LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w23 Jjuuni lup. 20-25
  • Weeyongere Okuganyulwa mu Kutya Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeyongere Okuganyulwa mu Kutya Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUTYA KATONDA KITUKUUMA
  • TOKKIRIZA KUGENDA ERI OMUKAZI OMUSIRUSIRU
  • KKIRIZA OKUGENDA ERI OMUKAZI OW’AMAGEZI
  • Amagezi Aga Nnamaddala Galeekaanira mu Nguudo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Engeri Gye Tuyinza Okwekuumamu Ogumu ku Mitego gya Sitaani
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Tyanga Yakuwa era Okwatenga Ebiragiro Bye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Engero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
w23 Jjuuni lup. 20-25

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 28

Weeyongere Okuganyulwa mu Kutya Katonda

“Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Yakuwa.”​—NGE. 14:2.

OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!

OMULAMWAa

1-2. Okufaananako Lutti, kusoomooza ki Abakristaayo kwe boolekagana nakwo leero?

BWE tulaba engeri embi abantu gye beeyisaamu mu nsi tuwulira nga Lutti omusajja eyali omutuukirivu. ‘Yali anyolwa ennyo olw’ebikolwa eby’obugwagwa eby’abantu abajeemu,’ olw’okuba yali akimanyi nti Kitaffe ow’omu ggulu abikyawa. (2 Peet. 2:7, 8) Olw’okuba Lutti yali ayagala nnyo Katonda era ng’amuwa ekitiibwa, kyamuleetera okukyawa empisa embi ez’abantu abaali bamwetoolodde. Naffe twetooloddwa abantu abatafaayo nnyo ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa oba abatagissaamu kitiibwa. Wadde kiri kityo, tusobola okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa singa tweyongera okwagala Katonda era n’okuyiga okumutya mu ngeri entuufu.​—Nge. 14:2.

2 Okuyitira mu kitabo ky’Engero, Yakuwa atuyamba okweyongera okumwagala n’okuyiga okumutya. Abakristaayo bonna abasajja n’abakazi, abato n’abakulu, basobola okuganyulwa mu kubuulirira okuli mu kitabo ekyo.

OKUTYA KATONDA KITUKUUMA

Ebifaananyi: 1. Omukazi ng’awa ow’oluganda gw’akola naye ekikopo kya caayi mu kiseera eky’okuwummulamu. 2. Omukazi oyo y’omu agamba ow’oluganda babeeko gye balagako bombi oluvannyuma lw’okukola.

Mu kifo gye tukolera tetukkiriza kukola mukwano gwa ku lusegere n’abantu abatatya Yakuwa, era twewala okwenyigira mu bintu ebitasanyusa Yakuwa (Laba akatundu  3)

3. Okusinziira ku Engero 17:3, lwaki tusaanidde okukuuma emitima gyaffe? (Laba n’ekifaananyi.)

3 Tusaanidde okukuuma emitima gyaffe egy’akabonero olw’ensonga nti Yakuwa akebera emitima. Obutafaananako bantu, Yakuwa ye alaba n’ekyo kye tuli munda. (Soma Engero 17:3.) Singa tweyongera okulowooza ku magezi g’atuwa, tujja kweyongera okuba mikwano gye era ekyo kijja kutusobozesa okubeerawo emirembe gyonna. (Yok. 4:14) Ekyo kijja kutuyamba okwewala okwenyigira mu bikolwa ebibi, era tetujja kulimbibwa Sitaani n’abantu be. (1 Yok. 5:18, 19) Bwe tweyongera okusemberera Yakuwa tujja kweyongera okumwagala n’okumussaamu ekitiibwa. Olw’okuba tetwagala kumunyiiza, tujja kwewala okukola ebintu ebibi. Bwe tunaakemebwa, tujja kwebuuza nti, ‘Nnyinza ntya okukola mu bugenderevu ekintu ekirumya Omutonzi wange andaze okwagala okungi bwe kuti?’​—1 Yok. 4:9, 10.

4. Okutya Yakuwa kyayamba kitya mwannyinaffe omu obuteenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?

4 Mwannyinaffe Marta, abeera mu Croatia, eyakemebwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu agamba nti: “Tekyambeerera kyangu okulwanyisa okwegomba okubi, naye okutya Yakuwa kwannyamba.”b Okutya Yakuwa kwayamba kutya Marta? Agamba nti yafumiitiriza ku bizibu ebyandivuddemu singa yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Naffe tusobola okumukoppa. Ekintu ekisingayo obubi ekiva mu kukola ebintu ebibi, kwe kufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa.​—Lub. 6:5, 6.

5. Kiki ky’oyigidde ku Leo?

5 Okutya Yakuwa kijja kutuyamba okwewala okukola omukwano n’abantu abeenyigira mu bintu ebibi. Lowooza ku Leo abeera mu Congo. Nga wayise emyaka ena ng’amaze okubatizibwa, yakola omukwano n’abantu abaali bakola ebintu ebibi. Yalowooza nti ekyo tekyandinyiizizza Yakuwa, kasita aba nga ye tabyenyigiddemu. Kyokka waayita ekiseera kitono n’atandika okwekatankira omwenge n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Naye oluvannyuma Leo yafumiitiriza ku ebyo bazadde be bye baali baamuyigiriza era n’alowooza ne ku ssanyu lye yalina bwe yali akyaweereza Yakuwa. Biki ebyavaamu? Yeekuba mu kifuba era abakadde baamuyamba okukomawo eri Yakuwa. Leo kati aweereza ng’omukadde era nga payoniya ow’enjawulo.

6. Bakazi ki ababiri ab’akabonero aboogerwako be tugenda okwekenneenya?

6 Kati ka twekenneenye Engero essuula 9, eyogera ku bakazi ababiri. Omu akiikirira obusirusiru, ate omulala akiikirira amagezi. (Geraageranya Abaruumi 5:14; Abaggalatiya 4:24.) Nga twekenneenya ebyo ebiri mu ssuula eyo, tusaanidde okukijjukira nti abantu mu nsi ya Sitaani baagala nnyo ebikolwa eby’obugwenyufu era n’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. (Bef. 4:19) N’olwekyo, kikulu okweyongera okukulaakulanya okutya Katonda era n’okwewala okukola ebintu ebibi. (Nge. 16:6) Ffenna tusobola okuganyulwa mu ebyo ebiri mu ssuula eyo. Buli omu ku bakazi abo ayita abo abatalina bumanyirivu, kwe kugamba, “abatalina magezi,” okugenda ewuwe. Buli omu agamba nti, ‘Jangu ewange olye emmere gye nfumbye.’ (Nge. 9:1, 5, 6, 13, 16, 17) Kyokka ebituuka ku abo abagenda gye bali, bya njawulo.

TOKKIRIZA KUGENDA ERI OMUKAZI OMUSIRUSIRU

Omukazi malaaya mu biseera by’edda ayimiridde ku mulyango gw’ennyumba ye ng’ayita omusajja ajje ewuwe.

Bwe tukkiriza okugenda eri “omukazi omusirusiru” kiyinza okutuviiramu emitawaana (Laba akatundu 7)

7. Okusinziira ku Engero 9:13-18, kiki ekituuka ku abo abakkiriza okugenda ew’omukazi omusirusiru? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Lowooza ku ‘mukazi omusirusiru’ akoowoola abantu. (Soma Engero 9:13-18.) Akoowoola abo abatalina magezi ng’abagamba bagende ‘ewuwe’ balye emmere gy’afumbye. Kiki ekituuka ku abo abagendayo? Bayibuli egamba nti: “Abaafa bali eyo.” Essuula ezisooka mu kitabo ky’Engero nazo zikozesa olulimi olw’akabonero olufaananako ng’olwo. Mu ssuula ezo tulabulwa ku ‘mukazi omwenzi’ era “omugwenyufu.” Tugambibwa nti: “Ennyumba ye ekka mu kufa.” (Nge. 2:11-19) Engero 5:3-10, watulabula ku mukazi omulala “omwenzi,” era walaga nti ‘ebigere bye bikkirira mu kufa.’

8. Kusalawo ki kwe tuyinza okuba nakwo?

8 Abo abawulira “omukazi omusirusiru” ng’akoowoola, balina okusalawo obanga banaagenda gy’ali oba nedda. Naffe tuyinza okwesanga mu mbeera efaananako bw’etyo. Singa tupikirizibwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu oba singa ebifaananyi eby’obuseegu bijja ku ssimu zaffe, ku kompyuta, oba ku ttivi, tunaakola ki?

9-10. Biki ebiva mu kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?

9 Waliwo ensonga ennungi ze twandisinziddeko okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Weetegereze nti “omukazi omusirusiru” agamba nti: “Amazzi amabbe gawooma.” “Amazzi amabbe” kye ki? Okwegatta okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo, Bayibuli ekugeraageranya ku mazzi amalungi. (Nge. 5:15-18) Omwami n’omukyala abafumbo basobola okufuna essanyu mu kikolwa eky’okwegatta. Ekyo kyawukana nnyo ku ekyo ekiva mu kunywa “amazzi amabbe,” agayinza okutegeeza okwegatta okutakkirizibwa mu mateeka. Abantu abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu batera okubikola mu nkukutu, ng’ababbi bwe batera okubba nga tewali abalaba. “Amazzi amabbe” gayinza okulabika ng’agawooma naddala singa abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu balowooza nti tewali ayinza kumanya kye bakoze. Okwo nga kuba kwerimba! Yakuwa alaba ebintu byonna. Okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa kye kintu ekisingayo okuba ekibi. N’olwekyo, amazzi ago “amabbe” tegawooma era mabi nnyo. (1 Kol. 6:9, 10) Naye waliwo n’ebizibu ebirala ebiva mu kunywa amazzi ago.

10 Ebikolwa eby’obugwenyufu bisobola okuleetera omuntu okuswala, okufuna olubuto lw’ateeyagalidde, era bisobola okuviirako amaka okussatulukuka. N’olwekyo, kya magezi obutakkiriza kugenda mu ‘nnyumba’ ya mukazi omusirusiru wadde okulya emmere ye. Ng’oggyeeko okufiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa, abantu abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu basobola okufuna endwadde eziyinza okubaviirako okufa amangu. (Nge. 7:23, 26) Engero 9:18 lufundikira lugamba nti: “Abagenze gy’ali bali wansi ddala mu magombe.” Kati olwo lwaki abantu bangi bakkiriza okugenda eri omukazi oyo abaviirako okufuna ebizibu eby’amaanyi?​—Nge. 9:13-18.

11. Lwaki okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kya bulabe?

11 Ekintu ekirala ekikyase ennyo kwe kulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Abamu balowooza nti tekiriimu kabi konna okubiraba. Kyokka ebifaananyi eby’obuseegu bireetera omuntu okuggwamu ekitiibwa, obutassa kitiibwa mu balala, era bw’atandika okubiraba, tekimubeerera kyangu kulekera awo kubiraba. Tekiba kyangu omuntu okubiggya mu birowoozo bye. N’ekirala, omuntu abiraba tasobola kweggyamu kwegomba kubi. Mu kifo ky’ekyo, bimuleetera okukukulaakulanya. (Bak. 3:5; Yak. 1:14, 15) Mu butuufu, abantu abalaba ebifaananyi eby’obuseegu bamala ne beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.

12. Kiki kye tusaanidde okukola okukiraga nti twewala ebifaananyi ebiyinza okutuleetera okulowooza ku kwegatta?

12 Kiki kye tulina okukola singa ebifaananyi eby’obuseegu bijja ku masimu gaffe oba ku kompyuta? Amangu ddala tusaanidde okubiggyako amaaso gaffe. Ekyo kiggya kutwanguyira okukola singa enkolagana yaffe ne Yakuwa tugitwala nga ya muwendo. Mu butuufu, waliwo n’ebifaananyi ebitali bya buseegu ebiyinza okuleetera omuntu okwagala okwegatta. Lwaki tusaanidde okubyewala? Kubanga tetwandyagadde kukola kintu kyonna ekiyinza okutuleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Mat. 5:28, 29) Ow’oluganda ayitibwa David aweereza ng’omukadde mu Thailand agamba nti: “Nneebuuza nti: ‘Ebifaananyi ne bwe bitaba bya buseegu, Yakuwa anaasanyuka singa nsigala nga mbitunuulidde?’ Okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo, kinnyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi.”

13. Kiki ekisobola okutuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi?

13 Okutya okunyiiza Yakuwa kijja kutuyamba okwewala okukola ekintu kyonna ky’atayagala n’okweyisa mu ngeri ey’amagezi. Okutya Katonda “ye ntandikwa y’amagezi.” (Nge. 9:10) Ekyo kyeyoleka bulungi mu nnyiriri ezisooka mu ssuula 9 ey’ekitabo ky’Engero, we tusoma ku mukazi ow’akabonero akiikirira “amagezi aga nnamaddala.”

KKIRIZA OKUGENDA ERI OMUKAZI OW’AMAGEZI

14. Mu Engero 9:1-6, tuyitibwa kugenda wa?

14 Soma Engero 9:1-6. Mu nnyiriri ezo, tuyitibwa okugenda eri amagezi aga nnamaddala agasibuka eri Omutonzi waffe. (Nge. 2:6; Bar. 16:27) Era tusoma ku nnyumba ennene erina empagi musanvu. Ekyo kituyamba okukiraba nti Yakuwa mugabi era ayaniriza abo bonna abaagala okukolera ku magezi g’atuwa basobole okuba ab’amagezi.

15. Kiki Yakuwa ky’ayagala tukole?

15 Yakuwa y’akyasinzeeyo okuba Omugabi. Ekyokulabirako ky’omukazi akiikirira ‘amagezi aga nnamaddala’ ayogerwako mu Engero essuula 9, kituyamba okukiraba nti Yakuwa mugabi era atuwa ebirungi bingi. Mu kyokulabirako ekyo, omukazi oyo ow’akabonero ayise abagenyi ewuwe, ateeseteese ennyama, atabudde omwenge, era ateeseteese emmeeza. (Nge. 9:2, obugambo obuli wansi.) Ate mu lunyiriri 4 ne 5, agamba abo abatalina magezi nti: ‘Mujje mulye emmere gye nfumbye.’ Lwaki twandikkiriza okugenda mu nnyumba y’omukazi oyo era ne tulya emmere ye? Yakuwa ayagala abaana be okuba ab’amagezi era baleme kutuukibwako kabi. Tayagala tukole bintu ebinaatulumya. Eyo ye nsonga lwaki “aterekera abagolokofu amagezi.” (Nge. 2:7) Bwe tunaatya Yakuwa mu ngeri entuufu, tujja kwagala okumusanyusa. Tujja kuwuliriza okubuulirira kw’atuwa era tujja kwagala okukukolerako.​—Yak. 1:25.

16. Okutya Katonda kwayamba kutya Alain okusalawo mu ngeri ey’amagezi, era biki ebyavaamu?

16 Lowooza ku ngeri okutya Katonda gye kwayamba Alain okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ow’oluganda ono mukadde mu kibiina era musomesa. Yagamba nti: “Bangi ku basomesa bannange baali bakitwala nti firimu ez’obuseegu zisobola okubayamba okuyiga ku by’okwegatta.” Naye Alain yali akimanyi nti ekyo si kituufu. Yagamba nti: “Olw’okuba ntya Yakuwa, nnagaana okulaba firimu ezo. Ate era nnannyonnyola ne basomesa bannange ensonga lwaki nnali sisobola kuziraba.” Yassa mu nkola ‘amagezi aga nnamaddala’ era ‘n’atambulira mu kkubo ery’okutegeera.’ (Nge. 9:6) Abamu ku basomesa banne baakwatibwako nnyo. Kati bayiga Bayibuli era babaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo.

Omukazi mu Isirayiri ey’edda ng’ayise omusajja ne mukazi we mu maka ge balye ekijjulo ekirungi ky’abateekeddeteekedde.

Bwe tukkiriza okugenda eri omukazi alina ‘amagezi aga nnamaddala’ tujja kuba basanyufu mu kiseera kino era tujja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo (Laba akatundu 17-18)

17-18. Mikisa ki abo abakkiriza okugenda eri omukazi akiikirira ‘amagezi aga nnamaddala’ gye bafuna kati, era ne gye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso? (Laba n’ekifaananyi.)

17 Yakuwa akozesa ebyokulabirako by’abakazi abo okutulaga engeri gye tusobola okuba abasanyufu mu biseera eby’omu maaso. Abo abakkiriza okugenda eri “omukazi omusirusiru,” baba bagezaako okunoonya essanyu mu bikolwa eby’obugwenyufu. Naye tebakimanyi nti ekyo kye bakola kijja kubaviiramu ebizibu eby’amaanyi. Bajja kugenda “wansi ddala mu magombe.”​—Nge. 9:13, 17, 18.

18 Abo abakkiriza okugenda eri omukazi akiikirira ‘amagezi aga nnamaddala,’ bajja kuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Ne mu kiseera kino basanyufu olw’okuba balina bye beetaaga okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Is. 65:13) Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yagamba nti: “Mumpulirize bulungi, mulye ebirungi, ebya ssava bijja kubaleetera essanyu lingi.” (Is. 55:1, 2) Tuyiga okwagala Yakuwa by’ayagala era n’okukyawa ebyo by’akyawa. (Zab. 97:10) Ate era tufuna essanyu bwe tuyita abalala okuganyulwa mu ‘magezi aga nnamaddala.’ Tuba ng’abaweereza ‘abagenda mu bifo by’ekibuga ebigulumivu okulangirira nti: ‘Buli atalina bumanyirivu ajje eno.’ Emiganyulo gye tufuna era n’abo abatuwuliriza gye bafuna gya lubeerera, kubanga tujja kusobola okubaawo emirembe gyonna nga ‘tutambulira mu kkubo ery’okutegeera.’​—Nge. 9:3, 4, 6.

19. Okusinziira ku Omubuulizi 12:13, 14, kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola? (Laba n’akasanduuko “Okutya Katonda Kutuganyula.”)

19 Soma Omubuulizi 12:13, 14. Okutya Yakuwa kujja kukuuma emitima gyaffe era kutuyambe okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa n’okuba n’enkolagana ey’okulusegere naye. Ate era, kujja kutuyamba okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka banoonye ‘amagezi aga nnamaddala’ era bagaganyulwemu.

Okutya Katonda Kutuganyula

  • Kutuyamba okusemberera Yakuwa.​—Zab. 25:14; Beb. 5:7.

  • Kutuleetera ‘okusanyukira’ okumugondera.​—Zab. 112:1.

  • Kutuleetera okuba abeetoowaze, ab’amagezi, era kutuyamba okukyawa ekibi.​—Yob. 28:28; Nge. 8:13.

  • Kutuyamba okuba abavumu okukola ekituufu.​—Kuv. 1:15-17, 21.

  • Kutuleetera okuba ab’ekisa era abeesigika.​—Nek. 5:15; 7:2.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Okutya Yakuwa mu ngeri entuufu kuyinza kutya okukuuma omutima gwaffe?

  • Tuyinza tutya okwewala “omukazi omusirusiru” era n’ebintu ebibi ebituuka ku abo abakkiriza okugenda gy’ali?

  • Mikisa ki gye tunaafuna bwe tunaagenda eri omukazi akiikirira ‘amagezi aga nnamaddala’?

OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki?

a Abakristaayo balina okuyiga okutya Katonda mu ngeri entuufu. Okutya okw’engeri eyo kusobola okukuuma emitima gyaffe era ne kutuyamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu n’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Mu kitundu kino, tugenda kwekenneenya ebyo ebiri mu Engero essuula 9, awoogera ku bakazi babiri, omu ng’akiikirira amagezi ate omulala ng’akiikirira obusirusiru. Okubuulirira okuli mu ssuula eno kusobola okutuyamba kati ne mu biseera eby’omu maaso.

b Amannya agamu gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share