nnapangisa ennyumba eyali ku lusozi. Waliwo ente ezaaliiranga okumpi awo, era nneegezangamu okuwa emboozi ya bonna nga nnyimiridde mu maaso g’ente ezo. Zaalabikanga ng’ezissizzaayo omwoyo ku mboozi yange nga bwe zizza obw’enkulumu. Zaali tezisobola kwogera nange, naye zannyamba okuyiga okuwa emboozi nga ntunuulidde abawuliriza. Mu 1974, nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo, oluvannyuma ne nneegattibwako Ow’oluganda Nigel Pitt, era twali ba mukwano nnyo.
Mu kiseera ekyo waaliwo obutabanguko bungi nnyo mu Northern Ireland. Abamu Northern Ireland baatuuka n’okugiyita “ensi ya bbomu n’amasasi.” Abantu okulwanagana ku nguudo, abantu okukubibwa amasasi, n’okutega bbomu mu mmotoka byali bicaase nnyo. Obutabanguko obwo bwali buva ku bya bufuzi na bya ddiini. Kyokka abantu bonna, nga mw’otwalidde Abapolotesitanti n’Abakatuliki, baali bakimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi era twabuuliranga nga tewali atukuba ku mukono. Abantu be twabuuliranga bwe baamanyanga ekitundu ekyali kigenda okubaamu obutabanguko, baatulabulanga ne tutagenda mu kitundu ekyo.
Naye era oluusi twesanganga mu mitawaana. Lumu nnali n’Ow’oluganda Denis Carrigan, naye eyali aweereza nga payoniya, nga tubuulira mu kabuga akamu akataalimu Mujulirwa wa Yakuwa n’omu era nga twali tubaddeko mu kabuga ako omulundi gumu gwokka. Waliwo omukazi eyatulumiriza nti twali bamu ku basirikale ba Bungereza era nti twali bambega. Oboolyawo ekyo yakyogera olw’okuba twali tetutereeza bulungi lulimi lwa mu nsi eyo. Twatya nnyo! Mu kiseera ekyo, abantu okumanya obumanya nti okolagana n’abasirikale kyali kiyinza okukuviirako okuttibwa oba okukubibwa essasi mu vviivi. Bwe twali wabweru mu bunnyogovu nga tulinze bbaasi, twalaba emmotoka ng’ekyama mu kifo omukazi eyali ayogedde naffe we yali. Omukazi oyo yajja n’ayogera n’abasajja abaali mu mmotoka eyo nga bw’atusongako. Abasajja abo baavuga mpolampola ne bajja we twali, era ne babaako ebibuuzo bye batubuuza ebyali bikwata ku ntambula ya bbaasi gye twali tulinze. Bbaasi bwe yatuuka, baayogera n’omugoba waayo naye nga tetuwulira bye boogera. Bbaasi teyaliimu basaabaze balala. Bwe tutyo twalowooza nti baali bateesa kututwala batuttire wabweru w’akabuga ako. Naye ekyo si kye kyaliwo. Bwe twali tufuluma mu bbaasi, nnabuuza omugoba waayo nti: “Abasajja abo baabadde boogera ku ffe?” Yanziramu nti: “Nnabagambye nti nze mbamanyi. Temutya. Tewali kikyamu kyonna kijja kubatuukako.”
Ku lunaku lw’embaga yaffe, Maaki 1977
Bwe twali ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga Dublin, mu 1976, nnasisinkana Mwannyinaffe Pauline Lomax, eyali avudde e Bungereza era nga naye yali aweereza nga payoniya ow’enjawulo. Yali ayagala nnyo okuweereza Yakuwa, nga muwombeefu, era ng’alabika bulungi nnyo. Ye ne mwannyina ayitibwa Ray, baakulira mu mazima. Oluvannyuma lw’omwaka gumu, nze ne Pauline twafumbiriganwa era ne tweyongera okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo e Ballymena, mu Northern Ireland.
Nnaweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina okumala ekiseera, era twakyaliranga ebibiina eby’omu kibuga Belfast, Londonderry, ne mu bibuga ebirala ebyalimu ennyo obutabanguko. Twakwatibwako nnyo olw’okukkiriza baganda baffe ne bannyinaffe kwe baayoleka ne baleka enjigiriza z’amadiini ezaali zaasimba amakanda, obusosoze, n’obukyayi, ne basalawo okuweereza Yakuwa. Yakuwa yabawa emikisa mingi era yabakuuma!
Nnabeera mu Ireland okumala emyaka kkumi. Oluvannyuma mu 1981, twayitibwa mu ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogw’ensanvu mu ebbiri. Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu Gireyaadi, twasindikibwa mu Sierra Leone, mu bugwanjuba bwa Afirika.
SIERRA LEONE—BAALINA OKUKKIRIZA OKW’AMAANYI WADDE NGA BAALI BAAVU NNYO
Mu Sierra Leone twabeeranga mu maka g’abaminsani, wamu n’ab’oluganda ne bannyinaffe abalala 11. Ffenna twakozesanga effumbiro limu, kaabuyonjo ssatu, ebinaabiro bibiri, ekyuma ekyoza engoye kimu, n’ekyuma kimu ekizikaza. Amasannyalaze gaavangako nnyo, era emmese n’emisota byayingiranga mu nnyumba.
Nga tusomoka omugga okugenda ku lukuŋŋaana olunene mu Guinea
Wadde ng’embeera gye twalimu teyali nnungi nnyo, twanyumirwanga nnyo obuweereza. Abantu baali baagala nnyo Bayibuli era bassangayo omwoyo nga tubabuulira. Bangi bakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli era ne bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Abantu b’omu kitundu bampitanga “Mwami Robert.” Ate ye Pauline baamuyitanga “Mukyala Robert.” Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, emirimu bwe gyeyongera ku ofiisi y’ettabi ne mba nga sikyagenda nnyo mu kubuulira, Pauline baatandika okumuyita “Mukyala Pauline.” Ate nze bampitanga “Mwami Pauline.” Ekyo kyasanyusanga nnyo mukyala wange, Pauline!
Nga tugenda okubuulira mu Sierra Leone
Ab’oluganda ne bannyinaffe abasinga obungi baali baavu nnyo, naye Yakuwa yabalabiriranga, era ebiseera ebimu yakikolanga mu ngeri eyeewuunyisa. (Mat. 6:33) Nzijukira waaliwo mwannyinaffe eyalina ssente ezimumala okugula emmere ye n’ey’abaana be ya lunaku lumu lwokka, kyokka ssente ezo zonna yaziwa ow’oluganda ataalina ssente za kugula ddagala lya musujja. Oluvannyuma ku lunaku olwo, waliwo omukyala eyagenda ewa mwannyinaffe n’amuwa ssente amusibe enviiri. Mwannyinaffe yali tasuubira mukyala oyo. Embeera ng’ezo zaaliwo emirundi mingi.
NIGERIA—OKUYIGA OBUWANGWA OBUPYA
Mu Sierra Leone twamalayo emyaka mwenda ne tusindikibwa ku Beseri y’e Nigeria. Kati twali ku Beseri ennene. Nnali nkola emirimu gye gimu egy’omu ofiisi, nga gye nnakolanga mu Sierra Leone. Naye eyo yali nkyukakyuka ya maanyi eri mukyala wange Pauline, era embeera teyamwanguyira mu kusooka. Mu Sierra Leone yali amala essaawa 130 buli mwezi ng’abuulira, era yalina abayizi ba Bayibuli abakulaakulana. Naye kati yali aweereddwa gwa kutunga ngoye. Kyamutwalira ekiseera okumanyiira embeera, naye yakiraba nti abalala baali basiima nnyo omulimu gwe yali akola. Era yakozesanga akakisa konna ke yafunanga okuzzaamu Ababeseri banne amaanyi.
Obuwangwa bw’abantu b’omu Nigeria bwali bupya gye tuli, era twalina bingi eby’okuyiga. Lumu ow’oluganda omu yajja okunnyanjulira mwannyinaffe eyali omupya ku Beseri. Bwe nnali ŋŋenda okukwata mwannyinaffe oyo mu ngalo mmubuuze, yavunnama wansi okumpi n’ebigere byange. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo! Amangu ago nnajjukira ebyawandiikibwa bibiri: Ebikolwa 10:25, 26 ne Okubikkulirwa 19:10. Nneebuuza nti, ‘Mmugaane okunvunnamira?’ Naye mu kiseera kye kimu ne nzijukira nti yali akkiriziddwa okuweereza ku Beseri. N’olwekyo, ateekwa okuba nga yali amanyi Bayibuli ky’egamba ku nsonga eyo.
Nnawulira obuswavu ekiseera kyonna kye nnamala nga njogera ne mwannyinaffe oyo, naye oluvannyuma nnakola okunoonyereza. Nnakizuula nti mwannyinaffe oyo yali agoberera empisa ezaali zikyagobererwa mu bitundu ebimu eby’eggwanga eryo. Abasajja nabo baavunnamanga nga balamusa abalala. Okwo tekwali kusinza nga bwe nnali ndowooza, wabula ekyo baakikolanga okulaga nti bawa abalala ekitiibwa. Waliwo n’abantu aboogerwako mu Bayibuli abaakola bwe batyo. (1 Sam. 24:8) Nnali musanyufu nti saayogera kintu kyonna ekyandiswazizza mwannyinaffe oyo.
Twasisinkana ab’oluganda ne bannyinaffe bangi mu Nigeria abaali boolese okukkiriza okumala emyaka mingi. Omu ku bo ye wʼOluganda Isaiah Adagbona.a Yayiga amazima ng’akyali muvubuka, naye oluvannyuma n’akwatibwa obulwadde bw’ebigenge. Wadde nga yayigganyizibwa nnyo, yayamba abagenge abasukka mu 30 okuyiga amazima, era yatandikawo ekibiina mu kifo we bajjanjabiranga abagenge.
KENYA—AB’OLUGANDA BAALI BAGUMIIKIRIZA NNYO GYE NDI
Nga ŋŋenze okulaba enkula ento mu Kenya
Mu 1996 twasindikibwa okuweerereza ku ttabi ly’e Kenya. Ogwo gwe mulundi ogwasooka okuddamu okugenda mu nsi eyo, okuva lwe nnagendayo nga bwe nnayogedde ku ntandikwa. Twabeeranga ku Beseri. Waaliwo enkima nnyingi ezajjanga ku Beseri. Zaabuukiranga bannyinaffe ne zibanyagako ebibala bye baabanga basitudde. Lumu mwannyinaffe eyali aweereza ku Beseri yaleka eddirisa lye nga liggule. Bwe yakomawo, yasanga enkima ziyingidde mu nnyumba nga zirya emmere gye yali aleseemu. Mwannyinaffe oyo yeekanga nnyo n’aleekaana era n’adduka wabweru. Enkima zaafuluma mu nnyumba nga ziyita mu ddirisa ne zidduka.
Nze ne Pauline twegatta ku kibiina ky’Oluswayiri. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okukubirizanga Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina (kati okuyitibwa Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina). Kyokka Oluswayiri nnali nduyiga buyizi. Nnategekanga nga bukyali, era ekyo kyansobozesanga okusomera abawuliriza ebibuuzo. Naye ebyo ebyaddibwangamu mu nkuŋŋaana bwe byayawukanangamu akatono ku ebyo ebyabanga biwandiikiddwa mu kitabo, saabitegeeranga. Nnali nkiraba nti ab’oluganda tebaanyumirwanga nkuŋŋaana. Kyokka baayoleka obugumiikiriza n’obuwombeefu ne bakkiriza enteekateeka eyo, era ekyo kyankwatako nnyo.
AMERIKA—OKUBA OBULUNGI MU BYENFUNA TEKYABALEMESA KUBA NA KUKKIRIZA
E Kenya tetwamalayo mwaka. Mu 1997, twasindikibwa okuweerereza mu Beseri y’omu Brooklyn, New York. Kati twali mu nsi eyali obulungi mu by’enfuna, era ng’ekyo nakyo kirimu okusoomooza. (Nge. 30:8, 9) Naye ne mu nsi ng’ezo, baganda baffe ne bannyinaffe booleka okukkiriza okw’amaanyi. Tebakozesa biseera byabwe n’ebintu byabwe kwegaggawaza, wabula babikozesa kuwagira mulimu ogukolebwa ekibiina kya Yakuwa.
Okumala emyaka mingi, tulabye baganda baffe ne bannyinaffe abooleka okukkiriza okw’amaanyi wadde nga bali mu mbeera za njawulo. Mu Ireland, baayoleka okukkiriza okw’amaanyi wadde ng’ensi yaabwe yalimu obutabanguko. Mu Afirika, baayoleka okukkiriza wadde nga baali baavu nnyo. Ate mu Amerika, baayoleka okukkiriza wadde nga baali bulungi mu by’enfuna. Yakuwa ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo bw’alaba okwagala abaweereza be kwe bamulaga mu mbeera zonna!
Nga ndi wamu ne Pauline ku Beseri y’e Warwick
Emyaka gidduse mangu nnyo “n’okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye.” (Yob. 7:6) Kati tuweerereza ku kitebe ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekikulu mu nsi yonna e Warwick, mu New York, era tuli basanyufu nnyo okweyongera okuweerereza awamu n’abantu abaagalana ennyo. Tuwulira nga tuli bamativu, era tuli basanyufu nnyo okuwagira Kabaka waffe Kristo Yesu, anaatera okuwa empeera abagoberezi be bonna abeesigwa.—Mat. 25:34.
a Laba ebyafaayo bya Isaiah Adagbona mu Watchtower eya Apuli 1, 1998, lup. 22-27. Yafa mu 2010.